Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?

Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli egamba nti: “Abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5; Zabbuli 146:4) N’olwekyo, omuntu bw’afa, aba takyaliwo. Abafu tebasobola kulowooza, kuwulira, oba kukola kintu kyonna.

“Mu nfuufu mw’olidda”

 Katonda bwe yali ayogera ne Adamu omuntu eyasooka, yamunnyonnyola ekituuka ku muntu ng’afudde. Adamu bwe yayonoona, Katonda yamugamba nti: “Oli nfuufu era mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Katonda bwe yali tannatonda Adamu okuva “mu nfuufu y’ensi,” Adamu teyaliiwo. (Olubereberye 2:7) N’olwekyo Adamu bwe yafa yaddayo mu nfuufu, era teyeeyongera kuba mulamu.

 N’abantu abaliwo leero bwe bafa tebeeyongera kuba balamu. Bayibuli bw’eba eyogera ku kufa kw’abantu n’ensolo egamba nti: “Byonna byava mu nfuufu era byonna bidda mu nfuufu.”​—Omubuulizi 3:19, 20.

Okufa si ye nkomerero ya buli kintu

 Bayibuli egeraageranya okufa ku kwebaka. (Zabbuli 13:3; Yokaana 11:11-14; Ebikolwa 7:60, obugambo obuli wansi) Omuntu ali mu tulo otungi aba tamanyi bigenda mu maaso. Mu ngeri y’emu, abafu tebaliiko kye bamanyi. Kyokka, Bayibuli eyigiriza nti Katonda asobola okuzuukusa abafu ne baddamu okuba abalamu. (Yobu 14:13-15) Eri abo Katonda b’anaazuukiza, okufa si ye nkomerero yaabwe.