Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Busungu?

Bayibuli Eyogera Ki ku Busungu?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eyigiriza nti obusungu obungi buba bwa bulabe eri omuntu abulina n’eri abalala. (Engero 29:22) Wadde ng’oluusi omuntu ayinza okuba omutuufu okunyiiga, Bayibuli eraga nti abantu abatafuga busungu tebajja kufuna bulamu butaggwaawo. (Abaggalatiya 5:19-21) Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba omuntu okufuga obusungu.

 Waliwo lwe kiba ekituufu okusunguwala?

 Yee. Ebiseera ebimu omuntu ayinza okuba omutuufu okusunguwala. Ng’ekyokulairako, omuweereza wa Katonda ayitibwa Nekkemiya ‘yasunguwala nnyo’ bwe yakimanya nti abantu ba Katonda baali banyigirizibwa.—Nekkemiya 5:6.

 Oluusi ne Yakuwa Katonda asunguwala. Ng’ekyokulabirako, abaweereza be ab’edda bwe baamuvaako ne batandika okusinza bakatonda abalala, ‘obusungu bwa Yakuwa bwababuubuukira.’ (Ekyabalamuzi 2:13, 14) Wadde kiri kityo, Yakuwa Katonda alwawo okusunguwala. Bulijjo aba n’ensonga entuufu okusunguwala era afuga obusungu bwe.—Okuva 34:6; Isaaya 48:9.

 Ddi obusungu lwe buba obubi?

 Obusungu buba bubi singa buba tebufugiddwa, era nga tewali nsonga ntuufu ereetedde muntu kusunguwala. Ekyo kye kitera okubaawo ku bantu abatatuukiridde. Ng’ekyokulabirako:

  •   Kayini ‘yasunguwala nnyo’ Katonda bw’ataasiima kiweebwayo kye. Kayini yalemererwa okufuga obusungu bwe, n’atuuka n’okutta muganda we.—Olubereberye 4:​3-8.

  •   Nnabbi Yona “yasunguwala nnyo” Katonda bwe yasonyiwa abantu b’omu Nineeve. Katonda yatereeza endowooza ya Yona n’amugamba nti ‘teyali mutuufu kusunguwala nnyo,’ era nti yandisaasidde abantu abo abaali beenenyezza.—Yona 3:10–4:1, 4, 11. a

 Ebyokulabirako ebyo biraga nti, “obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.”—Yakobo 1:20.

 Oyinza otya okufuga obusungu?

  •   Manya akabi akayinza okuva mu butafuga busungu. Abamu bayinza okulowooza nti bwe booleka obusungu kiba kiraga nti ba maanyi. Naye ekituufu kiri nti, omuntu atasobola kufuga busungu bwe aba n’obunafu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atafuga busungu bwe, aba ng’ekibuga ekiriko bbugwe eyabomolwabomolwa.” (Engero 25:28; 29:11) Ku luuyi olulala, bwe tuyiga okufuga obusungu, kiraga nti tuli ba maanyi era nti tuli bategeevu. (Engero 14:29) Bayibuli egamba nti: “Omuntu alwawo okusunguwala asinga omusajja ow’amaanyi.”—Engero 16:32.

  •   Fuga obusungu bwo nga tebunnakuleetera kukola kintu ky’oyinza okwejjusa. Zabbuli 37:8 wagamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiranga; tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.” Weetegereze nti bw’oba onyiize, osobola okusalawo okufuga obusungu nga tebunnakuleetera kukola ‘bintu bibi.’ Ate era Bayibuli egamba nti: “Musunguwale, naye temwonoona.”—Abeefeso 4:26.

  •   Bwe kiba kisoboka, vaawo ng’obusungu butandise okulinnya. Bayibuli egamba nti: “Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi. Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.” (Engero 17:14) Wadde nga kiba kirungi okugonjoola obutakkaanya mu bwangu, mmwembi kiyinza okubeetaagisa okusooka okulindako, musobole okwogera ku nsonga eyo nga muli bakkakkamu.

  •    Funa obukakafu. Engero 19:11 wagamba nti: “Obutegeevu bw’omuntu bukkakkanya obusungu bwe.” Bwe tusooka okufuna obukakafu ku nsonga nga tetunnasalawo kya kukola, kiba kiraga nti tuli bategeevu. Bwe tuwuliriza obulungi enjuyi zombi, kisobola okutuyamba obutamala ganyiiga.—Yakobo 1:19.

  •    Saba Katonda akuyambe okuba omukkakkamu. Okusaba kusobola okukuyamba okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Abafiripi 4:7) Okuyitira mu kusaba, tusobola okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu ne gutuyamba okuba ab’emirembe, okuba abagumiikiriza, era n’okwefuga.—Lukka 11:13; Abaggalatiya 5:22, 23.

  •   Londa mikwano gyo n’amagezi. Tutera okweyisa nga mikwano gyaffe. (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Olw’ensonga eyo, Bayibuli etulabula nti: “Tokolagananga na muntu wa busungu, oba oyo ow’ekiruyi. Sikulwa ng’oyiga emize gye n’ogwa mu kyambika.”—Engero 22:24, 25.

a Kirabika Yona yakkiriza ekyo Katonda kye yamugamba n’alekera awo okusunguwala, kubanga Katonda yamukozesa okuwandiika ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa erinnya lye.