Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

3 Lwaki Abantu Abalungi Babonaabona?

3 Lwaki Abantu Abalungi Babonaabona?

Lwaki Kikulu

Kirabika nga si kya bwenkanya abantu abalungi okubonaabona. Ate era kiba ng’ekiraga nti tekigasa kuba muntu mulungi.

Eky’Okulowoozaako

Abantu abamu bagamba nti abantu bwe bafa baddamu ne bazaalibwa. Bagamba nti abo abaali bakola ebintu ebirungi bwe baddamu okuzaalibwa baba mu bulamu bulungi, ate nti abo abaali bakola ebintu ebibi bwe baddamu okuzaalibwa baba n’ebizibu bingi. Okusinziira ku ndowooza eyo, omuntu ne bw’aba mulungi kati, abonaabona olw’ebibi bye yakola ng’ali mu bulamu obwasooka. Naye . . .

  • Okubonaabona okwo kugasa ki bwe kiba nti omuntu agambibwa okuba nti yaddamu okuzaalibwa aba tajjukira na bulamu bwe yalimu emabega?

  • Lwaki tufuba okuba abalamu obulungi n’okwewala obubenje bwe kiba nti ebitutuukako bisinziira ku bintu bye twakola mu bulamu bwe twalimu emabega?

    MANYA EBISINGAWO

    Laba vidiyo Lwaki Katonda Akyaleseewo Okubonaabona? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Abantu bwe babonaabona tekitegeeza nti Katonda aba ababonereza.

Okubonaabona okusinga obungi kutugwira bugwizi; omuntu yeesanga ng’ali mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu.

“Abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, ab’amaanyi, bulijjo si be bawangula olutalo, ab’amagezi, bulijjo si be baba n’emmere, abagezi, bulijjo si be baba n’eby’obugagga, n’abamanyi ebingi, bulijjo si be baba obulungi, kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.”​OMUBUULIZI 9:11.

Ekibi kye twasikira kye kimu ku bituleetera okubonaabona.

Abantu batera okukozesa ekigambo “ekibi” okutegeeza ekintu ekibi omuntu ky’aba akoze. Naye ekigambo ekyo Bayibuli ekikozesa n’okutegeeza embeera abantu bonna, ka babe balungi oba babi, gye baasikira.

“Nnazaalibwa ndiko ekibi, era mbadde mwonoonyi okuva mu kiseera mmange lwe yafuna olubuto lwange.”​ZABBULI 51:5, Obugambo obuli wansi.

Ekibi kiviiriddeko abantu ebizibu bingi.

Ng’oggyeeko okuba nti kyayonoona enkolagana yaffe n’Omutonzi waffe, era kyataataaganya enkolagana yaffe n’ebitonde bya Katonda ebirala. Ekyo kiviiriddeko okubonaabona kungi eri abantu kinnoomu n’abantu bonna okutwaliza awamu.

“Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.”​ABARUUMI 7:21.

“Ebitonde byonna bisindira wamu era birumwa.”​ABARUUMI 8:22.