Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okussa Ekitiibwa mu Ndowooza z’Abalala—Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okuyambamu

Okussa Ekitiibwa mu Ndowooza z’Abalala—Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okuyambamu

 “Okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala kisobozesa emirembe okubaawo mu nsi.”—UNESCO Declaration of Principles on Tolerance, 1995.

 Ku luuyi olulala, obutassa kitiibwa mu ndowooza z’abalala kiyinza okuviirako obukyayi. Era kiyinza okuviirako omuntu okuvumirira abalala, okubasosola, n’okubakolako ebikolwa eby’obukambwe.

 Naye okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala abantu bakitunuulira mu ngeri za njawulo. Abamu bagamba nti omuntu assa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala, aba alina okukkiriza oba okusemba ebikolwa byabwe byonna n’enneeyisa yaabwe. Ate abalala bagamba nti omuntu assa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala, aba akkiriza nti buli muntu alina eddembe okusalawo by’akkiririzaamu oba by’ayagala, ne bwe kiba nti ye takkiriziganya nabyo. Eyo ye ndowooza eri mu Bayibuli.

 Bayibuli esobola okuyamba abantu leero okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala?

Bayibuli essa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala

 Bayibuli ekubiriza abantu okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala. Egamba nti: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” (Abafiripi 4:5) Bayibuli etukubiriza okuyisa abalala mu ngeri ey’ekisa era ey’obwenkanya. Abo abakolera ku magezi ago bayinza obutakkiriziganya na ndowooza z’abalala, naye tebavumirira ndowooza zaabwe.

 Kyokka Bayibuli eraga nti Katonda ateerawo abantu emitindo egikwata ku mpisa. Egamba nti: “[Katonda] akubuulidde ggwe omuntu ekirungi.” (Mikka 6:8) Bayibuli erimu obulagirizi Katonda bw’awadde abantu obubasobozesa okuba n’obulamu obulungi.—Isaaya 48:17, 18.

 Katonda tatuwa buyinza kusalira balala musango. Bayibuli egamba nti, “Omuwi w’Amateeka era Omulamuzi ali omu. . . Ggwe ani asalira munno omusango?” (Yakobo 4:12) Katonda buli omu yamuwa eddembe ery’okwesalirawo, era buli omu avunaanyizibwa ku ebyo by’aba asazeewo.—Ekyamateeka 30:19.

Bayibuli ky’eyogera ku kuwa abalala ekitiibwa

 Bayibuli egamba nti tulina “okuwa buli muntu ekitiibwa.” (1 Peetero 2:17, New Jerusalem Bible) N’olwekyo, abo abagoberera emitindo gya Bayibuli bawa abantu bonna ekitiibwa, ka babe nga beeyisa batya oba nga bakkiririza mu ki. (Lukka 6:31) Naye ekyo tekitegeeza nti abo abakolera ku mitindo gya Bayibuli bakkiriziganya na buli kimu abalala kye bakkiriza oba kye balowooza, oba nti bawagira buli kimu abalala kye baba basazeewo. Mu kifo ky’okubayisaamu amaaso oba okubafeebya, bafuba okukoppa engeri Yesu gye yayisaamu abalala.

 Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yasisinkana omukazi eyali agoberera eddiini gye yali takkiriziganya nayo. Omukazi oyo yali abeera n’omusajja ataali mwami we—ekintu Yesu kye yali takkiriziganya nakyo. Wadde kyali kityo, yamussaamu ekitiibwa ng’ayogera naye.—Yokaana 4:9, 17-24.

 Okufaananako Yesu, Abakristaayo bannyonnyola enzikiriza zaabwe eri abo abaagala okuwuliriza, naye nga ‘babassaamu ekitiibwa.’ (1 Peetero 3:15) Bayibuli eragira Abakristaayo obutakakaatika ndowooza zaabwe ku balala. Egamba nti omugoberezi wa Kristo “tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna,” nga mwe muli n’abo abalina enzikiriza ez’enjawulo ku zize.—2 Timoseewo 2:24.

Bayibuli ky’eyogera ku bukyayi

 Bayibuli etukubiriza ‘okuluubiriranga okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Abebbulaniya 12:14) Omuntu aluubirira emirembe takyawa balala. Wadde nga teyekkiriranya, afuba okuba mu mirembe n’abalala. (Matayo 5:9) Mu butuufu, Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okwagala abalabe baabwe n’okubalaga ekisa wadde nga bo babayisa bubi.—Matayo 5:44.

 Bayibuli egamba nti Katonda “akyawa,” era “tayagalira ddala,” bikolwa ebifeebya oba ebirumya abalala. (Engero 6:16-19) Naye awo Bayibuli ekozesa ekigambo ‘okukyawa’ ng’etegeeza okwesambira ddala ebikolwa ebibi. Bayibuli eraga nti Katonda mwetegefu okusonyiwa n’okuyamba abo abaagala okukyusa enneeyisa yaabwe basobole okukolera ku mitindo gye.—Isaaya 55:7.

Ennyiriri za Bayibuli ezoogera ku kussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala

 Tito 3:2: “Obutaba bakakanyavu, naye nga baba bakkakkamu eri abantu bonna.”

 Omuntu atali mukakanyavu tavumirira ndowooza z’abalala era afuba okutabagana n’abalala.

 Matayo 7:12: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”

 Ffenna kitusanyusa nnyo abalala bwe batussaamu ekitiibwa era ne batavumirira ndowooza zaffe. Okulaba engeri gy’oyinza okukolera ku bigambo ebyo Yesu bye yayogera, soma ekitundu ekirina omutwe What Is the Golden Rule?

 Yoswa 24:15: “Mweronderewo leero gwe munaaweerezanga.”

 Bwe tuleka abalala okwesalirawo kye baagala, tuba tuleetawo emirembe.

 Ebikolwa 10:34: “Katonda tasosola.”

 Katonda tasosola muntu yenna olw’obuwangwa bwe, ekikula kye, eggwanga lye, langi ye, oba embeera mwe yakulira. Abo abaagala okukoppa Katonda bawa abantu bonna ekitiibwa.

 Kaabakuuku 1:12, 13: “[Katonda] tasobola kugumiikiriza bintu bibi.”

 Obugumiikiriza bwa Katonda buliko ekkomo. Tajja kuleka bantu kukola bintu bibi emirembe gyonna. Okuyiga ebisingawo, laba vidiyo erina omutwe, Lwaki Katonda Akyaleseewo Okubonaabona?

 Abaruumi 12:19: “Muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ Yakuwa bw’agamba.” a

 Yakuwa tatukkiriza kuwoolera ggwanga. Mu kiseera ekituufu ajja kukakasa nti wabaawo obwenkanya. Okuyiga ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe Will the Cry for Justice Be Heard?

a Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu ekirina omutwe, “Yakuwa y’Ani?