Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Ddala Kibi Nnyo Okukozesa Ebigambo Ebibi?

Ddala Kibi Nnyo Okukozesa Ebigambo Ebibi?

“Nnamayiira okuwulira ebigambo ebibi era tebikyanneesisiwasa. Kati bya bulijjo gye ndi.”​—Christopher, wa myaka 17.

“Bwe nnali nkyali muto, nnakozesanga nnyo ebigambo ebibi. Kyali kizibu nnyo okulekera awo okukozesa ebigambo ebyo. Omuze ogwo mwangu nnyo okuyiga, naye ate kizibu nnyo okugweggyamu.”​—Rebecca, wa myaka 19.

 Olowooza otya?

  •   Owulira otya ng’abalala bakozesezza ebigambo ebibi?

    •  Sikiwuliramu buzibu bwonna; bya bulijjo gye ndi.

    •  Tekimpisa bulungi, naye sibagambako.

    •  Kimpisa bubi nnyo.

  •   Otera okukozesa ebigambo ebibi?

    •  Sibikozesa n’akatono

    •  Mbikozesa olumu n’olumu

    •  Mbikozesa nnyo

  •   Olowooza okukozesa olulimi olubi kizibu kya maanyi?

    •  Nedda

    •  Kizibu kya maanyi

 Lwaki engeri gy’okozesaamu olulimi lwo kikulu?

 Okuwemula oba okukozesa ebigambo ebibi, okitwala ng’ekintu ekibi ennyo? Oyinza okugamba nti, ‘Si kibi nnyo. Ensi erimu ebizibu eby’amaanyi okusinga ekyo. Ate n’ekirala, buli muntu akozesa ebigambo ebibi.’ Naye ddala ekyo kituufu?

 Waliwo abantu bangi abatakozesa bigambo bibi, era balina ensonga lwaki tebakozesa bigambo ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako:

  •  Okukozesa ebigambo ebibi kiraga ekyo kyennyini ky’oli. Ebigambo by’okozesa biraga abalala ekyo kyennyini ky’oli. Bw’oba omala gakubawo bigambo, kiba kiraga nti tofaayo ku nneewulira y’abalala. Naye nga ddala bw’otyo bw’oli?

     Bayibuli egamba nti: “Ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima.”​—Matayo 15:18.

    N’olwekyo, tokozesa bigambo ebiyinza okwonoona erinnya lyo oba okulumya abalala?

  •  Okukozesa ebigambo ebibi kiyinza okuleetera abalala okukufunako endowooza enkyamu. Ekitabo ekiyitibwa Cuss Control kigamba nti: “Engeri gye twogeramu y’esalawo baani abanaaba mikwano gyaffe, oba ab’eŋŋanda zaffe ne bakozi bannaffe banaatuwa ekitiibwa, obanga tunaafuna omulimu oba okukuzibwa ku mulimu, n’engeri abo abatatumanyi gye banaatutwalamu.” Ekitabo ekyo era kigamba nti: “Weebuuze obanga enkolagana yo n’abalala eneeyongera okuba ennungi singa tokozesa bigambo bibi.”

     Bayibuli egamba nti: “Mweggyeemu. . . okuvuma.”​—Abeefeso 4:31.

  •  Okukozesa ebigambo ebibi tekikufuula wa kitalo nga bw’oyinza okulowooza. Mu kitabo kye ekiyitibwa How Rude! Dr. Alex Packer agamba nti: “Abantu abakozesa ebigambo ebibi buli kiseera, batama.” Agattako nti omuntu akozesa ebigambo ebibi buli kiseera, “aba takozesa bigambo bya magezi oba eby’ekisa. Bw’oba okozesa ebigambo ebibi buli kiseera, tosobola kuba muntu wa magezi.”

     Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe.”​—Abeefeso 4:29.

 Ky’oyinza okukola

  •  Weeteerewo ekiruubirirwa. Fuba okulekera awo okukozesa ebigambo ebibi. Omwezi bwe guggwaako nga tokozesezza bigambo bibi, kirambe ku kalenda oba kiwandiike ku lupapula. Naye okusobola okulekera awo okukozesa obubi olulimi lwo, weetaaga okukola ekisingawo. Ng’ekyokulabirako:

  •  Weewale eby’okwesanyusaamu ebirimu okukozesa ebigambo ebibi. Bayibuli egamba nti: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) “Emikwano” egyogerwako mu lunyiriri olwo tegizingiramu bantu bokka, wabula gizingiramu firimu z’olaba, emizannyo gya kompyuta gy’ozannya, n’ennyimba z’owuliriza. Kenneth, ow’emyaka 17, agamba nti: “Kyangu okuwuliriza oluyimba nga naawe bw’oyimba nga tofuddeeyo ku bigambo ebibi ebirulimu, olw’okuba ekidongo kyalwo kinyuma.”

  •  Weeyise ng’omuntu omukulu. Abamu bakozesa ebigambo ebibi nga balowooza nti kijja kuleetera abalala okubatwala nti bantu bakulu. Naye ekyo si kituufu. Bayibuli egamba nti abantu abakulu bakozesa “obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Abebbulaniya 5:14) Tebakozesa bigambo bibi olw’okwagala “okusanyusa obusanyusa” abalala.

 Ebigambo ebibi biyinza okugeraageranyizibwa ku mukka omubi. Ng’omukka omubi bwe gwonoona obutonde, n’ebigambo ebibi bireetera omuntu okulowooza ku bintu ebibi. Abantu bangi balowooza ku bintu ebibi. Ekitabo ekiyitibwa Cuss Control kigamba nti: “Toyongera kwonoona mbeera. Fuba okukozesa ebigambo ebirungi ng’onyumya n’abalala. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba musanyufu era n’abalala bajja kukuwa ekitiibwa.”