Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abamasoreti baakoppolola Ebyawandiikibwa n’obwegendereza

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI​—YAWONA OKUSAANAWO

Abantu Tebaasobola Kukyusa Bubaka Obuli mu Bayibuli

Abantu Tebaasobola Kukyusa Bubaka Obuli mu Bayibuli

BUZIBU KI OBWALIWO?: Bayibuli teyavunda era n’abantu tebaasobola kugisaanyaawo. Kyokka, abakoppolozi abamu n’abavvuunuzi baagezaako okukyusa obubaka obuli mu Bayibuli bukwatagane n’enzikiriza zaabwe, mu kifo ky’okukyusa enzikiriza zaabwe zikwatagane n’ebyo ebiri mu Bayibuli. Lowooza ku byokulabirako bino:

  • Ekifo eky’okusinzizaamu: Wakati w’ekyasa eky’okuna n’eky’okubiri E.E.T., Abasamaliya abaakoppolola ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli (Samaritan Pentateuch), baayongeramu ebigambo ebigamba nti, “mu Gerizimu. Eyo gye munaazimba ekyoto.” Ebigambo ebyo baabyongera mu Okuva 20:17. Abasamaliya baali baazimba yeekaalu ku Lusozi Gerizimu era baali baagala Ebyawandiikibwa biwagire ekyo kye baali bakoze.

  • Enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu: Oluvannyuma lw’emyaka nga 300 nga Bayibuli emaze okuwandiikibwa, waaliwo omuwandiisi eyali awagira enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu, eyayongera mu 1 Yokaana 5:7 ebigambo ebigamba nti, “mu ggulu, Kitaffe, Kigambo, n’Omwoyo Omutukuvu: abasatu bano bali omu.” Ebigambo ebyo tebyali mu biwandiiko ebyasooka. Omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Bruce Metzger agamba nti: “Okuva mu kyasa eky’omukaaga n’okweyongerayo, ebigambo ebyo byali bisinga kusangibwa mu mizingo egy’Olulattini olw’edda, ne mu Bayibuli y’Olulattini eyitibwa Vulgate.”

  • Erinnya lya Katonda: Abavvuunuzi ba Bayibuli bangi baasalawo okuggya erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa nga bagoberera akalombolombo k’Abayudaaya. Mu bifo awalina okuba erinnya lya Katonda bassaawo ebitiibwa gamba nga “Katonda” oba “Mukama,” kyokka nga mu Bayibuli ebitiibwa ebyo tebikozesebwa ku Mutonzi yekka, wabula bikozesebwa ne ku bantu, ku bintu ebisinzibwa, era ne ku Sitaani.—Yokaana 10:34, 35; 1 Abakkolinso 8:5, 6; 2 Abakkolinso 4:4. *

ENGERI BAYIBULI GYE YAWONA OKUSAANAWO: Okusookera ddala, wadde ng’abaakoppolola Bayibuli abamu baali tebeefiirayo oba nga bakuusa, abalala baali beegendereza nnyo era nga bakugu. Wakati w’ekyasa eky’omukaaga n’eky’ekkumi E.E., Abamasoreti baakoppolola Ebyawandiikibwa eby’Endagaano Enkadde era ebyo bye baakoppolola biyitibwa Masoretic text. Kigambibwa nti baabalanga ebigambo n’ennukuta okukakasa nti tewali nsobi n’emu ekoleddwa. Bwe baabanga bakoppolola ne basanga kye bateebereza okuba ensobi, baakiwandiikanga ebbali. Abamasoreti tebaakyusa Byawandiikibwa. Profesa Moshe Goshen-Gottstein yagamba nti: “Okuggya oba okwongera ekintu mu Byawandiikibwa mu bugenderevu baakitwalanga ng’omusango ogwa nnaggomola.”

Eky’okubiri, emizingo gya Bayibuli emingi egizuuliddwa giyambye abeekenneenya Bayibuli okulaba ensobi. Ng’ekyokulabirako, okumala ebyasa bingi abakulembeze b’amadiini baali bayigiriza nti Bayibuli eziri mu Lulattini ze zaalimu Ebyawandiikibwa ebituufu. Eyo ye nsonga lwaki mu 1 Yokaana 5:7 baagattamu ebigambo bye tulabye mu kitundu kino. Ensobi eyo yateekebwa ne mu Bayibuli y’Olungereza emanyiddwa ennyo, eyitibwa King James Version! Naye ebiwandiiko bya Bayibuli ebirala ebyazuulibwa byalaga ki? Bruce Metzger yawandiika nti: “Ebigambo [ebiri mu 1 Yokaana 5:7] tebiri mu biwandiiko byonna eby’edda (omuli n’ebyo ebiri mu nnimi zino: Syriac, Coptic, Armenian, Arabic, Ethiopic, Slavonic) okuggyako ebyo ebiri mu Lulattini.” N’ekyavaamu, enkyusa eza King James Version ez’oluvvannyuma n’enkyusa za Bayibuli endala zaggyamu ebigambo ebyo mu 1 Yokaana 5:7.

Chester Beatty P46, ekiwandiiko kya Bayibuli ekyawandiikibwa ku muzingo gw’ebitoogo awo nga mu 200 E.E.

Abeekenneenyezza ebiwandiiko eby’edda bakakasizza nti obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyusibwa? Emizingo bwe gyazuulibwa okumpi n’ennyanja enfu mu 1947, abeekenneenya Bayibuli baageraageranya Ebyawandiikibwa eby’Endagaano Enkadde Abamasoreti bye baakoppolola n’emizingo egyo egyali gyawandiikibwa emyaka 1000 emabega. Omu ku abo abeekenneenya emizingo egyo yagamba nti omuzingo gumu gwokka “gwatuyamba okukiraba nti Abayudaaya abaakoppolola ebyawandiikibwa mu bbanga ery’emyaka egisukka mu 1000 baali beegendereza nnyo era baali beesigwa.”

Etterekero ly’ebiwandiiko eby’edda eriyitibwa Chester Beatty Library eriri mu kibuga Dublin eky’omu Ireland, lirimu emizingo gy’ebitoogo ebiriko kumpi buli kitabo ekiri mu Bwawandiikibwa eby’Oluyonaani (Endagaano Empya). Muno mulimu n’ebiwandiiko eby’omu kyasa eky’okubiri E.E., ebyawandiikibwa emyaka nga 100 gyokka nga Bayibuli emaze okuwandiikibwa. Ekitabo ekiyitibwa The Anchor Bible Dictionary kigamba nti: “Emizingo gy’ebitoogo tegikoma kutuyamba buyambi kwongera kumanya ebiri mu Bayibuli, naye era gituyamba okulaba nti obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyusibwa wadde nga bwakoppololwa okumala ebyasa bingi.”

‘Tusobola okugamba nti tewali kiwandiiko kirala eky’edda ekyakoppololwa obulungi nga Bayibuli’

EKYAVAAMU: Ebiwandiiko ebyo ebingi era ebimaze emyaka emingi tebyaleetera bubaka obuli mu Bayibuli kukyuka, wabula bituyambye okwongera okubutegeera. Sir Frederic Kenyon yagamba bw’ati ku Byawandiikibwa eby’Olulyonaani (Endagaano Empya): “Tewali kitabo kirala eky’edda ekiriko obujulizi obungi ennyo obukwata ku ebyo ebikirimu, era tewali mwekenneenya wa Bayibuli yenna omwesimbu ayinza obutakkiriza nti Ebyawandiikibwa bye tulina bituufu.” Ate ye omwekenneenya ayitibwa William Henry Green ng’ayogera ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (Endagaaano Enkadde) yagamba nti: ‘Tusobola okugamba nti tewali kiwandiiko kirala eky’edda ekyakoppololwa obulungi nga Bayibuli.’

^ lup. 6 Okumanya ebisingawo, laba Ebyongerezeddwako A4 ne A5 mu Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Osobola n’okugifuna ku mukutu www.pr418.com/lg.