Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?

Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?

‘Emirembe emirala gigenda, n’emirembe emirala gijja; ensi ebeerawo ennaku zonna.’—KABAKA SULEMAANI OWA ISIRAERI EY’EDDA. *

Omuwandiisi wa Bayibuli oyo bwe yageraageranya emyaka emitono ennyo omuntu gy’awangaala n’emyaka ensi gy’emaze nga weeri, yalaba nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo. Mu butuufu, omulembe ogumu gugenda omulala ne guddawo, naye ensi ebaddewo ebbanga lyonna, era ebintu ebiramu bikyasobola okugibeerako.

Okuva ku Ssematalo ow’okubiri, wabaddewo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Mu myaka nga nsanvu egyakayitawo, wabaddewo enkulaakulana ey’amaanyi mu by’entambula, mu by’empuliziganya, ne mu bya tekinologiya ebirala. Abantu bangi bali mu bulamu obulungi bwe baali batasuubira kubeeramu, era kati omuwendo gw’abantu gukubisaamu emirundi esatu bw’ogugeraageranya n’ogw’abo abaaliwo nga Ssematalo ow’okubiri yaakaggwa.

Kyokka, enkulaakulana ezo tezivuddeemu birungi byokka. Kigambibwa nti ebintu abantu bye bakola byonoona nnyo ensi, ne kiba nti gye bujja kiyinza okuba ekizibu ennyo okugibeerako. Mu butuufu, bannasayansi abamu bagamba nti mu byafaayo byonna, ensi esinze kwonoonebwa mu kiseera kino.

Bayibuli yalaga dda nti ekiseera kyandituuse abantu ne ‘boonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18)  Abamu beebuuza obanga ekiseera ekyo kye kino kye tulimu. Abantu balituusa wa okwonoona ensi? Banaagyonoonera ddala n’esaanawo?

ENSI ENEEYONOONEKERA DDALA?

Bannasayansi abamu bagamba nti kizibu okumanya ebinaava mu nkyukakyuka y’embeera y’obudde, era beeraliikirivu nti gye bujja, embeera y’obudde eyinza okukyuka embagirawo ebitonde byonna ebiramu ne bikosebwa.

Ng’ekyokulabirako, kigambibwa nti ensi bw’eneeyongera okubuguma, omuzira omungi ennyo ogwakwata ku guyanja Antarctic gujja kusaanuuka gwonna. Omuzira ogwo guziyiza ebbugumu eriva ku njuba ne litatuuka ku mazzi agali wansi waagwo. Naye bwe guneeyongera okukendeera, amazzi agali wansi waagwo gajja kubuguma, kiviireko omuzira gwonna okusaanuuka. Ekyo kiyinza okuviirako amazzi okweyongera ne wabaawo akatyabaga akayinza okutta abantu bukadde na bukadde.

OKULWANIRIRA OBUTONDE

Abantu bakoze enteekateeka eziwerako okulwanirira obutonde bw’ensi. Mu emu ku nteekateeka ezo erudde ng’egobererwa, abantu bakubirizibwa okwekulaakulanya naye nga teboonoona butonde bwa nsi. Biki ebivuddemu?

Eky’ennaku, abantu beeyongera bweyongezi kwonoona butonde. Bakozesa ebintu ebiri ku nsi ku kigero kya waggulu nnyo ne kiba nti ensi tesobola kubizzaawo mangu. Waliwo ekisobola okukolebwa okutaasa obutonde? Kakensa omu eyeekenneenya eby’obutonde yagamba nti: “Tetumanyi kye tuyinza kukola okusobola okutaasa obutonde.” Ekyo kikwatagana bulungi n’ekyo Bayibuli ky’egamba: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”Yeremiya 10:23.

Ku luuyi olulala, Bayibuli etukakasa nti Katonda eyatonda ensi tajja kuleka bantu kugyonoonera ddala. Mu Zabbuli 115:16, Bayibuli egamba nti: “Ensi [Katonda] yagiwa abaana b’abantu.” Ensi ‘kirabo kirungi’ Kitaffe ow’omu ggulu kye yatuwa. (Yakobo 1:17) Ddala Katonda ayinza okutuwa ekirabo ky’amanyi nti kijja kutuusa ekiseera kyonooneke? Tayinza kukola bw’atyo! Ekitukakasa  ekyo ye ngeri ensi gye yatondebwamu.

EKIGENDERERWA KY’OMUTONZI

Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye kitubuulira mu bulambulukufu engeri Katonda gye yatondamu ensi. Mu kusooka “ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n’ekizikiza kyali kungulu ku buziba.” Naye waaliwo ‘amazzi’ agandibadde ag’omugaso ennyo eri ebitonde ebyandibadde ku nsi. (Olubereberye 1:2) Oluvannyuma Katonda yagamba nti: ‘Wabeewo ekitangaala.’ (Olubereberye 1:3) Ekitangaala okuva ku njuba kyatuuka ku nsi ne wabaawo ekitangaala ku nsi omulundi ogwasookera ddala. Oluvannyuma Katonda yatonda olukalu n’ennyanja. (Olubereberye 1:9, 10) Ebyo bwe byaggwa, ensi n’emerako ‘omuddo ogubala ensigo, n’emiti egibala ebibala.’ (Olubereberye 1:12) Bw’atyo Katonda bwe yateekateeka ebintu ebisobozesa ebiramu okubeerawo ku nsi. Yalina kigendererwa ki?

Nnabbi Isaaya yagamba nti Katonda ‘yabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu.’ (Isaaya 45:18) N’olwekyo, Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeereko emirembe gyonna.

Eky’ennaku, abantu boonoonye ensi—ekirabo Katonda kye yabawa. Naye ekigendererwa kya Katonda tekikyukanga. Bayibuli egamba nti: “Katonda si muntu, okulimba; so si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n’okukola talikikola?” (Okubala 23:19) Katonda tajja kuleka bantu kwonoonera ddala nsi; ekiseera kinaatera okutuuka ‘azikirize abo aboonoona ensi.’Okubikkulirwa 11:18.

TUJJA KUBEERA KU NSI EMIREMBE GYONNA

Lumu Yesu bwe yali ayigiriza yagamba nti: “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Ate era Yesu yabuulira abaali bamuwuliriza engeri Katonda gy’anaalongosaamu ensi. Yagamba abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” Obwakabaka bwa Katonda, oba gavumenti ye, bw’ajja okukozesa okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda ensi.Matayo 6:10.

 Katonda bwe yali ayogera ku nkyukakyuka ez’omuggundu Obwakabaka obwo ze bunaaleeta, yagamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:5) Ekyo kitegeeza nti Katonda ajja kuggyawo ensi eno atonde endala? Nedda, kubanga ensi Katonda yagitonda nga teriiko kikyamu kyonna. Katonda ajja kuggyawo “abo aboonoona ensi,” ng’abo be bantu ababi awamu ne gavumenti zaabwe. Wajja kuddawo “eggulu eriggya n’ensi empya.” “Eggulu eriggya” ye gavumenti empya ey’omu ggulu, oba Obwakabaka bwa Katonda, ate “ensi empya” be bantu abajja okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka obwo.Okubikkulirwa 21:1.

Katonda ajja kuzzaawo ebintu byonna abantu bye boonoonye, ebitonde ebiramu bibe nga birina buli kimu kye byetaaga. Ng’ayogera ku ekyo Katonda ky’ajja okukola, omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: “[Olabirira] ensi, n’ogifukirira, ogigaggawaza nnyo.” Katonda bw’anaaba amaze okulongoosa ensi era ng’agiwadde omukisa, embeera y’obudde ejja kuba nnungi, ensi ejja kuba erabika bulungi era ng’ebala emmere nnyingi.Zabbuli 65:9-13.

Okusinziira ku muwandiisi ayitibwa Pyarelal, omukulembeze w’Abahindu eyali ayitibwa Mohandas Gandhi yagamba nti: “Ensi eriko ebintu ebimala buli muntu, naye abamu bwe babilulunkanira biba tebimala.” Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ensibuko y’ebizibu byonna nga buyamba abantu okukyusa enneeyisa yaabwe. Nnabbi Isaaya yalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buliba bufuga, “ensi erijjula okumanya Mukama.” (Isaaya 11:9) Abantu baliba tebayisa bubi bannaabwe, era nga teboonoona nsi. Mu butuufu, ne leero abantu bukadde na bukadde okuva mu mawanga gonna bayigirizibwa emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Bayigirizibwa okwagala Katonda ne bantu bannaabwe, okufaayo ku butonde, okulaga nti basiima ebyo Katonda by’atukolera, n’okweyisa mu ngeri gy’ayagala. Bateekebwateekebwa okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi.Omubuulizi 12:13; Matayo 22:37-39; Abakkolosaayi 3:15.

Katonda tayinza kuleka bantu kwonoonera ddala nsi eno ennungi ennyo

Ekitabo ky’Olubereberye bwe kiba kifundikira ebikwata ku kutonda kigamba nti: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba, kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Yakuwa Katonda tayinza kuleka bantu kwonoonera ddala nsi eno ennungi ennyo, era ekyo kitusanyusa nnyo. Mu butuufu asuubiza nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Naawe onoobeera omu ku ‘batuukirivu’ abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna?

^ par. 3 Biggiddwa mu Bayibuli mu Omubuulizi 1:4.