Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Left: Yasser Qudaih/Anadolu via Getty Images; right: RONALDO SCHEMIDT/AFP via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

 Ku Lwomukaaga, Apuli 13, 2024, Iran bwe yakola obulumbaganyi ku Isirayiri, omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ayitibwa António Guterres yagamba nti: “Kino kye kiseera okukkakkanya embeera ebe nga si ya bulabe nnyo era ng’abantu tebali nnyo ku bunkenke. ”

 Okulwanagana okuliwo mu nsi za Buwalabu kwe kumu kulwanagana okuliwo mu nsi.

 “Leero waliwo ebikolwa bingi nnyo eby’obukambwe okusinga bwe kyali oluvannyuma lwa Ssematalo ow’Okubiri era bukosa abantu obuwumbi 2, kwe kugamba, omuntu omu ku buli bantu bana.”—United Nations Security Council, Jjanwali 26, 2023.

 Zino ze zimu ku nsi ezirimu ebikolwa eby’obukambwe: Isirayiri, Gaza, Bwasuli, Azerbaijan, Ukraine, Sudan, Ethiopia, Niger, Myanmar, ne Haiti. a

 Okulwanagana kulikoma ddi? Abafuzi b’ensi basobola okuleetawo emirembe? Kiki Bayibuli ky’egamba?

Ensi erimu entalo

 Entalo eziriwo mu nsi leero bukakafu obulaga nti mu kiseera ekitali kya wala entalo zonna zijja kukoma. Entalo eziriwo zituukiriza obunnabbi obukwata ku kiseera kye tulimu. Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.”—Matayo 24:3.

  •    “Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu. . . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.”—Matayo 24:6, 7.

 Soma ekitundu “What Is the Sign of ‘the Last Days,’ or ‘End Times’?” olabe engeri entalo eziriwo leero gye zituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli.

Olutalo olujja okukomya entalo zonna

 Bayibuli eraga nti entalo zijja kuggwaawo. Ekyo kinaabaawo kitya? Abantu si be bajja okumalawo entalo. Zijja kuggwaawo ku Amageddoni, “olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Oluvannyuma lw’olutalo olwo, Katonda ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eri abantu, eky’okubeera mu nsi nga bali mu mirembe.—Zabbuli 37:10, 11, 29.

 Okumanya ebisingawo ku lutalo lwa Katonda olujja okukomya entalo zonna, soma ekitundu “Olutalo Amagedoni kye Ki?

a ACLED Conflict Index, “Ranking violent conflict levels across the world,” Jjanwali 2024