Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Kukomya Obulamu bw’Omuntu Ali mu Bulumi obw’Amaanyi?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kukomya Obulamu bw’Omuntu Ali mu Bulumi obw’Amaanyi?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyogera butereevu ku nsonga eyo. a Kyokka, ky’eyogera ku bulamu n’okufa kituyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Okutta omuntu tekikkirizibwa, naye Bayibuli teraga nti tulina okukola kyonna ekisoboka okwongezaayo obulamu bw’omuntu omuyi atagenda kuwona.

 Bayibuli eraga nti Katonda ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9; Ebikolwa 17:28) Obulamu bw’omuntu Katonda abutwala nga bwa muwendo nnyo. N’olw’ensonga eyo, Katonda takkiriza kutta muntu oba okwetta. (Okuva 20:13; 1 Yokaana 3:15) Ate era Bayibuli eraga nti tulina okukola kyonna ekisoboka okwewala ebintu ebiyinza okutuviirako okufiirwa obulamu bwaffe n’obw’abalala. (Ekyamateeka 22:8) Awatali kubuusabuusa, Katonda ayagala obulamu tubutwale nga bwa muwendo.

Watya singa omuntu taawone?

 Bayibuli tewagira kutta muntu ne bwe kiba nti tasuubirwa kuwona. Ekyo tukirabira ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Sawulo owa Isirayiri. Bwe yatuusibwako ebisago eby’amaanyi mu lutalo, yasaba omuweereza we amutte. (1 Samwiri 31:3, 4) Omuweereza we yagaana. Kyokka, oluvannyuma Sawulo bwe yetta waliwo omusajja eyagenda eri Dawudi n’amulimba nti ye yali amusse. Dawudi yasalira omusajja oyo omusango ogw’okutta omuntu era n’alagira attibwe. Dawudi yalina endowooza ya Katonda ku bulamu.—2 Samwiri 1:6-16.

Kyetaagisa okukola kyonna ekisoboka okwongezaayo obulamu bw’omuntu ataawone?

 Bwe kiba nti kyeyolese kaati nti omuntu taawone, Bayibuli tegamba nti tulina okukola kyonna ekisoboka okwongezaayo obulamu bwe. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli etuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Okufa mulabe waffe, era tufa olw’okuba twasikira ekibi. (Abaruumi 5:12; 1 Abakkolinso 15:26) Wadde nga tewali ayagala kufa, tetusaanidde kukutya nnyo kubanga Katonda asuubiza okuzuukiza abantu abaafa. (Yokaana 6:39, 40) Omuntu atwala obulamu nga bwa muwendo afuba okufuna obujanjabi. Wadde kiri kityo, kiba tekimwetaagisa kufuna bujjanjabi obwongezaayo obwongeza obulamu bwe naye nga kikakasiddwa nti agenda kufa.

Omuntu bwe yetta aba akoze ekibi ekitasonyiyibwa?

 Nedda, Bayibuli teraga nti omuntu bwe yetta aba akoze ekibi ekitasonyiyibwa. Wadde ng’okwetta kibi kya maanyi, b Katonda ategeera bulungi embeera eziyinza okuviira omuntu okwetta, gamba ng’okuba n’obulwadde ku bwongo, obulwadde bw’okwennyamira, n’embeera endala. (Zabbuli 103:13, 14) Okuyitira mu Bayibuli, Katonda abudaabuda abennyamivu. Ate era Bayibuli egamba nti wajja kubaawo “okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Ekyo kiraga nti n’abantu abaakola ebibi eby’amaanyi, gamba ng’okwetta, bajja kuzuukira.

a Ekitundu kino kigenda kwogera ku nsonga ey’okukomya obulamu bw’omuntu omulwadde ennyo oba ali mu bulumi obw’amaanyi aleme kweyongera kubonaabona. Emirundi egimu abasawo bayambako omulwadde okukomya obulamu bwe.

b Abantu aboogerwako mu Bayibuli abetta baali tebakola Katonda by’ayagala.—2 Samwiri 17:23; 1 Bassekabaka 16:18; Matayo 27:3-5.