Buuka ogende ku bubaka obulimu

Amadiini Gonna ge Gamu? Gonna Gasiimibwa Katonda?

Amadiini Gonna ge Gamu? Gonna Gasiimibwa Katonda?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda, amadiini gonna si ge gamu. Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’okusinza okutasanyusa Katonda. Okusinza kuno kugwa mu biti bibiri.

Ekiti ekisooka: Okusinza bakatonda ab’obulimba

 Bayibuli egamba nti okusinza bakatonda ab’obulimba ‘tekuliimu nsa,’ era ‘tekugasa.’ (Yeremiya 10:3-5; 16:19, 20) Yakuwa a Katonda yalagira eggwanga lya Isirayiri ery’edda nti: “Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.” (Okuva 20:3, 23; 23:24) Abayisirayiri bwe baasinzanga bakatonda abalala, ‘Yakuwa yabasunguwaliranga.’​—Okubala 25:3; Eby’Abaleevi 20:2; Ekyamateeka 2:13, 14.

 Katonda akyalina endowooza y’emu ku abo abasinza abo “abayitibwa ‘bakatonda.’” (1 Abakkolinso 8:5, 6; Abaggalatiya 4:8) Ayagala abo abaagala okumusinza bave mu ddiini ez’obulimba. Abagamba nti: “Muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko.” (2 Abakkolinso 6:14-17) Bwe kiba nti amadiini gonna ge gamu era nga gasanyusa Katonda, lwaki Katonda yandiwadde ekiragiro ng’ekyo?

Ekiti eky’okubiri: Okusinza Katonda ow’amazima mu ngeri gy’atasiima

 Emirundi egimu Abayisirayiri baasinzanga Katonda nga bagoberera empisa n’obulombolombo ebyagobererwanga mu kusinza bakatonda ab’obulimba. Yakuwa teyabakkiriza kugattika kusinza okw’amazima n’okusinza okw’obulimba. (Okuva 32:8; Ekyamateeka 12:2-4) Yesu yanenya abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye olw’engeri gye baasinzangamu Katonda. Baawanga ekifaananyi nti baagala nnyo Katonda, ‘naye ne batatuukiriza bintu bino ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.’​—Matayo 23:23.

 Mu ngeri y’emu, eddiini yokka eyigiriza abantu amazima y’esobozesa abantu okufuna enkolagana ne Katonda. Amazima ago gali mu Bayibuli. (Yokaana 4:24; 17:17; 2 Timoseewo 3:16, 17) Mu butuufu, amadiini agayigiriza ebintu ebikontana ne Bayibuli by’eyigiriza gaggya abantu ku Katonda. Enjigiriza nnyingi abamu ze balowooza nti ziva mu Bayibuli, gamba ng’eyo egamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu, nti omwoyo tegufa, era nti Katonda ayokya ababi mu muliro ogutazikira, zaasibuka mu abo abaali basinza bakatonda ab’obulimba. Eddiini ezitumbula enjigiriza ng’ezo tezigasa, kubanga ziba zikulembeza obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okuyigiriza ebyo Katonda by’ayagala.​—Makko 7:7, 8.

 Katonda akyayira ddala obunnanfuusi bw’amadiini. (Tito 1:16) Eddiini bw’eba ey’okuyamba omuntu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, erina okumuyamba okukola ebirungi buli kiseera, so si kumuyigiriza buyigiriza bulombolombo bwa ddiini. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa. Okusinza okulongoofu era okutaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe kwe kuno: okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe, n’okwekuuma obutaba na mabala ga nsi.” (Yakobo 1:26, 27; obugambo obuli wansi) Enkyusa ya King James Version ekozesa ebigambo “eddiini ennongoofu” ng’eyogera ku kusinza okuyonjo era okutaliimu bukuusa.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda ow’amazima.