Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUBUUZA EBIBUUZO | YAN-DER HSUUW

Munnasayansi Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

Munnasayansi Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

PROFESA Yan-Der Hsuuw y’akulira ekitongole ekinoonyereza ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto mu yunivasite eyitibwa Taiwan’s National Pingtung University of Science and Technology. Yali takkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa, naye oluvannyuma lw’okufuuka munnasayansi anoonyereza ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto, yakyusa endowooza ye. Kati k’atubuulire ekyakyusa endowooza ye.

Mu bufunze tubuulire ebikukwatako.

Nnazaalibwa mu 1966 era nnakulira mu Taiwan. Bazadde bange baali ba nzikiriza ya Taawo n’eya Buddha. Wadde nga twasinzanga bajjajja n’ebifaananyi, twali tetukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna.

Lwaki wasalawo okusoma ssaayansi?

Bwe nnali nkyali muto, nnayagalanga nnyo okulabirira ebisolo, era nnali njagala okumanya engeri gye nnyinza okuyamba ensolo endwadde n’abantu abalwadde. Nnasooka ne nsoma obusawo bw’ebisolo ate oluvannyuma ne nsoma ebikwata ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto nga nsuubira nti ekyo kyandinnyambye okumanya engeri obulamu gye bwatandikawo.

Mu kusooka wali tokkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa. Lwaki?

Baprofesa ku yunivasite baatuyigirizanga nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, era nti waliwo obukakafu obulaga nti byajjawo byokka. Nnakkiriza ebyo bye baali bagamba.

Lwaki watandika okusoma Bayibuli?

Nnakikola lwa nsonga bbiri. Esooka, nnagambanga nti ku bakatonda abangi abantu be basinza, wateekwa okubaawo omu asinga abalala bonna. Naye nnali nneebuuza nti y’ani? Ey’okubiri, nnali nkimanyi nti abantu bangi bassa nnyo ekitiibwa mu Bayibuli. Bwe kityo nnayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli.

Bwe nnatandika okusomera mu yunivasite eyitibwa Belgium’s Catholic University of Leuven mu 1992, nnagendako ku kkereziya emu ne ŋŋamba faaza annyambe okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli, naye n’atakkiriza kunnyamba.

Wasobola otya okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye wali weebuuza?

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, bwe nnali nga nkyali mu Bubirigi nga noonyereza ku bintu byange ebya ssaayansi, nnasisinkana omukazi enzaalwa ya Poland ayitibwa Ruth, eyali Omujulirwa wa Yakuwa. Yali ayize Olukyayina asobole okuyamba abayizi ku yunivasite abaali baagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Nnali nsabye Katonda annyambe okuyiga ebimukwatako era akakisa ako bwe kajja nnakakozesa.

Ruth yannyamba okukiraba nti wadde nga Bayibuli si kitabo kya ssaayansi, ekwatagana ne ssaayansi. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Bayibuli ayitibwa Dawudi yasaba Katonda n’agamba nti: “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo, byonna ebikwata ku nnaku lwe byatondebwa, wadde nga tewaali na kimu ku byo ekyaliwo.” (Zabbuli 139:16) Wadde nga Dawudi yakozesa olulimi olwa kabonero, bye yayogera byali bituufu! Ebitundu by’omubiri ne bwe biba nga tebinnaba kukula ku mwana, ebiragiro byonna ebibikwatako biba weebiri. Okuba nti Bayibuli ntuufu nnyo ne bwe kituuka ku ssaayansi, kyankakasa nti ddala Kigambo kya Katonda. Nnatandika n’okukiraba nti waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, Yakuwa.1

Kiki ekyakukakasa nti Katonda ye nsibuko y’obulamu?

Ekigendererwa kya ssaayansi kwe kuzuula amazima, so si kuwagira buwagizi ndowooza abantu ze balina. Bwe nnayiga ebikwata ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto, kyannyamba okukiraba nti obulamu bwatondebwa butondebwa. Ng’ekyokulabirako, bayinginiya bwe babaako ekintu kye baba bagenda okukola, basooka kukuba pulaani ku ngeri gye bagenda okupangamu ebitundu ebitali bimu eby’ekintu ekyo bisobole okuba nga buli kimu kigya bulungi mu kinnaakyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto, naye ye engeri gy’akolebwamu ya kyewuunyo nnyo.

Okusooka enkwaso y’omusajja n’eggi ly’omukazi byegatta ne bivaamu akatoffaali kamu, si bwe kiri?

Yee. Oluvannyuma akatoffaali ako katandika okwegabanyaamu. Okumala ekiseera, omuwendo gw’obutoffaali gwekubisaamu emirundi ebiri buli luvannyuma lw’essaawa eziri wakati wa 12 ne 24. Mu kiseera ekyo, obutoffaali obuyitibwa stem cells, nga buno bwe butoffaali obuvaamu obutoffaali obukola ebitundu by’omubiri ebitali bimu, bukolebwa.2 Obutoffaali obwo buvaamu ebika by’obutoffaali nga 200 eby’enjawulo ebyetaagisa okukola omuntu omulamba, nga muno mwe muli obutoffaali obukola omusaayi, obukola amagumba, obukola obusimu, n’obukola ebintu ebirala.

Okunoonyereza ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto kyannyamba okukiraba nti Katonda ye nsibuko y’obulamu

Obutoffaali obutuufu buba bulina okukolebwa mu mitendera emituufu era mu bifo ebituufu. Obutoffaali obwo bugenda bwepangapanga ne buvaamu ebitundu eby’omubiri ebitali bimu. Olowooza waliwo yinginiya yenna asobola okukola pulaani oba ebiragiro eby’emitendera omwana gy’ayitamu okufuuka omuntu omulamba? Kyokka, ebiragiro ebikwata ku ngeri omwana gy’akulamu byonna biba biwandiikiddwa mu Ndagabutonde (DNA). Bwe ndowooza ku ebyo byonna, siriimu kubuusabuusa kwonna nti Katonda ye nsibuko y’obulamu.

Lwaki wasalawo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?

Kwagala. Yesu Kristo yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:35) Okwagala okw’engeri eyo tekusosola. Omuntu takulaga abo bokka ab’eggwanga lye oba aba langi ye. Okwagala okw’engeri eyo nnakulaba mu Bajulirwa ba Yakuwa, bwe nnatandika okukuŋŋaana nabo.

1. Zabbuli 83:18; 1 Abakkolinso 8:5, 6.

2. Olw’okuba Profesa Yan-Der Hsuuw Mukristaayo, omuntu we ow’omunda tamukkiriza kukozesa nkola eyitibwa human embryonic stem cells.