Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Bazadde Bange Tebaagala Nneesanyuseemu?

Lwaki Bazadde Bange Tebaagala Nneesanyuseemu?

Lowooza ku mbeera eno:

Waliwo akabaga k’oyagala okugendako, naye tokakasa obanga bazadde bo banaakukkiriza okugenda. Ku bino wammanga kiruwa ky’okola?

  1.  TOBASABA, OGENDA BUGENZI

  2.  TOBASABA ERA TOGENDA

  3.  OBASABA N’OLABA KYE BAKUGAMBA

 1. TOBASABA, OGENDA BUGENZI

Ekiyinza okukuleetera okukola kino: Oyagala kulaga mikwano gyo nti ggwe weesalirawo ky’oyagala okukola so si bazadde bo. Muli owulira nti oli mugezi nnyo okusinga bazadde bo.—Engero 14:18.

Ebiyinza okuvaamu: Ky’oba okoze kiyinza okusanyusa mikwano gyo naye ate era kiba kibalaga nti teweesigika. Ggwe ate w’otuukira okukola ekintu bazadde bo kye batakukkirizza kukola, kiba kitegeeza nti ne mikwano gyo osobola okubayisa mu ngeri efaananako bw’etyo. Ate singa bazadde bo bakizuula nti wagenze ku kabaga nga tebakuwadde lukusa, kijja kubayisa bubi era bayinza n’okusalawo obutakukkiriza kugenda ku kabaga kalala konna.—Engero 12:15.

 2. TOBASABA ERA TOGENDA

Ekiyinza okukuleetera okukola kino: Okitegeddeko nti ebimu ku bigenda okukolebwa ku kabaga ako bikontana n’empisa z’ogoberera oba nti abamu ku bantu abagenda okubeerayo ba mpisa mbi. (1 Abakkolinso 15:33; Abafiripi 4:8) Ate ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’obadde oyagala nnyo okugenda naye ng’otidde buti okusaba bazadde bo olukusa.

Ebiyinza okuvaamu: Bw’oba ggwe kennyini, ggwe osazeewo obutagenda ku kabaga ako olw’okuba okitegedde nti tekajja kuba kalungi, tojja kukaluubirirwa kunnyonnyola mikwano gyo. Naye bw’otoogende olw’okuba otidde buti okusaba bazadde bo olukusa, awaka ojja kubeerawo nga toli musanyufu, ng’olowooza nti olina ky’osubiddwa.

 3. OBASABA N’OLABA KYE BAKUGAMBA

Ekiyinza okukuleetera okukola kino: Okimanyi nti bazadde bo bakulinako obuyinza era oyagala okugoberera obulagirizi bwe bakuwa. (Abakkolosaayi 3:20) Oyagala nnyo bazadde bo era toyagala kukola kintu kyonna nga tebamanyi. (Engero 10:1) Ate era okimanyi nti bw’onoobatuukirira ojja kusobola n’okubannyonnyola ensonga lwaki oyagala okugenda.

Ebiyinza okuvaamu: Bazadde bo bajja kuba bakiraba nti obassaamu ekitiibwa. Bayinza n’okukukkiriza okugenda.

Ensonga Lwaki Bazadde Bo Bayinza Okukugaana Okugenda

Okufaananako abawuzi abakugu abasobola okudduukirira omuwuzi yenna aba afunye obuzibu mu nnyanja, bazadde bo nabo baba basobola bulungi okulengera ewala ne bakutaasa akabi

Ka tukozese ekyokulabirako kino okukulaga emu ku nsonga lwaki bazadde bo bayinza okukugaana: Singa obadde ogenze kuwuga mu nnyanja, kyandibadde kya magezi okuwugira okumpi n’awali abawuzi abakugu abasobola okukutaasa ng’ofunye obuzibu. Lwaki? Kubanga omuntu bw’abeera mu nnyanja ng’awuga, kiyinza obutamubeerera kyangu okulaba akabi akaba kamwolekedde. So ng’ate bo abawuzi abakugu abakola ogw’okutunula mu nnyanja okulaba obanga waliwo abali mu kabi, baba balengera wanene. Mu ngeri y’emu, bazadde bo olw’obumanyirivu obw’amaanyi bwe balina basobola okulengera amangu ebintu eby’akabi gy’oli, ggwe by’otolaba. Okufaananako abawuzi abakugu ababa beetegereza buli kiseera okulaba obanga waliwo omuntu yenna mu nnyanja ali mu kabi, ne bazadde baba tebaagala kukulemesa kwesanyusaamu wabula baba baagala kukuwonya mitawaana.

Waliwo n’ensonga endala: Bazadde bo bakwagala nnyo era tebaagala otuukibweko kabi. Eyo ye nsonga lwaki bakukkiriza okukola ebintu ebimu ate ebirala ne babikugaana. Bw’obasaba olukusa okukola ekintu, basooka kwetegereza okulaba obanga bwe banaakukkiriza okukikola ebinaakuviiramu binaaba birungi. Bajja kukukkiriza okukola ky’obasabye oluvannyuma lw’okukakasa nti tekigenda kukuviiramu mutawaana gwonna.

Bw’Oba Oyagala Bazadde Bo Kibanguyire Okukuwa Olukusa Okugenda

By’osaanidde okukola

Yogera Amazima: Weebuuze: ‘Ddala lwaki njagala okugenda ku kabaga ako? Njagala okugenda olw’okuba akabaga ak’ekika ekyo kannyumira nnyo, oba olw’okuba njagala kusanyusa busanyusa mikwano gyange? Njagala okugenda olw’okuba waliwo omuntu omutima gwange gwe gwagala ennyo ajja okubaayo?’ Bw’omala okweddamu ebibuuzo ebyo, buulira bazadde bo amazima. Nabo baaliko mu myaka gy’olimu kati, era byonna by’oyitamu babitegeera bulungi. N’olwekyo, mu buli ngeri, bajja kutegeera lwaki oyagala okugenda ku kabaga ako. Kijja kubasanyusa nnyo bw’onoobabuulira amazima, era naawe kennyini ojja kuganyulwa mu ekyo kye banaasalawo. (Engero 7:1, 2) Ku luuyi olulala, singa tobabuulira mazima, obwesige bwe babadde bakulinamu bujja kukendeera era omulundi omulala bayinza n’obutakukkiriza kugenda.

Basabe mu Kiseera Ekituufu: Bazadde bo bwe baba baakadda awaka okuva ku mulimu oba bwe baba baliko ebintu ebirala ebikulu bye bakola, ekyo tekiba kiseera kituufu kya kubasaba kintu. Batuukirire mu kiseera nga tebalina kibatawaanya. Naye ate tolinda kutuusa ku ssaawa esembayo n’olyoka obasaba ate ng’oyagala bakuddemu mangu ago. Bazadde bo tebaagala kumala gasalawo mu bwangu. Basabe nga bukyali kibawe obudde obumala okukirowoozaako.

Babuulire Byonna: Tobabuulirako bimu na bimu. Bannyonnyole bulungi byonna by’oyagala okukola. Bazadde bo bajja kufunamu enkenyera okukukkiriza okugenda singa banaabaako bye bakubuuza n’obaddamu nti “simanyi,” naddala nga bakubuuzizza ebibuuzo nga bino: “Baani abanaabeerayo?” “Wanaabaayo omuntu omukulu yenna?” oba nti “Onookomawo ssaawa mmeka?”

Beera n’Endowooza Ennungi: Bazadde bo tobatwala ng’abalabe bo. Kijjukire nti bazadde bo bakwagaliza birungi byereere. N’olwekyo toyogeza busungu. Bw’onooyogera nabo obulungi, kijja kubanguyira okukuwuliriza.

Bazadde bo kye baba basazeewo kikkirize era ky’oba okolerako. Bw’onookola bw’otyo, bajja kwongera okukwesiga. Lw’oliddamu okubasaba olukusa ng’oliko w’oyagala okugenda, kigenda kubanguyira okukukkiriza.