Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Alisa

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Butuluuki

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Butuluuki

ABAKRISTAAYO ab’omu kyasa ekyasooka baafuba okutuusa ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ ku bantu bangi nga bwe kisoboka. (Mat. 24:14) Abamu ku bo baagenda ne mu nsi endala okubuulira. Mu zimu ku ŋŋendo ze ez’obuminsani, omutume Pawulo yabuulira mu kitundu leero ensi ya Butuluuki mw’esangibwa. * Oluvannyuma lw’emyaka 2,000, kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira mu Butuluuki yakolebwa mu 2014. Lwaki kaweefube oyo yakolebwa? Baani abaamwenyigiramu?

“KIKI EKIGENDA MU MAASO?”

Ensi ya Butuluuki erimu abantu obukadde 79, ate ababuulizi b’Obwakabaka bali nga 2,800. Ekyo kitegeeza nti buli mubuulizi alina okubuulira abantu nga 28,000. Tewali kubuusabuusa nti abantu batono nnyo mu nsi eyo ababuulizi be basobodde okubuulira. Eno ye nsonga lwaki kaweefube ow’enjawulo yakolebwa okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka mu kiseera kitono. Ab’oluganda nga 550 okuva mu nsi ezitali zimu aboogera Olutuluuki baagenda mu Butuluuki ne bakolera wamu n’ab’oluganda ab’omu Butuluuki mu kaweefube ono ow’okubuulira abantu b’omu nsi eyo. Biki ebyavaamu?

Obujulirwa bwaweebwa. Ababuulizi ab’omu kibiina ekimu ekisangibwa mu kibuga Istanbul baagamba nti: “Abantu bwe baatulaba baatubuuza nti: ‘Eriyo olukuŋŋaana olw’enjawulo mu kibuga kino? Buli wamu tulabawo Abajulirwa ba Yakuwa.’” Ababuulizi ab’omu kibiina ekirala ekisangibwa mu kibuga Izmir baagamba nti: “Omusajja omu akola ku siteegi ya takisi yatuukirira omukadde omu n’amubuuza nti, ‘Kiki ekigenda mu maaso? Omulimu gwammwe mugwongeddemu amaanyi?’” Tewali kubuusabuusa nti abantu baalaba okufuba okw’amaanyi Abajulirwa ba Yakuwa kwe baakola.

Steffen

Ab’oluganda abaava mu nsi endala okujja okwenyigira mu kaweefube ono baanyumirwa nnyo okubuulira. Steffen eyava mu Denmark yagamba nti: “Buli lunaku nnabuuliranga abantu abaali batawulirangako ku Yakuwa. Muli nnawulira nti nnali nnyambako mu kumanyisa erinnya lya Yakuwa.” Jean-David eyava mu Bufalansa yagamba nti: “Twabuulira ku luguudo lumu okumala essaawa eziwera. Twanyumirwa nnyo! Abantu abasinga obungi baali tebawulirangako ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kyenkana buli wamu we twagenda abantu baatuwuliriza, twabalaga vidiyo era twabalekera ebitabo.”

Jean-David (center)

Ab’oluganda 550 abaava mu nsi endala baagaba ebitabo nga 60,000 mu bbanga lya wiiki bbiri zokka! Mazima ddala abantu bangi mu Butuluuki baabulirwa amawulire amalungi!

Beeyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Kaweefube ono yayamba nnyo ab’oluganda ab’omu Butuluuki. Bangi baatandika okulowooza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Mu butuufu, omuwendo gwa bapayoniya aba bulijjo mu Butuluuki gweyongera ebitundu 24 ku buli kikumu mu myezi 12 egyaddako nga kaweefube awedde.

Şirin

Ab’oluganda abaava mu nsi endala nabo baaganyulwa nnyo mu kaweefube ono. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Şirin eyava mu Bugirimaani yagamba nti: “Ab’oluganda ab’omu Butuluuki banguyirwa nnyo okubuulira embagirawo. Nze okubuulira embagirawo tekunnyanguyira olw’okuba nnina ensonyi. Naye okusaba n’okukolerako awamu n’ab’oluganda ab’omu Butuluuki byansobozesa okubuulira embagirawo, ekintu kye nnali sikolangako. Nnasobola n’okubuulira era n’okugaba tulakiti mu ttaawo! Kati sikyalina nsonyi nnyingi nga ze nnalina.”

Johannes

Johannes eyava mu Bugirimaani yagamba nti: Nnina bye nnayiga ebinnyambye mu buweereza bwange. Ab’oluganda ab’omu Butuluuki baagala nnyo okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Bafuba okukozesa buli kakisa ke bafuna okubuulira. Bwe nnakomawo mu Bugirimaani nange nnasalawo okukola ekintu kye kimu. Kati mbuulira abantu bangi okusinga abo be nnali mbuulira edda.”

Zeynep

Zeynep eyava mu Bufalansa yagamba nti: “ Kaweefube ono aŋŋanyudde nnyo mu buweereza bwange. Annyambye okweyongera okuba omuvumu n’okweyongera okwesiga Yakuwa.

Ababuulizi baafuna enkolagana ey’oku lusegere. Okuba nti ab’oluganda okuva mu nsi ezitali zimu baali bumu era nga baagalana kyabakwatako nnyo. Jean-David eyayogeddwako waggulu yagamba nti: “Ab’oluganda baatulaga okwagala kungi. Baatuyisiza ddala ng’ab’omu maka gaabwe era nga mikwano gyabwe. Baatusembeza mu maka gaabwe. Okuva edda nnali nkimanyi nti tulina oluganda olw’ensi yonna; era ekyo nnali nkisomyeko emirundi mingi mu bitabo byaffe. Naye ku luno nnakyerabirako n’agange. Nneeyongera okwenyumiririza mu kubeera omu ku bantu ba Yakuwa, era nneebaza Yakuwa olw’enkizo eno.”

Claire (center)

Claire eyava mu Bufalansa yagamba nti: “Wadde nga twali tuvudde mu nsi za njawulo, omwali Denmark, Bufalansa, Bugirimaani, ne Butuluuki, twalinga ab’omu maka agamu. Katonda yalinga aggyeewo ensalo z’amawanga.”

Stéphanie (center)

Stéphanie eyava mu Bufalansa yagamba nti: “Kaweefube oyo yatuyamba okukiraba nti obuwangwa n’ennimi zaffe si bye bitugatta, wabula okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwe kutugatta.”

WABADDEWO N’EMIGANYULO EMIRALA

Bangi ku b’oluganda abaava mu nsi endala okugenda okwenyigira mu kaweefube oyo baatandika okulowooza ku ky’okugenda okubeera mu Butuluuki basobole okuyambako mu nsi eyo omuli obwetaavu obw’amaanyi. Abamu ku bo baamala dda okusengukira mu Butuluuki. Ab’oluganda abo bakoze omulimu amatendo.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kibinja ekimu ekiri mu kitundu ekyesudde, ekirimu ababuulizi 25. Okumala emyaka mingi ekibinja ekyo kyalimu omukadde omu. Ababuulizi mu kibinja ekyo baasanyuka nnyo ab’oluganda mukaaga okuva mu Bugirimaani ne Netherlands bwe baagendayo mu 2015 okuweerereza awamu nabo!

OKWENYIGIRA MU BUJJUVU MU MULIMU GW’OKUBUULIRA

Kiki ab’oluganda abaava mu nsi endala abamaze ekiseera nga baweereza mu Butuluuki kye boogera ku bulamu mu nsi eyo? Wadde ng’oluusi boolekagana n’okusoomooza okutali kumu, okuweereza awali obwetaavu obusingako kibaleetedde essanyu lingi. Lowooza ku ebyo abamu ku bo bye boogedde:

Federico

Federico, ow’oluganda omufumbo ali mu myaka 40 eyava mu Sipeyini, agamba nti: “Obutaba na bintu bingi kinnyambye okwemalira ku bintu ebisinga obukulu.” Era agattako nti: “Bw’ogenda mu nsi endala ng’olina ekigendererwa eky’okuyamba abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa, oba weetadde mu mikono gya Yakuwa. Olaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwo.”

Rudy

Rudy, ow’oluganda omufumbo ali mu myaka 50 eyava mu Netherlands, agamba nti: “Okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira kituleetedde essanyu lingi. Tusobodde okuyamba abantu bangi abaali batawulirangako ku Yakuwa okuyiga amazima. Bwe tulaba abantu nga basanyufu olw’okuyiga amazima, naffe kituleetera essanyu lingi.”

Sascha

Sascha, ow’oluganda omufumbo ali mu myaka 40 eyava mu Bugirimaani, agamba nti: “Buli lwe ŋŋenda okubuulira nsanga abantu abatawulirangako ku Yakuwa. Okuyamba abantu ng’abo okuyiga ebikwata ku Yakuwa kindeetera essanyu lingi.”

Atsuko

Atsuko, mwannyinaffe omufumbo ali mu myaka 30 eyava mu Japan, yagamba nti: “Edda nnali njagala olunaku lw’Amagedoni lutuuke mangu. Naye okuva lwe nnagenda okubuulira mu Butuluuki, nneebaza Yakuwa okuba nti tannaleeta Amagedoni. Okulaba engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu kindeetedde okweyongera okumwagala.”

Alisa, mwannyinaffe ali mu myaka 30 eyava mu Russia, agamba nti: “Okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’enjawulo kinnyambye okulega ku bulungi bwe obweyolekera mu ngeri ezitali zimu.” (Zab. 34:8) Agattako nti: “Yakuwa ye Kitange era Mukwano gwange. Okumuweereza mu mbeera ez’enjawulo kinsobozesezza okweyongera okumutegeera. Waliwo ebintu bingi ebindeetedde essanyu era nfunye emikisa mingi!”

“MUTUNUULIRE ENNIMIRO”

Okuyitira mu kaweefube oyo eyakolebwa mu Butuluuki, amawulire amalungi gaatuuka ku bantu bangi. Wadde kiri kityo, wakyaliyo ebitundu bingi ebitabuulirwangamu. Bulijjo ab’oluganda abava mu nsi endala ne bagenda mu Butuluuki, basanga abantu abatawulirangako ku Yakuwa. Oyagala okuyamba abantu ng’abo? Bwe kiba kityo: ‘Yimusa amaaso go otunuulire ennimiro ezituuse okukungula.’ (Yok. 4:35) Osobola okuweereza mu bitundu ennimiro ‘gye zituuse okukungula’? Bwe kiba kityo, baako ky’okolawo kati okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Ba mukakafu nti bwe weeyongera okugaziya ku buweereza bwo ng’ogenda okubuulira amawulire amalungi mu “bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala” ojja kufuna emikisa mingi!Bik. 1:8.