Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Bifaananyi eby’Obuseegu? Kikyamu Okuweerezeganya Mesegi oba Ebifaananyi Ebikwata ku Kwegatta ku Intaneeti?

Bayibuli Eyogera Ki ku Bifaananyi eby’Obuseegu? Kikyamu Okuweerezeganya Mesegi oba Ebifaananyi Ebikwata ku Kwegatta ku Intaneeti?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyogera butereevu ku kulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba okuweerezeganya mesegi ezikwata ku kwegatta, oba ebirala ebiri ng’ebyo. Wadde kiri kityo, Bayibuli etuyamba okumanya endowooza ya Katonda ku bantu okwegatta nga si bafumbo oba ebikolwa ebirala eby’obugwenyufu. Lowooza ku byawandiikibwa bino:

  •   “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta.” (Abakkolosaayi 3:5) Mu kifo ky’okufiisa okwegomba okubi, okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kisiikuula okwegomba okwo. Kifuula omuntu okuba nga si mulongoofu mu maaso ga Katonda.

  •   “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:​28) Ebifaananyi eby’obuseegu biviirako omuntu okufuna okwegomba okubi ne kimuviirako okukola ebikolwa ebibi.

  •   “Ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe.” (Abeefeso 5:3) Tetusaanidde wadde okusaaga nga twogera ku bikolwa eby’okwegatta ebitasaana, nga bwe tutalina kubiraba wadde okubisomako.

  •   “Ebikolwa eby’omubiri bya lwatu era bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu, obutali bulongoofu, . . . n’ebiringa ebyo. Mbalabula ku bintu bino nga bwe nnasooka okubalabula, nti abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (Abaggalatiya 5:​19-​21) Abantu abalaba ebifaananyi eby’obuseegu, abeewereza mesegi ezikwata ku kwegatta nga bakozesa Intaneeti oba essimu, tebaba balongoofu mu maaso ga Katonda. Bwe twenyigira mu bikolwa ng’ebyo, tetusiimibwa mu maaso ga Katonda.