Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tusaanidde Okusaba Yesu?

Tusaanidde Okusaba Yesu?

OMUKUGU omu anoonyereza ku by’eddiini yabuuza abavubuka abasukka mu 800 abava mu madiini agasukka mu kkumi n’abiri, ng’ayagala okumanya obanga bakkiriza nti Yesu addamu okusaba kw’abantu. Abavubuka abasukka mu 60 ku buli kikumi baagamba nti Yesu addamu okusaba kw’abantu. Omuvubuka omu yekka ye yagamba nti Katonda y’addamu okusaba so si Yesu.

Ggwe olowooza otya? Tusaanidde kusaba Yesu oba Katonda? * Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka tusooke tulabe engeri Yesu gye yayigirizaamu abagoberezi be okusaba.

YESU YATUGAMBA KUSABA ANI?

Yesu teyakoma ku kutubuulira oyo gwe tusaanidde okusaba, naye era yatuteerawo ekyokulabirako.

Yesu bwe yasaba Kitaawe ow’omu ggulu, yatuteerawo ekyokulabirako kye tusaanidde okugoberera

GWE YATUGAMBA OKUSABA: Omu ku bayigirizwa ba Yesu bwe yamugamba nti, “Mukama waffe tuyigirize engeri y’okusabamu,” Yesu yagamba nti: ‘Buli lwe muba musaba mugambe nti “Kitaffe.”’ (Lukka 11:1, 2) Ate era, Yesu bwe yali ku lusozi ng’ayigiriza, yakubiriza abantu okusaba. Yabagamba nti: ‘Musabe Kitammwe.’ Era yabakakasa nti: “Kitammwe Katonda amanyi ebintu bye mwetaaga nga temunnaba na kubimusaba.” (Matayo 6:6, 8) Mu kiro ekyasembayo alyoke attibwe, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.” (Yokaana 16:23) N’olwekyo Yesu yatuyigiriza okusaba Kitaawe era Kitaffe, Yakuwa Katonda.Yokaana 20:17.

EKYOKULABIRAKO KYE: Yesu naye yasabanga, era lumu bwe yali asaba yagamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi.” (Lukka 10:21) Ku mulundi omulala, ‘Yesu yatunula waggulu n’agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde.”’ (Yokaana 11:41) Era bwe yali anaatera okufa, Yesu yasaba ng’agamba nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” (Lukka 23:46) Yesu bwe yasaba Kitaawe ow’omu ggulu, “Mukama w’eggulu n’ensi,” yatuteerawo ekyokulabirako ffenna kye tusaanidde okugoberera. (Matayo 11:25; 26:41, 42; 1 Yokaana 2:6) Abagoberezi ba Yesu abaasooka baasabanga oyo gwe yabagamba okusaba?

ABAKRISTAAYO ABAASOOKA BAASABANGA ANI?

Oluvannyuma lwa wiiki mbale nga Yesu amaze okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be baatandika okuyigganyizibwa ennyo. (Ebikolwa 4:18) Mu kuyigganyizibwa okwo baasabanga, naye baasabanga ani? Bayibuli egamba nti: “Ne basabira wamu Katonda” nga bamwegayirira yeeyongere okubayamba “okuyitira mu linnya ly’omuweereza [we] omutukuvu, Yesu.” (Ebikolwa 4:24, 30) N’olwekyo abayigirizwa ba Yesu baasabanga Katonda so si Yesu.

Nga wayiseewo emyaka mingi, omutume Pawulo yannyonnyola engeri ye ne banne gye baali basabamu. Bwe yali awandiikira Bakristaayo banne, yagamba nti: “Bulijjo twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo nga tubasabira.” (Abakkolosaayi 1:3) Ate era yagamba nti: ‘Bulijjo mwebazenga Katonda era Kitaffe olw’ebintu byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.’ (Abeefeso 5:20) N’olwekyo Pawulo yakubirizanga bakkiriza banne okusaba “Katonda Kitaffe olw’ebintu byonna,” mu linnya lya Yesu.Abakkolosaayi 3:17.

Okufaananako Abakristaayo abaasooka, naffe tusaanidde okulaga nti twagala Yesu nga tusaba nga bwe yatuyigiriza okusaba. (Yokaana 14:15) Bwe tusaba Kitaffe ow’omu ggulu yekka, ebigambo ebiri mu Zabbuli 116:1, 2 bijja kweyongera okuba eby’amakulu gye tuli. Wagamba nti: “Mmwagala Mukama, kubanga awulidde eddoboozi lyange . . . Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.” *

^ lup. 3 Bayibuli eraga nti Katonda ne Yesu tebenkanankana.

^ lup. 11 Katonda bw’aba ow’okuwulira essaala zaffe, tusaanidde okufuba okukola ebyo by’ayagala. Okumanya ebisingawo, laba essuula 17 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?