Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Bye Nnali Nneebuuza

Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Bye Nnali Nneebuuza
  • Nnazaalibwa: 1987

  • ENSI: AZERBAIJAN

  • Ebyafaayo: TAATA YALI MUSIRAAMU MAAMA YALI MUYUDAAYA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kibuga Baku, eky’omu Azerbaijan. Twazaalibwa abaana babiri era nze ow’okubiri. Taata yali musiraamu ate maama yali Muyudaaya. Bazadde bange baali baagalana nnyo era nga buli omu tawakanya nzikiriza ya munne. Maama yayambangako nnyo taata mu kiseera ky’ekisiibo era ne taata yawagiranga maama mu kiseera eky’okukuza embaga ey’Okuyitako. Awaka twalina Kulaani, Tora, ne Bayibuli.

Nze nnali mu ddiini ya taata ey’Obusiiramu. Wadde nga nnali nzikiriza nti Katonda gyali, waliwo ebibuuzo bye nnali nneebuuza. Neebuuzanga nti, ‘Lwaki Katonda yatonda abantu, era kigasa ki omuntu okubonaabona ekiseera kyonna ky’amala ku nsi ate oluvannyuma n’abonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?’ Olw’okuba abantu baagambanga nti buli ekibaawo Katonda y’aba yakiteekateeka, nneebuuzanga nti, ‘Katonda kimusanyusa okulaba abantu nga babonaabona?’

Bwe nnaweza emyaka 12, nnatandika okusaala esswala ettaano Omusiraamu z’alina okusaala buli lunaku. Mu kiseera ekyo, taata yatutwala mu ssomero ly’Abayudaaya. Mu bye twayigirizibwa mwe mwali olulimi Olwebbulaniya n’obulombolombo obuli mu kitabo ekiyitibwa Tora eky’Abayudaaya. Buli lunaku bwe twabanga tetunnatandika kusoma, twalinanga okusaba nga tugoberera obulombolombo bw’Abayudaaya. Bwe kityo buli ku makya, bwe nnabanga sinnava waka nnasaalanga, ate bwe nnabanga ku ssomero nga nsaba ssaala z’Abayudaaya.

Nnali njagala nnyo okuddibwamu ebibuuzo byange mu ngeri ematiza. Abaatusomesanga eddiini y’Ekiyudaaya nnababuuzanga nti: “Lwaki Katonda yatonda abantu? Katonda atwala atya taata wange Omusiraamu? Taata muntu mulungi, kati olwo lwaki mumutwala nti si mulongoofu? Lwaki Katonda yamutonda?” Tebanzirangamu mu ngeri ematiza era baabanga bakambwe nnyo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu mwaka gwa 2002, kata ndekere awo okukkiriza mu Katonda. Twali twakasengukira e Bugirimaani era nga waakayita wiiki emu yokka, obulwadde obwali buluma taata ne bweyongera era n’azirika. Nnali mmaze emyaka mingi nga nsaba Katonda amuyambe assuuke era ayambe n’amaka gaffe. Olw’okuba nnali nkimanyi nti Katonda alina obuyinza ku bulamu ne ku kufa, nnamwegayiriranga buli lunaku awonye taata era nnali mukakafu nti Katonda yandizzeemu essaala zange. Naye era taata yafa.

Nnanakuwala nnyo era ne ntandika okulowooza nti Katonda tatufaako. Mu kiseera ekyo nnalowooza nti engeri gye nnali nsabamu ye yali ekyamu. Nnasoberwa era ne ndekera awo okusaala. Nnalaba nga n’amadiini amala bye gayigiriza si bituufu, bwe ntyo ne ndowooza nti Katonda taliiyo.

Nga wayiseewo emyezi mukaaga, Abajulirwa ba Yakuwa baakonkona ku mulyango gwaffe. Olw’okuba twali tetukkiririza mu madiini g’Ekikristaayo, mu ngeri ey’obukkakkamu nze ne muganda wange twagezaako okubalaga nti bye bayigiriza bikyamu. Twababuuza nti: “Lwaki Abakristaayo basinza Yesu, omusaalaba, Maliyamu, n’ebifaananyi ebirala, ng’ate ekyo kikontana n’Amateeka Ekkumi?” Abajulirwa ba Yakuwa abo baakozesa Ebyawandiikibwa okutulaga nti Abakristaayo ab’amazima tebalina kusinza bifaananyi era nti Katonda yekka gwe tulina okusaba. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo.

Oluvannyuma twababuuza nti: “Ate enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu? Bwe kiba nti Yesu ye Katonda, Katonda asobola okujja wano ku nsi n’abeera n’abantu era abantu ne bamutta?” Baakozesa Bayibuli okutunnyonnyola nti Yesu si ye Katonda, era nti Yesu ne Katonda tebenkanankana. Baatugamba nti eyo ye nsonga lwaki bo tebakkiririza mu njigiriza ey’obusatu. Nneewuunya nnyo era ne nneebuuza nti, ‘Bano Bakristaayo ba ngeri ki?’

Naye era nnayagala okumanya ensonga lwaki abantu bafa, era n’ensoga lwaki Katonda aleka abantu okubonaabona. Bandaga akatabo akalina omutwe ogugamba nti, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, * akalimu essuula ezaddamu ebibuuzo byange era ne batandikirawo okunjigiriza Bayibuli.

Buli lwe twabanga tuyiga Bayibuli, ebibuuzo byange byaddibwangamu mu ngeri etegeerekeka obulungi. Nnayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. (Zabbuli 83:18) Era nnayiga nti engeri ye esinga obukulu kwe kwagala. (1 Yokaana 4:8) Yatonda abantu ng’ayagala babe mu bulamu obw’essanyu. Nnayiga nti wadde nga Katonda aleka abantu okubonaabona, si yaaleeta okubonaabona era nti anaatera okukuggirawo ddala. Ate era nnayiga nti abantu babonaabona olw’obujeemu bwa Adamu ne Kaawa. (Abaruumi 5:12) Ebimu ku bivudde mu bujeemu obwo be bantu okufa, nga mw’otwalidde ne kitange. Naye Katonda ajja kuggyawo ebizibu ebyo byonna mu nsi empya, era n’abantu abaafa bajja kuzuukizibwa.Ebikolwa 24:15.

Bayibuli yaddamu ebibuuzo bye nnali nneebuuza. Nnaddamu okukkiririza mu Katonda, era bwe nneeyongera okumanya Abajulirwa ba Yakuwa nnakiraba nti bali bumu okwetooloola ensi yonna. Obumu bwe balina n’okwagala byankwatako nnyo. (Yokaana 13:34, 35) Ebyo bye nnayiga ku Yakuwa byandeetera okwagala okumuweereza, bwe ntyo ne nsalawo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Nnabatizibwa nga Jjanwali 8, 2005.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Ebyo bye nnayiga mu Bayibuli byakyusiza ddala endowooza gye nnalina ku bulamu era kati mpulira emirembe mu mutima. Mbudaabudibwa nnyo buli lwe ndowooza ku ssuubi ery’okuzuukira eriri mu Bayibuli, era nneesunga nnyo okuddamu okulaba ku kitange.Yokaana 5:28, 29.

Kati mmaze emyaka mukaaga nga ndi mufumbo, era nze n’omwami wange Jonathan tuli basanyufu nnyo okuweerereza awamu Katonda. Ffembi twayiga amazima agakwata ku Katonda agategeerekeka obulungi era ag’omuwendo ennyo. Kati ndi mukakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima.

^ lup. 15 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyakubibwa.