Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bwe Nsaba Katonda Anannyamba?

Bwe Nsaba Katonda Anannyamba?

Bayibuli ky’egamba

 Yee, Katonda ayamba abo abamusaba mu bwesimbu era nga bye basabye bituukagana n’ebyo by’ayagala. Ne bw’oba nga tosabangako, ebyokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaasaba Katonda abayambe bisobola okukuzzaamu amaanyi. Ebimu ku byo bye bino:

  •   “Nnyamba, Ai Yakuwa Katonda wange; ndokola olw’okwagala kwo okutajjulukuka.”—Zabbuli 109:26.

  •   “Nze ndi mwavu era seesobola; Yakuwa . . . ggwe annyamba era ggwe annunula.”—Zabbuli 40:17.

 Kya lwatu nti oyo eyawandiika ebigambo ebyo yali yeesiga nnyo Katonda. Katonda awulira essaala z’abo bonna abamusaba mu bwesimbu, gamba ng’abo abalina “omutima ogumenyese” oba “omwoyo oguboneredde.”—Zabbuli 34:18.

 Tosaanidde kulowooza nti Katonda akuli wala nnyo ne kiba nti takufaako ng’ofunye ebizibu. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa wa waggulu nnyo, alowooza ku beetoowaze, naye ab’amalala abeesamba.” (Zabbuli 138:6) Mu butuufu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa.” (Matayo 10:30) Katonda amanyi byonna ebikukwatako nga mw’otwalidde n’ebyo by’otomanyi na kumanya. Awatali kubuusabuusa, bw’oba olina ebikweraliikiriza n’omusaba, akuwuliriza!—1 Peetero 5:7.