Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuba n’Obulamu bw’Amaka Obulungi n’Emikwano Eminywevu

Okuba n’Obulamu bw’Amaka Obulungi n’Emikwano Eminywevu

Abantu bangi tekibanguyira kukuuma nkolagana gye balina n’ab’omu maka gaabwe oba ne mikwano gyabwe nga nnywevu. Lowooza ku gamu ku magezi agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’abalala.

TEWEEFAAKO WEKKA

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’​—Abafiripi 2:4.

KYE KITEGEEZA: Tusobola okuba n’enkolagana ennungi n’abalala singa ebirowoozo tubissa nnyo ku ebyo bye tuyinza okubakolera so si ku ebyo bye bayinza okutukolera. Bwe weerowoozaako wekka, kyonoona enkolagana yo n’abalala. Ng’ekyokulabirako, omusajja oba omukazi omufumbo eyeefaako yekka ayinza obutaba mwesigwa eri munne mu bufumbo. Ate era tewali ayagala kuba mukwano gwa muntu buli kiseera eyeewaana olw’ebintu by’alina oba by’amanyi. Ekitabo The Road to Character kigamba nti, “abantu abeefaako bokka bafuna ebizibu bingi.”

BY’OSOBOLA OKUKOLA:

  • Yamba abalala. Ab’emikwano abalungi baba beesigaŋŋana era buli omu aba mwetegefu okuyamba munne. Okunoonyereza okumu kulaga nti abantu abayamba abalala tebatera kufuna kizibu kya kwennyamira era baba bawulira nti ba mugaso.

  • Lumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala kwe kuwulira ennaku y’abalala mu mutima gwo. Bw’oba ng’olumirirwa abalala, weewala okukozesa ebigambo ebirabika ng’eby’okusaaga, naye nga birumya abalala.

    Bw’oba olumirirwa abalala, oba tobasosola. Okulumirirwa abalala kisobola okukuyamba obutaba musosoze n’okukola emikwano n’abantu ab’amawanga ag’enjawulo oba abaakulira mu mbeera ez’enjawulo ku zizo.

  • Waayo ebiseera okubeerako n’abalala. Gy’okoma okubeerako awamu n’abantu abalala, gy’okoma okubamanya. Okusobola okufuula omuntu mukwano gwo, oba weetaaga okunyumya ku bintu ebimukwatako era by’atwala nga bikulu. N’olwekyo, ba muwuliriza mulungi. Faayo ku ebyo munno by’atwala nti bikulu. Okunoonyereza okumu okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti “okunyumya n’abalala ku bintu ebizimba, kireetera omuntu okwongera okuba omusanyufu.”

LONDA EMIKWANO N’OBWEGENDEREZA

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”​—1 Abakkolinso 15:33.

KYE KITEGEEZA: Abantu b’omala nabo ebiseera ebingi balina kinene kye bakukolako. Bayinza okukuviirako okuba omuntu omulungi oba omubi. Abo abeekenneenya embeera z’abantu bagamba nti mikwano gy’omuntu girina kinene kye gikola ku bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, bagamba nti bw’oba ng’otera okuba n’abantu abanywa ssigala oba abasattulula obufumbo bwabwe, naawe osobola okutandika okunywa ssigala oba okwagala okusattulula obufumbo bwo.

BY’OSOBOLA OKUKOLA: Kola emikwano n’abantu abalina empisa n’endowooza ze wandyagadde okuba nazo. Ng’ekyokulabirako, kola emikwano n’abantu abakwata ebintu mu ngeri ey’amagezi, abawa abalala ekitiibwa, abagabi, era abasembeza abagenyi.

AMAGEZI AMALALA OKUVA MU BAYIBULI

Laba vidiyo ezeesigamiziddwa ku Bayibuli eziyamba abafumbo, abavubuka, n’abaana abato okwongera okufuna essanyu mu maka

WEEWALE EBIGAMBO EBIRUMYA ABALALA.

“Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala.”​—ENGERO 12:18.

BA MUGABI.

“Omugabi ajja kugaggawala.”​—ENGERO 11:25.

YISA ABALALA NGA NAAWE BW’OYAGALA OKUYISIBWA.

“Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”​—MATAYO 7:12.