Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

4 Twatondebwa nga Tuli ba Kubonaabona?

4 Twatondebwa nga Tuli ba Kubonaabona?

Lwaki Kikulu

Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikwata ku ngeri gye tutwalamu obulamu.

Eky’Okulowoozaako

Ddala kikola amakulu Katonda eyatonda ensi erabika obulungi ennyo okuba nti atuleka okubonaabona?

Abantu abatettanira bya ddiini bagamba nti okubonaabona kulaga ekimu ku bino ebisatu (1) Katonda talina maanyi kukukomya, (2) Katonda tayagala kukukomya, oba (3) Katonda taliiyo.

Naye ddala ensonga ezo ntuufu?

MANYA EBISINGAWO

Laba vidiyo Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Katonda teyatutonda nga tulina okubonaabona.

Ayagala tunyumirwe obulamu.

“Teri kisinga kusanyuka n’okukola ebirungi mu bulamu [bw’abantu], era nti buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.”​OMUBUULIZI 3:12, 13.

Katonda yawa abantu ababiri abaasooka buli kimu kye baali beetaaga okuba mu bulamu obutaliimu kubonaabona.

Yali tayagala baboneebone era n’abaana baabwe yali tayagala baboneebone.

“Katonda n’abagamba nti: ‘Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.’”​OLUBEREBERYE 1:28.

Abantu ababiri abaasooka baasalawo okujeemera Katonda.

N’ekyavaamu, beereetera okubonaabona kungi era ne bakuleetera n’abaana baabwe.

“Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”​ABARUUMI 5:12. *

Katonda teyawa bantu busobozi bwa kweruŋŋamya.

Nga bwe tutaatondebwa kubeera mu mazzi, tetwatondebwa kwefuga.

“Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”​YEREMIYA 10:23.

Katonda tayagala tuboneebone.

Ayagala tutambuze obulamu bwaffe mu ngeri eneetuyamba okwewala ebizibu.

“Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga.”​ISAAYA 48:18.

^ lup. 17 Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” kikozesebwa okutegeeza ekintu ekibi omuntu ky’aba akoze ate era kikozesebwa n’okutegeeza embeera abantu bonna gye baasikira.