Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KYAJJAWO KYOKKA?

Obwoya bw’Eŋŋonge ez’Omu Nnyanja

Obwoya bw’Eŋŋonge ez’Omu Nnyanja

ENSOLO nnyingi ezibeera mu mazzi agannyogoga ziba n’amasavu mangi wansi w’oluliba lwazo agaziyamba okusigala nga zibuguma. Naye yo eŋŋonge ey’omu nnyanja erina kintu kirala ekigiyamba okusigala ng’ebuguma, nga buno bwe bwoya bwayo obungi ennyo.

Lowooza ku kino: Obwoya bw’eŋŋonge ey’omu nnyanja buli kumu kumu nnyo okusinga obwoya bw’ensolo endala zonna eziyonsa. Mu buli katundu akenkana inci emu ku emu mulimu obwoya nga akakadde kamu. Eŋŋonge bwe ziba ziwuga, obwoya bwazo bukwatira empewo okumpi n’olususu lwazo. Empewo eyo eziyiza amazzi agannyogoga okutuuka ku lususu lw’eŋŋonge kubanga gandibadde gatwala ebbugumu ly’omubiri.

Bannassaayansi balina kye bayigidde ku bwoya bw’eŋŋonge ey’omu nnyanja. Mu kunoonyereza kwabwe, bakoze kabuuti eziriko obwoya obulina obuwanvu obw’enjawulo era obulimu amabanga ag’enjawulo. Bannassaayansi bakizudde nti obwoya “gye bukoma okubeera obuwanvu n’okubeera okumu okumu gye bukoma okuziyiza amazzi okuyingira munda.” Mu butuufu, eŋŋonge ey’omu nnyanja erina kabuuti ennungi ennyo.

Bannassaayansi balowooza nti ebyo bye bazudde mu kunoonyereza ku bwoya bw’eŋŋonge bijja kubayamba mu kukola engoye ezitatoba. Engoye ezo ziyinza n’okuyamba abantu abagenda wansi mu nnyanja ezirimu amazzi agannyogoga ennyo nga baliko bye banoonyereza oba bye baggyayo.

Olowooza otya? Obwoya bw’eŋŋonge obuzikuuma nga zibuguma bwajjawo bwokka, oba bwatondebwa?