Buuka ogende ku bubaka obulimu

Watya nga Nnina Omuze ogw’Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu?

Watya nga Nnina Omuze ogw’Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu?

By’osaanidde okukola

Kimanye nti ebifaananyi eby’obuseegu bya mutawaana. Ebifaananyi eby’obuseegu bimaliramu ddala ekitiibwa ebintu Katonda bye yatonda nga birina okuweebwa ekitiibwa. Ekyo bw’okimanya kikuyamba ‘okukyawa ekibi.’—Zabbuli 97:10.

Fumiitiriza ku bisobola okukutuukako. Ebifaananyi eby’obuseegu biweebuula abo ababibaamu. Ate era biweebuula n’oyo abiraba. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.”—Engero 22:3.

Beera mumalirivu. Omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “Nnamalirira obutatunuulira muwala ne mmwegomba.” (Yobu 31:1, Today’s English Version) Bino wammanga bye bimu ku by’osobola okukola okulaga obumalirivu bwo:

  • Sijja kukozesa Intaneeti nga ndi nzekka.

  • Nja kuggalawo mangu ddala akafaananyi konna oba akantu konna ak’obuseegu akeeyanjuluza nga ndiko bye nnoonyereza ku Intaneeti.

  • Nja kubuulirako ow’omukwano asobola okunnyamba singa nneesanga nga nzizeemu okulaba ekifaananyi kyonna eky’obuseegu.

Gy’okoma okulaba ebifaananyi eby’obuseegu gye kikoma okuba ekizibu okubyekutulako

Saba Katonda akuyambe. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba Yakuwa Katonda nti: “Wunjula amaaso gange galeme kulaba bintu bitagasa.” (Zabbuli 119:37) Katonda ayagala weekutulire ddala ku muze ogwo, era singa omusaba ajja kukuwa amaanyi osobole okukola ekituufu!—Abafiripi 4:13.

Yogerako n’omuntu omulala. Okuba n’omuntu gw’osobola okweyabiza nakyo kintu kikulu nnyo era kisobola okukuyamba okwekutula ku muze guno.—Engero 17:17.

Jjukira kino: Buli lwe weewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba otuuse ku buwanguzi bwa maanyi. Buuliranga Yakuwa Katonda ku buwanguzi bw’oba otuuseeko, era omwebazenga olw’okukuwa amaanyi. Bwe weewala ebifaananyi eby’obuseegu, osanyusa omutima gwe!—Engero 27:11.