Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Ebyo Ebiri mu Bayibuli Byava eri Katonda?

Ddala Ebyo Ebiri mu Bayibuli Byava eri Katonda?

Bayibuli ky’egamba

 Abawandiisi ba Bayibuli bangi baakiraga nti Katonda ye yabawa obulagirizi nga bagiwandiika. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga:

  •  Kabaka Dawudi yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gwayogera okuyitira mu nze; ekigambo kye kyali ku lulimi lwange.”—2 Samwiri 23:1, 2.

  •  Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Bw’ati Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba.”—Isaaya 22:15.

  •  Omutume Yokaana yagamba nti: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa.”—Okubikkulirwa 1:1.