Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?

Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?

Bayibuli ky’egamba

 Tutya okufa kubanga okufa mulabe waffe, era tukola kyonna ekisoboka okukwewala. (1 Abakkolinso 15:26) Kyokka, abantu bangi batya nnyo okufa olw’enfumo n’enjigiriza ez’obulimba ne baba ‘baddu obulamu bwabwe bwonna.’ (Abebbulaniya 2:​15) Okumanya amazima kijja kukuyamba obutatya nnyo kufa, kubanga okutya ennyo okufa kiyinza okukumalako eddembe n’otanyumirwa bulamu.​—Yokaana 8:​32.

Amazima agakwata ku kufa

  •   Abafu tebaliiko kye bamanyi. (Zabbuli 146:4) Tosaanidde kutya nti bw’onoofa ojja kuwulira obulumi oba nti ojja kwokebwa mu muliro ogutazikira, kubanga Bayibuli egeraageranya okufa ku kwebaka.​—Zabbuli 13:3; Yokaana 11:11-​14.

  •   Abafu tebasobola kututuusaako kabi. N’abo abaali abalabe baffe lukulwe baafa; tebakyali balamu. “Tebakyalina maanyi.” (Isaaya 26:14) Bayibuli egamba nti “okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe, byaggwaawo.”​—Omubuulizi 9:6.

  •   Okufa si ye nkomerero y’obulamu bwaffe. Katonda ajja kuzuukiza abantu abaafa baddemu okubeera abalamu.​—Yokaana 5:​28, 29; Ebikolwa 24:15.

  •   Katonda asuubiza ekiseera ‘okufa lwe kutalibaawo nate.’ (Okubikkulirwa 21:4) Bayibuli bw’eba eyogera ku kiseera ekyo, egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna,” babe nga tebakyatiira ddala kufa.​—Zabbuli 37:29.