Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Ekisuubizo kya Katonda eky’Okufuula Ensi Olusuku lwe Kyakyusa Obulamu Bwange”

“Ekisuubizo kya Katonda eky’Okufuula Ensi Olusuku lwe Kyakyusa Obulamu Bwange”
  • NNAZAALIBWA: 1974

  • ENSI: LATVIA

  • EBYAFAAYO: NNALI MUVUZI WA PIKIPIKI Z’EMPAKA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kibuga ekikulu Riga, ekya Latvia. Nze ne mwannyinaze maama ye yatukuza. Wadde nga maama Mukatuliki, mu kkereziya twagendangayo ku nnaku enkulu zokka. Nnava buto nga njagala Katonda, naye bwe nnavubuka, waliwo ebintu bingi ebyantwaliriza.

Bwe nnagenda nkula, maama yakiraba nti nnali nyumirwa nnyo okupangululapangulula ebintu ate oluvannyuma ne mbizzaawo. Olw’okuba maama yakiraba nti nnali nnyinza okwonoona ebintu ebimu ebyali awaka, yangulira akabokisi akaalimu eby’okuzannyisa bye nnabanga nsobola okupanga n’okupangulula. Ate era mu kiseera kye kimu nnali nyumirwa nnyo okuvuga bupikipiki bw’abaana. Maama yantwalanga ne nneetaba mu mpaka za pikipiki ez’abato. Oluvannyuma nnatandika okwetaba ne mu z’abakulu.

Nnali njiga mangu, era mu kiseera kitono nnatandika okuwangula empaka za pikipiki ezitali zimu. Nnawangula empaka za mirundi esatu eza bannantameggwa mu kuvuga pikipiki mu Latvia, ate ne mpangula n’empaka za mirundi ebiri eza bannantameggwa ez’amawanga asatu: Estonia, Latvia, ne Lithuania.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Lumu, muganzi wange Evija (oluvannyuma gwe nnawasa) yafuna akatabo akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era kaaliko akakonge omuntu kasobola okujjuzaamu n’asaba okuyigirizibwa Bayibuli. Yajjuzaamu akakonge ako n’akaweereza Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kiseera kitono, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baamukyalira ne batandika okumuyigiriza Bayibuli. Ekyo nnali sikirinaako buzibu bwonna, naye nga nze mu kiseera ekyo eby’eddiini sibitwala ng’ekikulu.

Lumu, Abajulirwa ba Yakuwa abo bansaba mbeerewo nga bayigiriza Evija Bayibuli, ne nzikiriza. Bye baali bayigiriza byansanyusa nnyo. Ekimu ku byasinga okunsanyusa bye byawandiikibwa ebiraga nti ensi eno ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, bandaga Zabbuli 37:10, 11, awagamba nti: “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Ekyawandiikibwa ekyo kyankwatako nnyo.

Nneeyongera okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Nnakizuula nti waliwo ebintu amadiini mangi bye gayigiriza naye nga si bituufu. Bye nnali njiga mu Bayibuli byansanyusa nnyo olw’okuba byali bya makulu ate nga bitegeerekeka bulungi.

Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakitegeera nti obulamu Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo. (Zabbuli 36:9) Olw’okuba okuvuga pikipiki z’empaka kyali kiteeka obulamu bwange mu kabi, nnalekera awo okuzivuga. Nnasalawo okukozesa obulamu bwange okuweereza Yakuwa. N’olwekyo, ettutumu, ekitiibwa, n’essanyu bye nnafunanga mu kuvuga pikipiki z’empaka nnali sikyabitwala ng’ebikulu.

Nnakitegeera nti Katonda ayagala obulamu bwaffe tubutwale nga bwa muwendo

Mu 1996, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kibuga Tallinn, mu Estonia, era nga lwali kumpi n’ekifo we nnateranga okuvugira pikipiki z’empaka. Ku lukuŋŋaana olwo, abantu bonna baali bumu era nga bali mu mirembe wadde nga baali bavudde mu nsi za njawulo. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ensawo ye yamubulako, era nnali ndowooza nti yali tagenda kugifuna. Kyokka mu kaseera katono, Omujulirwa wa Yakuwa omulala yagizuula n’agimuleetera, ng’ebintu bye byonna mwebiri. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo! Nnakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Nze ne Evija tweyongera okuyiga Bayibuli, era mu 1997 twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Abamu ku mikwano gyange baafiira mu mpaka za pikipiki. Naye nze bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnakitegeera nti Katonda ayagala obulamu bwaffe tubutwale nga bwa muwendo. Ekyo kyannyamba okulekera awo okuvuga pakipiki z’empaka ezaali ziyinza okunzita.

Nze ne mukyala wange, twafuna enkizo ey’okuweerereza ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu kibuga Riga okumala emyaka ena. Mu kiseera kino tufuba okukuza muwala waffe, Alise, n’okumuyigiriza ebikwata ku Yakuwa. Ate era olunaku lumu buli wiiki ŋŋenda ku ofiisi zaffe awavvuunulirwa ebitabo, okukanika emmotoka n’ebintu ebirala, era ng’eyo ngitwala nga nkizo ya maanyi nnyo. Kinsanyusa nnyo okukozesa obumanyirivu bwe nnafuna nga kyali muto. Nnyinza okugamba nti n’okutuusa kati mpangulula ebintu oluvannyuma ne mbizzaawo!

Bye njize mu Bayibuli binnyambye nnyo era nze ne mukyala wange tugitwala nga nkizo ya maanyi okubuulirako abalala ebikwata ku Katonda omu ow’amazima. Mazima ddala, ekisuubizo kya Katonda eky’okufuula ensi olusuku lwe kyakyusa obulamu bwange!