Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’okulwanyisa: Anton Petrus/Moment via Getty Images; money: Wara1982/iStock via Getty Images Plus

BEERA BULINDAALA!

Obuwumbi n’Obuwumbi bwa Ssente Ezisaasanyiziddwa mu Ntalo Zikoze Ki?

Obuwumbi n’Obuwumbi bwa Ssente Ezisaasanyiziddwa mu Ntalo Zikoze Ki?

 Ssente ezisaasanyizibwa mu ntalo nnyingi nnyo.

  •    “Omwaka oguwedde, gavumenti ezitali zimu okwetoloola ensi zaasaasanya ssente ezisoba mu buwumbi 2000 obwa ddoola za Amerika mu ntalo.”—The Washington Post, Febwali 13, 2024.

 Kyokka ssente zokka si ze zonoonekera mu ntalo. Lowooza ku lutalo oluli mu Ukraine.

  •    Abasirikale. Kiteeberezebwa nti bukya olutalo olwo lutandika emyaka ebiri emabega, abasirikale nga 500,000 be baakattibwa oba okutuusibwako ebisago.

  •    Abantu aba bulijjo. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kigamba nti abantu abasukka mu 28,000 be bafiiridde mu lutalo olwo oba okutuusibwako ebisago. Omukungu omu mu Kibiina ekyo yagamba nti: “Tekisoboka kumanyira ddala ngeri abantu gye bakoseddwamu olw’olutalo olwo.” a

 Entalo n’obukuubagano okwetoloola ensi yonna biviiriddeko abantu okubonaabona okutalojjeka.

  •    We twatuukira mu Sebutemba 2023, abantu Obukadde 114 okwetoloola ensi be baali bawaliriziddwa okuva mu maka gaabwe olw’entalo n’ebikolwa eby’obukambwe.

  •    Abantu obukadde 783 be babeera mu njala olutatadde. Ekitongole ekiyitibwa World Food Programme kyagamba nti: “Obukuubagano bwe bukyasinze okuleetera abantu okuba mu njala. Abantu 70 ku buli kikumi abali mu njala babeera mu bifo awali entalo n’ebikolwa eby’obukambwe.”

 Ddala entalo ziriggwaawo? Ekiseera kirituuka ensi n’ebaamu emirembe? Ekiseera kirituuka ne waba nga tewakyali muntu mwavu era nga buli muntu alina emmere emumala? Kiki Bayibuli ky’eyogera ku nsonga ezo?

Ekiseera eky’entalo

 Bayibuli yagamba nti wandibaddewo entalo okwetoloola ensi; era mu ngeri ey’akabonero, mu kitabo ky’Okubikkulirwa zikiikirirwa omwebagazi w’embalaasi emmyufu.

  •    “Ne wavaayo embalaasi endala emmyufu; era oyo eyali agituddeko n’aweebwa obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi abantu battiŋŋane; era yaweebwa n’ekitala ekinene.”—Okubikkulirwa 6:4.

 Omwebagazi w’embalaasi oyo addirirwa abeebagazi b’embalaasi abalala babiri ng’omu akiikirira enjala ate ng’omulala akiikiririra okufa okubaawo olw’endwadde n’ebintu ebirala. (Okubikkulirwa 6:5-8) Okumanya ebisingawo ku bunnabbi bwa Bayibuli obwo n’ensonga lwaki tuli bakakafu nti butuukirizibwa mu kiseera kyaffe, soma ekitundu“Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Emirembe mu biseera eby’omu maaso

 Mu kiseera ekitali kya wala, eby’obugagga by’omu nsi tebijja kuddamu kukozesebwa mu ntalo. Kyokka abantu si be bajja okuleetawo enkyukakyuka eyo. Bayibuli egamba nti:

  •    Katonda ajja ‘kumalawo entalo mu nsi yonna.’—Zabbuli 46:9.

  •    Katonda ajja kumalawo ebintu ebibi byonna ebireeteddwawo olw’entalo. “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.

  •    Katonda ajja kukakasa nti buli muntu aba mu mirembe. “Abantu bange balibeera mu kifo ekirimu emirembe eky’enkalakkalira, Balibeera mu bifo ebirimu obutebenkevu ne mu bifo eby’okuwummuliramu ebiteefu.”—Isaaya 32:18.

 Obunnabbi obuli mu Bayibuli bulaga nti entalo n’ebintu ebirala ebiriwo leero bukakafu obulaga nti wanaatera okubaawo emirembe mu nsi.

 Katonda anaaletawo atya emirembe? Ekyo ajja kukikola ng’akozesa gavumenti ye ey’omu ggulu oba Obwakabaka. (Matayo 6:10) Okumanya Obwakabaka bwa Katonda kye ki n’ekyo kye bugenda okukukolera, laba vidiyo enyimpimpi eyitibwaObwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

a Miroslav Jenca, omumyuka wa secretary-general w’Ekitongole ky’Amawanga Amagatte mu Bulaaya, Ddesemba 6, 2023.