Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 5

Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

1. Lwaki Katonda yatonda ensi?

Ensi Yakuwa yagiwa abantu. Ge maka gaffe. Bwe kityo, abantu abaasooka Adamu ne Kaawa tebaatondebwa kubeera mu ggulu—Katonda yali yamala dda okutonda bamalayika okubeera mu ggulu. (Yobu 38:4, 7) Katonda yateeka omuntu eyasooka mu lusuku Adeni olwali lulabika obulungi. (Olubereberye 2:15-17) Yakuwa yali awadde Adamu n’abaana be enkizo ey’okubeera ku nsi emirembe gyonna.​—Soma Zabbuli 37:29; 115:16.

Mu kusooka olusuku lwa Katonda lwali mu Adeni. Adamu ne Kaawa baali ba kuzaala abaana bajjuze ensi bagifuule olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28) Ensi tejja kuzikirizibwa. Ejja kweyongera okubaako abantu.​—Soma Zabbuli 104:5.

Laba vidiyo Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

2. Lwaki kaakano ensi si lusuku lwa Katonda?

Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa Katonda n’abagoba mu lusuku lwe. Olusuku olwo baalufiirwa, era tewali n’omu asobodde kuluzzaawo. Bayibuli egamba nti: “Ensi yaweebwayo mu mukono gw’omubi.”​—Yobu 9:24.​—Soma Olubereberye 3:23, 24.

Yakuwa alemereddwa okutuukiriza ekyo kye yayagaliza abantu? Nedda! Tayinza kulemererwa kukituukiriza kubanga ye muyinza w’ebintu byonna. (Isaaya 45:18) Katonda ajja kusobozesa abantu okubeera mu bulamu obweyagaza nga bwe yali ateeseteese mu kusooka.​—Soma Zabbuli 37:11, 34.

3. Olusuku lwa Katonda lunnazzibwawo lutya?

Olusuku lwa Katonda lujja kuzzibwawo ku nsi mu kiseera eky’obufuzi bwa Yesu. Ku lutalo Amagedoni, Yesu ajja kukulemberamu bamalayika ba Katonda azikirize bonna abajeemera Katonda. Oluvannyuma Yesu ajja kusiba Sitaani okumala emyaka 1,000. Abantu ba Katonda bajja kuwonawo kubanga Yesu ajja kubawa obulagirizi n’obukuumi. Bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Soma Okubikkulirwa 20:1-3; 21:3, 4.

4. Okubonaabona kunaakoma ddi?

Katonda anaakomya ddi ebintu ebibi ebikolebwa ku nsi? Yesu yawa “akabonero” akandiraze nti enkomerero eri kumpi. Embeera eziriwo mu nsi leero zitadde obulamu bw’abantu mu kabi era ziraga nti tuli mu kiseera ‘eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’​—Soma Matayo 24:3, 7-14, 21, 22.

Mu kiseera ky’obufuzi bwe obw’emyaka 1,000, Yesu ajja kumalawo okubonaabona kwonna bw’anaaba afuga ensi ng’asinziira mu ggulu. (Isaaya 9:6, 7; 11:9) Ng’oggyeeko okufuga nga Kabaka, Yesu ajja kuweereza nga Kabona Omukulu era ajja kuggyawo ebibi by’abo bonna abaagala Katonda. Bwe kityo, Katonda ajja kukozesa Yesu okuggyawo obulwadde, okukaddiwa n’okufa.​—Soma Isaaya 25:8; 33:24.

5. Baani abanaabeera mu lusuku lwa Katonda?

Mu Kizimbe ky’Obwakabaka ojja kusangayo abantu abaagala Katonda era abaagala okukola ebimusanyusa

Abantu abagondera Katonda be bajja okubeera mu Lusuku lwe. (1 Yokaana 2:17) Yesu yatuma abagoberezi be okunoonya abantu abawombeefu babayigirize okukola ebisanyusa Katonda. Leero Yakuwa ateekateeka obukadde n’obukadde bw’abantu abanaabeera mu Lusuku lwe ku nsi. (Zeffaniya 2:3) Mu Bizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa, abantu bayiga okuba abaami ne bataata abalungi, oba abakyala ne bamaama abalungi. Abaana n’abazadde basinziza wamu era amawulire amalungi gabasobozesa okulongoosa obulamu baabwe.​—Soma Mikka 4:1-4.