Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUBUUZA EBIBUUZO | FAN YU

Omukugu mu Kuyiiya Programu za Kompyuta Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

Omukugu mu Kuyiiya Programu za Kompyuta Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

FAN YU, omulimu gwe yasooka okukola gwali gwa kunoonyereza ebikwata ku ssomo ery’okubala mu ttendekero ery’omu China eriyitibwa China Institute of Atomic Energy, eriri okumpi n’ekibuga Beijing. Mu kiseera ekyo yali takkiriza nti Katonda gy’ali era ng’akkiriza nti ebintu byaggyawo byokka. Naye kati Yu akkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Abawandiisi ba magazini eno baamubuuza ebikwata ku nzikiriza ye.

Tubuulire ebikukwatako.

Nnazaalibwa mu 1959 mu kibuga Fuzhou ekisangibwa mu ssaza ly’e Jiangxi, mu China. We nnawereza emyaka munaana embeera teyali nnyangu olw’enkyukakyuka ez’amaanyi ezaaliwo mu by’obufuzi mu China. Taata yali muzimbi era baamulagira okugenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka mu kitundu ekyali ewala ennyo okuva ewaffe. Okumala emyaka mingi taata yatukyaliranga omulundi gumu mu mwaka. Mu kiseera ekyo nnali mbeera ne maama wange eyali asomesa mu ssomero erimu erya pulayimale. Twali tubeera ku ssomero eryo maama lye yali asomesaamu. Mu 1970, twasengukira ku kyalo ky’e Liufang, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Linchuan. Obwavu bwali bungi ku kyalo ekyo era n’emmere yali ntono ddala.

Awaka mwali ba ddiini ki?

Taata yali teyettanira bya ddiini na bya bufuzi. Maama yali wa nzikiriza ya Bbuda. Ku ssomero baatuyigiriza nti ebintu tebyatondebwa, wabula nti byajjawo byokka, era nnakiriza ekyo abasomesa kye baali bagamba.

Lwaki wayagala nnyo essomo ly’Okubala?

Nnayagala nnyo okubala kubanga kuzingiramu okukozesa obusobozi bw’okulowooza okunoonya ekituufu. Mao Tse-tung, eyali awomye omutwe mu nkyukakyuka z’eby’obufuzi ezaaliwo mu China, bwe yafa mu 1976, waayita ekiseera kitono ne ŋŋenda ku yunivasite. Nnasalawo okusoma okubala. Bwe nnamala okufuna ddiguli ey’okubiri, omulimu gwe nnasooka okufuna gwali guzingiramu okukola ebibalo ebyali byetaagisa okuzimba ebyuma ebikola amaanyi ga nukiriya.

Ndowooza ki gye walina ku Bayibuli mu kusooka?

Mu 1987, nnagenda mu Amerika okwongera okusoma mu yunivasite ya Texas A&M. Nnali nkimanyi nti mu Amerika abantu bangi baali bakkiririza mu Katonda era nga basoma Bayibuli. Ate era nnali nnakiwulirako nti Bayibuli erimu amagezi mangi ag’omuganyulo, era bwe ntyo nnasalawo okugisoma.

Ebyo bye nnasoma mu Bayibuli byali bikola amakulu. Naye ebimu ku byo byanzibuwalira okutegeera, ekyandeetera okulekera awo okugisoma.

Kiki ekyakuleetera okwagala okuddamu okusoma Bayibuli?

Kyali kipya gye ndi okuwulira nti eriyo Omutonzi, era ensonga eyo nnasalawo okuginoonyerezaako

Mu 1990, omukyala omu Omujulirwa wa Yakuwa yajja awaka waffe n’andaga okuva mu Bayibuli nti ebiseera by’abantu eby’omu maaso bijja kuba birungi. Yakola enteekateeka n’anfunira omwami omu ne mukyala we okunjigiriza Bayibuli. Oluvannyuma mukyala wange, Liping, eyali yasomesaako essomo lya ssaayansi mu ssomero lya siniya erimu mu China era eyali takkiriza nti Katonda gy’ali, naye yatandika okuyiga Bayibuli. Twayiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri obulamu gye bwajjawo. Kyali kipya gye ndi okuwulira nti eriyo Omutonzi, era ensonga eyo nnasalawo okuginoonyerezaako.

Ekyo wakikola otya?

Okumanya kwe nnalina mu ssomo ly’okubala nnali nsobola okukukozesa okubalirira omukisa gw’ebintu okubaawo oba obutabaawo. Era nnali njize nti ekintu ekiramu okusobola okubaawo, walina okusooka okubaawo obuntu obuyitibwa protein, kubanga obutoffaali bw’ebintu ebiramu okusingira ddala bukolebwa protein. Bwe kityo, nnasalawo okubalirira omukisa gwa protein okujjawo zokka nga tewali azikoze. Protein ze zimu ku bintu ebyakula mu ngeri esingayo okwewuunyisa, ate nga mu butoffaali obuba mu bintu ebiramu mubaamu enkumi n’enkumi za protein ez’enjawulo ezikolagana mu ngeri entegeke obulungi. Okufaananako abantu abalala bangi, nnange nnakiraba nti tekisoboka n’akatono okuba nti protein zisobola okujjawo zokka! Ku ebyo bye nnasoma ebikwata ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka, tewali kunnyonnyola kwonna kwe nnafuna okwankakasa nti protein zajjawo zokka. Nnakiraba nti ddala eriyo Omutonzi eyazikola.

Kiki ekyakukakasa nti Bayibuli yava eri Katonda?

Bwe nneeyongera okuyiga n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakiraba nti mu Bayibuli mulimu obunnabbi bungi obwatuukirira. Ate era nnatandika okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Nneebuuza nti, ‘Abawandiisi ba Bayibuli abaaliwo emyaka mingi emabega bayinza batya okuba nga baawandiika ebintu ebituganyula n’okutuusa leero?’ Mpolampola nnakiraba nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.

Kiki ekikyeyongera okukukakasa nti eriyo Omutonzi?

Bwe ndowooza ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku butonde, ndabira ddala nga waliwo Omutonzi. Kati omulimu gwe nkola gwa kuyiiya programu za kompyuta, era kindeetera okuwuniikirira bwe ndowooza ku ngeri obwongo bwaffe gye busingira ewala programu za kompyuta. Ng’ekyokulabirako, engeri obwongo bwaffe gye busobola okutegeeramu ebyo ebiba byogerwa yeewuunyisa nnyo. Abantu abasinga obungi kibanguyira okutegeera ebyo ebiba byogeddwa ne bwe kiba nti oyo aba ayogera tamazeeyo sentensi, asese, akolodde, ananaagira, oba ne bwe kiba nti waliwo amaloboozi g’abantu abalala oba ag’ebintu ebirala. Ekyo oyinza okukitwala ng’ekintu ekitono. Naye abo abayiiya programu za kompyuta bakimanyi nti ekyo si kintu kitono n’akamu. Ne programu ya kompyuta esobola okutegeera amaloboozi esingayo okuba ey’omulembe, terina bw’eri bw’ogigeraageranya ku bwongo bw’omuntu.

Obwongo bwaffe busobola okutegeera enneewulira z’omuntu, enjogera z’abantu ab’enjawulo, era busobola okutegeera omuntu ng’owulidde buwulizi ddoboozi lye, ekintu ne kompyuta esingayo okuba ku mulembe ky’etesobola kukola. Abayiiya programu za kompyuta banoonyereza ku ngeri gye bayinza okukola kompyuta esobola okutegeera amaloboozi, ng’obwongo bw’omuntu. Nkimanyi nti bwe bakola batyo baba beetegereza omulimu gwa Katonda.