Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nga ndi ne mukyala wange Tabitha, tubuulira

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnali Sikkiriza nti Katonda Gyali

Nnali Sikkiriza nti Katonda Gyali
  • YAZAALIBWA: 1974

  • ENSI: BUGIRIMAANI

  • EBYAFAAYO: YALI TAKKIRIZA NTI KATONDA GYALI

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

Nnazaalibwa Bugirimaani, mu kyalo ekiri mu ssaza ly’e Saxony. Awaka twali twagalana nnyo era bazadde bange banjigiriza empisa ennungi. Abantu abasinga obungi mu Saxony, eddiini baali tebagitwala ng’ekintu ekikulu, olw’okuba mu kiseera ekyo Bugirimaani yali efugibwa Abakomunisiti abatakkiririza mu Katonda. Nange nnali sikkiririza mu Katonda.

Nnali njagala nnyo enfuga ey’Abakomunisiti kubanga baali bakkiriza nti abantu bonna benkana, era nti ebintu byonna bisaanye bigabanyizibwe kyenkanyi, abantu abamu baleme kuba bagagga nnyo ate ng’abalala baavu nnyo. Ekyo kyandeetera okwegatta ku kibiina ky’abavubuka Abakomunisiti. Bwe nnali nga mpeza emyaka 14, nnakuŋŋaanyanga empapula ezimaze okukozesebwa ne nzitwala ne bazikolamu ebintu ebirala. Ekyo nnakikolanga olw’okuba nnali njagala nnyo okukuuma obutonde bw’ensi. Abantu b’omu kabuga akayitibwa Aue baasiima nnyo omulimu gwe nnakola, era ab’obuyinza mu kabuga ako ne bampa n’ekirabo. Wadde nga nnali nkyali muto, nnasobola okumanya abamu ku bannabyabuzi abatutumufu mu Bugirimaani. Nnalowooza nti kye nnali nkola kye kyali kisinga obulungi, era nti n’ebiseera byange eby’omu maaso byali bitangaavu.

Kyokka ebintu byakyuka mangu nnyo. Mu 1989 ekisenge ekyali kyawula ekibuga Berlin kyamenyebwa, era ne gavumenti z’Abakomunisiti ne ziggibwako mu nsi za Bulaaya ow’ebuvanjuba. Oluvannyuma nnakizuula nti waaliwo obutali bwenkanya bungi mu nfuga y’Abakomunisiti. Ng’ekyokulabirako, abantu abaali batawagira gavumenti y’Abakomunisiti baali bayisibwa bubi nnyo, ate ng’Abakomunisiti baali bakkiriza nti abantu bonna benkana. Nnawulira nga nsobeddwa.

Bwe nnalaba nga biri bityo, eby’obufuzi nnabivaako ne nzira ku by’okuyimba n’okusiiga ebifaananyi. Nnagenda mu ttendekero ly’eby’okuyimba, nga nsuubira okweyongerayo ku yunivasite, era oluvannyuma mbeere muyimbi era omusiizi w’ebifaananyi. Ate era nnava ku mpisa ennungi bazadde bange ze banjigiriza nga nkyali muto. Ekyali kisinga obukulu gye ndi mu kiseera ekyo kwe kukyakala, nga kw’otadde n’okuganza abawala bangi. Kyokka okuyimba, okusiiga ebifaananyi, n’okukyakala, tebyandeetera ssanyu lye nnali nnoonya. N’ebifaananyi bye nnasiiganga by’alaganga nti saali musanyufu. Nneebuuzanga nti: Obulamu bulibeera butya mu biseera eby’omu maaso? Obulamu bulina kigendererwa ki?

Oluvannyuma nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Lumu nga ndi ku ssomero, waliwo abayizi abaali bakubaganya ebirowoozo ku biseera eby’omu maaso ne mbeegattako. Omu ku bo yali ayitibwa Mandy, * era nga Mujulirwa wa Yakuwa. Yaŋŋamba nti: “Andreas, bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku bulamu n’ebiseera eby’omu maaso, soma Bayibuli.”

Wadde nga saali mukakafu obanga kye yaŋŋamba kyali kituufu, nnasalawo okusoma Bayibuli. Mandy yankubiriza okusoma Danyeri essuula 2, era bye nnasoma byanneewuunyisa nnyo. Essuula eyo erimu obunnabbi obulaga obufuzi kirimaanyi obwandizze bufuga okutuukira ddala mu kiseera kino. Mandy yandaga n’obunnabbi obulala obuli mu Bayibuli obukwata ku biseera eby’omu maaso. Nnatandika okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Naye nnasigala nneebuuza nti ani oyo eyali asobola okumanya ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso? Kyandiba nti Katonda gyali?

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

Mandy yanfunira Abajulirwa ba Yakuwa abalala babiri, Horst ne mukyala we Angelika, ne beeyongera okunjigiriza Bayibuli. Nnakitegeera mangu nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abakozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, era abalibuulira abantu. (Zabbuli 83:18; Matayo 6:9) Ate era nnayiga nti abantu bajja kubeera ku nsi erabika obulungi emirembe gyonna. Zabbuli 37:9 wagamba nti: “Abo abatadde essuubi lyabwe mu Yakuwa balisikira ensi.” Kyansanyusa nnyo okukimanya nti abantu bonna abafuba okukola Katonda by’ayagala bajja kufuna obulamu obutaggwaawo.

Okusobola okugoberera emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli, nnalina okulekayo ebintu ebibi bye nnali nkola. Naye ekyo tekyannyanguyira. Okuba omuyimbi era omusiizi w’ebifaananyi kyandeetera okufuna amalala, era nnali nneetaaga okuyiga okuba omuwombeefu. Ate era tekyannyanguyira kulekayo bikolwa bya bugwenyufu. Nneebaza Yakuwa olw’okuba mugumiikiriza, musaasizi, era ategeera embeera z’abo abafuba okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli.

Wadde nga nnali sikkiriza nti Katonda gyali, Bayibuli ennyambye okumutegeera, era ennyambye nnyo mu bulamu bwange. Bye nnayiga mu Bayibuli byannyamba okulekera awo okweraliikirira ebiseera bya mu maaso era n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Mu 1993, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa, era mu mwaka gwa 2000, nnawasa omukyala ayitibwa Tabitha. Tukozesa ebiseera byaffe okuyamba abantu abalala okuyiga Bayibuli. Abantu bangi be tusanga nga tubuulira tebakkiririza mu Katonda. Kinsanyusa nnyo okubalaga engeri gye bayinza okumutegeera.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

Abajulirwa ba Yakuwa bwe baatandika okunjigiriza Bayibuli, bazadde bange tekyabasanyusa. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, baalaba engeri Bayibuli gye yali ennyambyemu. Eky’essanyu, nabo kati bayiga Bayibuli era bagenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa.

Nze ne mukyala wange Tabitha tuli basanyufu mu bufumbo bwaffe, kubanga tufuba okukolera ku magezi Bayibuli g’ewa abafumbo. Ng’eky’okulabirako, buli omu mwesigwa eri munne, era ekyo kyongedde okunyweza obufumbo bwaffe.​—Abebbulaniya 13:4.

Sikyeraliikirira biseera bya mu maaso. Kati nnina baganda bange ab’eby’omwoyo mu nsi yonna, era tuli bumu. Mu luganda luno olw’ensi yonna tetusosolagana. Ekyo kye kintu kye nnali nneegomba okuviira ddala nga nkyali muto.

^ lup. 12 Erinnya likyusiddwa.