Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abamu Bye Bakkiriza

Abamu Bye Bakkiriza

Abahindu

bagamba nti omuntu abonaabona olw’ebintu ebibi bye yakola mu bulamu buno oba mu bulamu bwe yalimu edda nga tannaba kubbulukuka. Omuntu alekera awo okubbulukukira mu bulamu obulala bw’atuuka ekiseera n’aba nga takyalowooza kintu kirala kyonna okuggyako ebyo ebikwatagana n’eby’eddiini.

Abasiraamu

bagamba nti okubonaabona kiba kibonerezo olw’ebibi omuntu by’aba akoze oba Katonda aba agezesa okukkiriza kwe. Sayyid Syeed, omukulu w’Abasiraamu mu Amerika agamba nti “ebizibu bye tufuna bitujjukiza okusiima ebirungi byonna Katonda by’atuwa era bitujjukiza nti tulina okuyamba abali mu bwetaavu.”

Ab’enzikiriza y’Ekiyudaaya

bagamba nti okubonaabona kuva ku ebyo omuntu by’akola. Abayudaaya abamu bagamba nti wajja kubaayo okuzuukira, era nti abantu abatalina musango abaabonaabona balagibwe obwenkanya. Ate Abayudaaya abalala bagamba nti omuntu bw’afa, abbulukukira mu bulamu obulala n’afuna akakisa okwenenya.

Ababuda

bakkiriza nti okubonaabona kubaawo emirundi n’emirundi omuntu gy’amala mu bulamu obw’enjawulo bw’agenda ng’abbulukukiramu okutuusa lw’atuuka nga takyakola bintu bibi, takyalina nneewulira mbi, era nga takyalina kwegomba kubi. Ebintu ebibi bwe bimuggwamu, atuuka mu mbeera eyitibwa nirvana etaliimu kubonaabona kwonna.

Abakonfusiyaani

bagamba nti okubonaabona okusinga obungi kuva ku “kulemererwa kw’abantu n’ensobi zaabwe.” (enkuluze eyitibwa A Dictionary of Comparative Religion) Bayigiriza nti wadde ng’okubonaabona kuyinza okukendeezebwako singa abantu beeyisa bulungi, “okubonaabona okusinga obungi kuleetebwa ebitonde eby’omwoyo eby’amaanyi ennyo okusinga abantu. N’olwekyo, abantu balina kukkiriza ebyo ebitonde ebyo bye biba bisazeewo.”

Abamu ku bakkiririza mu madiini g’obuwangwa

bagamba nti okubonaabona kuva ku ddogo. Bakkiriza nti abalogo basobola okuleetera omuntu emikisa oba ebisiraani era nti waliwo obulombolombo obusobola okukolebwa okusobola okufulula eddogo. Bakkiriza nti omuntu bw’alwala, obulombolombo obukolebwa omusamize n’eddagala ly’agaba bisobola okuwonya omuntu oyo.

Abakristaayo

bakkiriza nti okubonaabona kwava ku kibi ky’abantu ababiri abaasooka nga bwe kiragibwa mu kitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Olubereberye. Naye amadiini mangi gongedde endowooza zaago mu njigiriza eyo. Ng’ekyokulabirako, Abakatuliki abamu bakkiriza nti omuntu asobola okwebonyaabonya ng’asaba Katonda okubaako ebintu ebirungi by’akolera Kkereziya oba nti asobola okubaako omuntu gw’abonaabonera Katonda amuyambe.

MANYA EBISINGAWO

Laba vidiyo Amadiini Gonna Gasanyusa Katonda? ku jw.org/lg.