Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?

Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?

Bayibuli ky’egamba

 Abantu si be bajja okuleetawo emirembe egya nnamaddala. Obwakabaka bwa Katonda, ng’eno gavumenti eri mu mikono gya Yesu Kristo, y’ejja okuleeta emirembe ku nsi. Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo.

  1.   Katonda ajja ‘kumalawo entalo mu nsi yonna,’ bw’atyo atuukirize ekisuubizo eky’okuleeta ‘emirembe ku nsi mu bantu b’asiima.’—Zabbuli 46:9; Lukka 2:14.

  2.   Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna nga businziira mu ggulu. (Danyeri 7:14) Bujja kumalawo mwoyo gwa ggwanga aviiriddeko obukuubagano obusinga obungi mu nsi.

  3.   Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ayitibwa “Omukulu ow’Emirembe,” era ajja kukakasa nti emirembe tegiggwaawo ku nsi.—Isaaya 9:6, 7.

  4.   Abantu abaagala entalo tebajja kukkirizibwa kubeera mu Bwakabaka bwa Katonda, kubanga Katonda “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 11:5; Engero 2:22.

  5.   Katonda ayigiriza abantu be engeri gye bayinza okubeera mu mirembe. Bayibuli eyogera bw’eti ku ebyo ebiva mu buyigirize obwo: “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Isaaya 2:3, 4.

 Ne mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bayize okubeera mu mirembe ne bannaabwe. (Matayo 5:9) Wadde nga tuli ba mawanga ga njawulo era nga tubeera mu nsi ezisukka 230, tetukwata byakulwanyisa kulwana.

Abajulirwa ba Yakuwa bayize okuba mu mirembe ne bannaabwe