Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnalemererwa Emirundi Mingi Naye Oluvannyuma ne Mpangula

Nnalemererwa Emirundi Mingi Naye Oluvannyuma ne Mpangula
  • NNAZAALIBWA: 1953

  • ENSI: AUSTRALIA

  • EBYAFAAYO: NNALINA OMUZE OGW’OKULABA EBIFAANANYI EBY’OBUSEEGU

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Taata wange yava mu Bugirimaani n’agenda mu Australia mu 1949, okunoonya omulimu mu birombe gye basima eby’obugagga eby’omu ttaka ne mu kampuni z’amasannyalaze, era yafuna aw’okubeera mu ssaza ly’e Victoria. Bwe yali eyo, yawasa maama wange, era nnazaalibwa mu 1953.

Oluvannyuma lw’emyaka mitono, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigiriza maama wange Bayibuli, bwe ntyo ne mmanyaako ku biri mu Bayibuli nga nkyali muto. Kyokka ye taata eby’eddiini yali tabyagalira ddala. Yatandika okuyigganya maama, era olw’okuba yali mukambwe nnyo, maama yali amutya nnyo. Maama yeeyongera okusoma Bayibuli mu nkukutu era bye yali ayiga yali abyagala nnyo. Taata bwe yabanga taliiwo awaka, maama yatutuuzanga nze ne mwannyinaze omuto, n’atubuulira ku ebyo bye yali ayiga mu Bayibuli. Yatubuuliranga ku nsi empya Katonda gye yasuubiza era n’atugamba nti singa tugoberera emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa, twandibadde basanyufu.—Zabbuli 37:10, 29; Isaaya 48:17.

Bwe nnaweza emyaka 18, nnawalirizibwa okuva awaka olw’obukambwe bwa taata. Wadde nga nnali nkiraba nti maama bye yali anjigiriza byali bituufu, saabikolerako. Nnatandika okukola ku by’amasannyalaze mu kirombe ky’amanda, era bwe nnaweza emyaka 20, nnasalawo okuwasa. Oluvannyuma lw’emyaka esatu, muwala waffe eyasooka yazaalibwa era nnaddamu okulowooza ku kiki ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwange. Nnali nkimanyi nti Bayibuli esobola okuyamba amaka gaffe, bwe ntyo ne nsaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa anjigirize Bayibuli. Naye mukyala wange yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnagendako mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, mukyala wange yaŋŋamba nsalewo kimu ku bibiri: ye okunoba oba nze okulekera awo okuyiga Bayibuli. Olw’okwagala okusanyusa mukyala wange, nnalekera awo okuyiga Bayibuli. Naye oluvannyuma nnejjusa olw’obutakola ekyo kye nnali mmanyi nti kye kituufu.

Lumu, be nnali nkola nabo bandaga ebifaananyi eby’obuseegu. Bwe nnajjukira bye nnali njize mu Bayibuli, omutima gwannumiriza nnyo era ne ntya nti Katonda ajja kumbonereza. Naye bwe nneeyongera okulaba ebifaananyi ebyo, endowooza yange yagenda ekyuka mpolampola. Oluvannyuma lw’ekiseera, okulaba ebifaananyi eby’obuseegu gwanfuukira omuze.

Oluvannyuma lw’emyaka 20, nnali nnyonoonekedde ddala era ng’empisa ennungi maama ze yali anjigirizza nziviiriddeko ddala. Ebyo bye nnali ndaba byakyusa nnyo enneeyisa yange n’enjogera yange. Nnali mpemula nnyo, era nga nnyumirwa nnyo emboozi ezikwata ku by’obugwenyufu. Nnafuna endowooza enkyamu ku bikwata ku by’okwegatta, era wadde nga nnali nkyabeera ne mukyala wange, nneegattanga n’abakazi abalala bangi. Lumu bwe nnalowoooza ku bye nnali nkola, nnawulira nga nneeweebudde nnyo.

Nnayawukana ne mukyala wange era embeera y’obulamu bwange ne yeeyongera okwonooneka. Mu kiseera ekyo nnasaba nnyo Yakuwa era ne nziramu okuyiga Bayibuli, wadde nga waali wayiseewo emyaka 20 bukyanga ndekayo okuyiga Bayibuli. Mu kiseera ekyo taata yali yafa, ate nga ye maama yabatizibwa era nga Mujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Engeri gye nnali nneeyisaamu yali ekontana n’ebyo Bayibuli by’egamba. Naye ku mulundi guno nnali mumalirivu okukolera ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli nsobole okufuna emirembe mu mutima. Nnatandika okulongoosa mu ngeri gye nnali njogeramu n’okufuga obusungu. Ate era nnamalirira okulekayo ebikolwa eby’obuseegu, okukuba zzaala, okunywa ennyo omwenge, n’okubba bakama bange.

Bakozi bannange baali tebategeera nsonga lwaki nnali nsazeewo okukola enkyukakyuka ezo ez’amaanyi. Okumala emyaka esatu, bansendasendanga nziremu okwenyigira mu mize gye nnali ndese. Buli lwe nnalemererwanga okwefuga ne nnyomba oba ne njogera ekigambo ekibi, baaleekaniranga waggulu nti: “Otyo! Joe ow’edda akomyewo.” Ebigambo ebyo byannumanga nnyo, era byandeeteranga okuwulira nti nnemereddwa.

Ebifaananyi eby’obuseegu byali bingi nnyo gye nnali nkolera. Bakozi bannange bampeerezanga ebifaananyi eby’obuseegu nga bakozesa kompyuta zaabwe, nga nange bwe nnakolanga mu kusooka. Nnali nfuba okulekayo okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, naye nabo baali bamalirivu okunnemesa. Oyo eyali anjigiriza Bayibuli yannyamba nnyo era yanzizangamu nnyo amaanyi. Yampulirizanga bwe nnabanga mmubuulira ebyandi ku mutima. Yandaganga ebyawandiikibwa ebyali bisobola okunnyamba okwefuga nsobole okuvvuunuka omuze ogwo, era yankubirizanga okusabanga Yakuwa obutayosa.—Zabbuli 119:37.

Lumu nnasaba bakozi bannange tukuŋŋaane tubeeko kye twogerako. Mu bo mwalimu abasajja babiri abaali bafuba okulekayo omuze gw’okunywa ennyo omwenge. Nnabagamba bawe abasajja abo omwenge, naye bonna ne baleekaanira waggulu nti: “Ekyo tetuyinza kukikola! Abasajja bano baagala okuva ku mwenge!” Nnabaddamu nti: “Ekyo kituufu, era nange nnina omuze gwe nnwanyisa.” Okuva ku olwo, bakozi bannange baakitegeera nti nnali mumalirivu okulekayo omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era tebaddamu kumpikiriza kubiraba.

Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yannyamba okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Mu 1999, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Ndi musanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yannyamba okulongoosa obulamu bwange.

Kati ntegeera bulungi ensonga lwaki Yakuwa akyayira ddala emize emibi. Yakuwa yali ayagala kumponya bizibu ebiva mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu, nga taata ayagala ennyo omwana we bwe yandikoze. Ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6 nga bituufu nnyo! Ennyiriri ezo zigamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.” Okugoberera amagezi agali mu Bayibuli kinnyambye okwewala emize emibi.—Zabbuli 1:1-3.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Mu kusooka nnali mpulira nga nninga ekintu ekitagasa, naye kati mpulira ng’obulamu bwange bulina ekigendererwa, era mpulira emirembe. Kati ndi muyonjo era mpulira nga Yakuwa yansonyiwa era annyamba. Mu 2000, nnawasa Karolin, omukyala ayagala ennyo Yakuwa nga nange bwe mmwagala. Amaka gaffe galimu emirembe. Tuwulira nga nkizo ya maanyi okuba mu luganda olw’ensi yonna olw’Abajulirwa ba Yakuwa.