Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Okuyamba Omwana Wo Okwaŋŋanga Ekiseera Ekya Kaabuvubuka

Okuyamba Omwana Wo Okwaŋŋanga Ekiseera Ekya Kaabuvubuka

OKUSOOMOOZA

Emyaka mitono emabega omwana wo abadde muwere ng’ositula musitule. Naye kati akuze era anaatera okuyingira mu kiseera ekya kaabuvubuka, nga kino kye kiseera ky’alina okuyitamu nga tannafuuka muntu mukulu.

Oyinza otya okuyamba mutabani wo oba muwala wo okuyita mu kiseera ekyo ekitali kyangu?

BY’OSAANIDDE OKUMANYA

Ekiseera kaabuvubuka mw’atandikira. Mu baana abamu kaabuvubuka atandika mangu ate mu balala alwawo. Atera okutandika wakati w’emyaka omunaana ne 16. Ekitabo ekiyitibwa Letting Go With Love and Confidence kigamba nti: “Emyaka emituufu abaana mwe bayingirira kaabuvubuka gyawukana nnyo.”

Kaabuvubuka aleetera omwana okuwulira nga tateredde. Abaana abayingidde kaabuvubuka batandika okufaayo ennyo ku ngeri abalala gye babatunuuliramu. Omulenzi ayitibwa Jared * agamba nti: “Nnatandika okufaayo ennyo ku ndabika yange n’engeri gye nneeyisangamu. Bwe nnabanga mu bantu nnalowoozanga nti baali bantwala ng’aliko ekikyamu.” Ate era abaana abo bwe batandika okufuna embalabe, muli bawulira nga tebaala. Omuwala ayitibwa Kellie ow’emyaka 17 agamba nti: ‘Bwe nnafuna embalabe, nnalaba nga nfaanana bubi nnyo. Ekyo emirundi mingi kyankaabyanga.’

Abaana abayingira amangu kaabuvubuka boolekagana n’okusoomooza okw’enjawulo. Ekyo bwe kiri, naddala eri abaana abawala abayinza okuyeeyezebwa nga basunye amabeere oba nga batandise okugejja akabina. Ekitabo ekiyitibwa A Parent’s Guide to the Teen Years kigamba nti: “Abawala abo batera okutawaanyizibwa abalenzi abakulu abaagala okubakwana.”

Okuba mu kaabuvubuka tekitegeeza nti omwana akuze. Engero 22:15 (obugambo obuli wansi) wagamba nti: “Obusirusiru buba mu mutima gw’omuvubuka.” Ekyo kaabuvubuka takikyusa. Ekitabo ekiyitibwa You and Your Adolescent kigamba nti, omwana avubuse ayinza okulabika ng’omuntu omukulu naye ekyo “tekitegeeza nti kati asobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa, okwefuga, oba okukyoleka nti akuze mu birowoozo.”

KY’OYINZA OKUKOLA

Yogera n’omwana wo ku ebyo ebibaawo mu kiseera kya kaabuvubuka nga tannamuyingira. Buulira omwana wo ekyo ky’asaanidde okusuubira ng’atuuse mu kiseera ekyo. Ng’ekyokulabirako, omuwala mubuulire ebikwata ku kugenda mu nsonga ate omulenzi mubuulire ebikwata ku kwerooterera. Obutafaananako bintu ebirala ebibaawo mu kiseera kya kaabuvubuka ebijja empolampola, ebintu ebyo byo bijja mbagirawo era biyinza okuleetera omwana okusoberwa oba okutya. Bw’oba oyogera n’omwana wo ku nsonga ezo, muyambe okukiraba nti kaabuvubuka alinga olutindo kw’alina okuyita okusobola okufuuka omuntu omukulu.Omusingi gwa Bayibuli: Zabbuli 139:14.

Tobaako ky’obakweka. Omuvubuka omu ayitibwa John agamba nti: “Bazadde bange bwe baali bambuulira ebikwata ku kaabuvubuka, tebaali balambulukufu. Kyandibadde kirungi singa bantangaaza bulungi ku nsonga ze baŋŋamba.” Omuwala ayitibwa Alana, ow’emyaka 17, naye agamba nti: “Maama wange yannyamba okumanya enkyukakyuka ezaali zigenda mu maaso mu bulamu bwange, naye kyandibadde kirungi singa yannyamba okumanya engeri gye nnali nnyinza okwaŋŋangamu enkyukakyuka ezo.” Ekyo kiyigiriza ki abazadde? Wadde nga kiyinza obutaba kyangu, mubuulire abaana bammwe kalonda yenna akwata ku kaabuvubuka.Omusingi gwa Bayibuli: Ebikolwa 20:20.

Buuza ebibuuzo ebibaleetera okukweyabiza. Okusobola okubayamba okukweyabiza, osobola okutandika ng’oyogera ku balala abali mu kiseera kya kaabuvubuka. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubuuza muwala wo nti, “Waliwo bayizi banno abagamba nti baatandika okugenda mu nsonga?” “Abaana bayeeya abawala abaasuna amangu amabeere?” Ate oyinza okubuuza mutabani wo nti, “Abaana bayeeya bannaabwe abakula empola?” Abaana abali mu myaka gya kaabuvubuka bwe batandika okwogera ku ebyo bannaabwe abali mu myaka egyo bye bayitamu, kiyinza okubanguyira okwogera ku ngeri nabo kennyini gye bawuliramu n’ebyo bye bayitamu. Ekyo bwe bakikola, kolera ku magezi ga Bayibuli gano: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera.”Yakobo 1:19.

Yamba omwana wo avubuse okufuna “amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.” (Engero 3:21) Ng’oggyeeko enkyukakyuka ezibaawo mu mubiri, waliwo n’ebirala ebibaawo mu kiseera kya kaabuvubuka. Mu kiseera ekyo, omwana wo era atandika okuyiga okwerowooleza, era bw’ayiga okukozesa obulungi obusobozi bwe obw’okulowooza, kisobola okumuyamba okusalawo obulungi ng’akuze. Kozesa ekiseera ekyo okuyamba wo okumanya emisingi emirungi gy’asaanidde okutambulirako.Omusingi gwa Bayibuli: Abebbulaniya 5:14.

Tokoowa. Abavubuka bangi tebatera kwagala kwogera na bazadde baabwe bikwata ku ebyo ebibaawo mu kiseera kya kaabuvubuka, naye ekyo tekisaanidde kukuleetera kubaleka bulesi. Ekitabo ekiyitibwa You and Your Adolescent kigamba nti: “Abavubuka abalabika ng’abatawuliriza oba abalabika ng’abataagala kwogera ku bintu ebyo, bawulira era bajjukira buli kigambo ky’obagamba.”

^ lup. 8 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.