Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Katonda Musaasizi?

Ddala Katonda Musaasizi?

BYE TUYIGIRA KU BITONDE

Obusaasizi “kwe kulumirirwa abalala ne weeteeka mu mbeera gye balimu.” Dr. Rick Hanson, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’obwongo agamba nti “obusaasizi tuzaalibwa nabwo.”

LOWOOZA KU KINO: Lwaki abantu booleka obusaasizi ku kigero ekya wagulu okusinga ebitonde ebirala? Bayibuli egamba nti abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Olubereberye 1:26) Ekyo kitegeeza nti basobola okumukoppa ne booleka engeri ze ennungi. N’olwekyo, abantu bwe balumirirwa bannaabwe ne babaako kye bakolawo okubayamba, baba bakoppa Omutonzi waabwe omusaasizi.​—Engero 14:31.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA MUSAASIZI

Katonda atulumirirwa era tekimusanyusa kulaba nga tubonaabona. Bayibuli bw’eba eyogera ku Bayisirayiri ab’edda abaali abaddu mu Misiri, ate oluvannyuma ne bamala emyaka 40 nga babonaabonera mu ddungu, egamba nti: “Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.” (Isaaya 63:9) Weetegereze nti Katonda teyakoma ku kumanya bumanya nti babonaabona, wabula yawulira obulumi bwe baalimu. Yagamba nti: “Mmanyi bulungi obulumi bwe balimu.” (Okuva 3:7) Ate era Katonda agamba nti: “Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.” (Zekkaliya 2:8) Abalala bwe batuyisa obubi, naye awulira bubi.

Wadde oluusi tuyinza okuwulira nti tetusaanira mu maaso ga Katonda, tetulina kweraliikirira kubanga “Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (1 Yokaana 3:19, 20) Katonda atumanyi bulungi n’okusinga bwe twemanyi. Amanyi bulungi bye tuyitamu n’ebitweraliikiriza, era atulumirirwa.

Bwe tuba n’ebizibu, tusaanidde okusaba Yakuwa atubudeebude, atuwe amagezi, era atuyambe, kubanga atulumirirwa

Bayibuli egamba nti

  • “Mujja kuyita, era Yakuwa ajja kuyitaba; mujja kuwanjaga era naye ajja kuddamu nti, ‘Nzuuno!’”​—ISAAYA 58:9.

  • “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi. Mujja kunkoowoola era mujja kujja munsabe, nange nja kubawuliriza.’”​—YEREMIYA 29:11, 12.

  • “Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba. Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?”​—ZABBULI 56:8.

KATONDA ALABA EMBEERA GYE TULIMU, AGITEGEERA, ERA ATULUMIRIRWA

Okukimanya nti Katonda atulumirirwa kiyinza kitya okutuyamba okugumira ebizibu? Lowooza ku mbeera Maria gye yayitamu:

Agamba nti, “Mutabani wange omukulu ow’emyaka 18 bwe yafa obulwadde bwa kookolo, nnawulira obulumi obw’amaanyi ennyo. Nnanyiigira Yakuwa olw’okuleka mutabani wange n’afa!

“Nga wayise emyaka mukaaga, nnategeeza mukwano gwange Omujulirwa wa Yakuwa engeri gye nnali mpulira. Yampuliriza bulungi, oluvannyuma n’anzijukiza ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 3:19, 20, awagamba nti: ‘Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.’ Yannyamba okukiraba nti Yakuwa ategeera bulungi embeera gye nnalimu.

“Naye era nnasigala ndi munyiivu! Oluvannyuma nnasoma Zabbuli 94:19, awagamba nti: ‘Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.’ Ebigambo ebyo byankwatako nnyo! Kyanzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa awuliriza bwe mmutegeeza ebizibu byange, era nti ategeera bulungi embeera gye ndimu.”

Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ategeera embeera gye tulimu, era nti atulumirirwa! Naye lwaki waliwo okubonaabona kungi? Bwe tubonaabona, Katonda aba atubonereza? Ekiseera kirituuka Katonda n’aggyawo okubonaabona kwonna? Soma ebitundu ebiddako osobole okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.