Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • NNAZAALIBWA: 1957

  • ENSI: MEXICO

  • EBYAFAAYO: NNALI MUSEMINAALIYO; NNALI MUKAMBWE NNYO

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kabuga akayitibwa Texcoco. Mu kiseera ekyo enguudo tezaali nnungi era nga zirimu enfuufu nnyingi. Abantu baavanga mu byalo ebiriraanyeewo okuleeta eby’amaguzi nga babitisse ku ndogoyi zaabwe. Amaka gaffe gaali maavu nnyo. Twazaalibwa abaana mwenda era nga nze ow’omusanvu. Taata yatunganga ngatto okusobola okutulabirira. Naye yafa nga ndi wa myaka musanvu. Okuva olwo, maama ye yasigala atulabirira.

Jjajja omusajja yali mukubi wa ndingidi era yalina ekibiina ky’abayimbi abayimba ennyimba z’eddiini kye yali akulira. Kumpi buli omu awaka yalina ekivuga kye yali amanyi okukuba. Maama yali ayimbira mu kwaya ya kereziya, ne kojja yali muyimbi era nga mukubi wa nnanga. Twali bannaddiini nnyo. Nnali muweereza mu kereziya era nga njagala nnyo okufuuka omusaseredooti. Mu kiseera kye kimu nnanyumirwanga nnyo okulaba firimu ez’ensambaggere. Gye nnakoma okulaba firimu ezo, gye nnakoma okuba omukambwe.

Nnagenda mu seminaaliyo mu kibuga Puebla, nsomerere obusaseredooti. Naye bwe nnali nnaatera okumaliriza emisomo gyange, waliwo ebyandeetera okwetamwa eddiini y’Ekikatuliki. Omubiikira omu yali ayagala nneegatte naye. Nnaziyiza ekikemo ekyo, naye kyandeetera okwagala okuwasa. Ng’oggyeko ekyo, abasaseredooti bangi baali bannanfuusi era ekyo kyandeetera okulekera awo okusomerera obusaseredooti.

Nnali muweereza mu kereziya era nga njagala nnyo okufuuka omusaseredooti, naye nga mu kiseera kye kimu nnyumirwa nnyo okulaba firimu ez’ensambaggere

Nnasalawo okugenda mu kibuga ekikulu Mexico City njige eby’okuyimba. Bwe nnamala okutikkirwa, nnawasa era twazaala abaana bana. Ssente ez’okulabirira amaka gange nnaziggyanga mu kuyimba mu kereziya.

Obufumbo bwaffe bwalimu ebizibu okuviira ddala ku ntandikwa. Nze ne mukyala wange twayombanga, era oluusi twalwananga olw’ebbuba. N’ekyavaamu, twasalawo okwawukana wadde nga twali tumaze emyaka 13 mu bufumbo era oluvannyuma ne tugattululwa.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Omulundi Abajulirwa ba Yakuwa lwe basooka okujja ewange, nnali sinnaba kwawukana na mukyala wange. Bansaba tukubaganye ebirowoozo ku Bayibuli. Nnali ndowooza nti mmanyi nnyo eby’eddiini, era nnali njagala kubalaga nti bye bayigiriza bikyamu. Nnababuuza ebibuuzo ebizibu ennyo bye nnali ndowooza nti tewali muntu asobola kubiddamu. Naye ekyanneewuunyisa, byonna baabiddamu bulungi nga bakozesa Bayibuli. Awo we nnategerera nti nnali mmanyi kitono nnyo. Kyokka, olw’okuba mukyala wange yali tabaagala, ate nga nange nnabanga n’eby’okukola bingi, baalekera awo okujja ewange.

Oluvannyuma lw’emyaka etaano nnaddamu okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, era mu kiseera ekyo nnali nfunye omukyala omulala ayitibwa Elvira. Elvira ye teyaziyiza Bajulirwa ba Yakuwa, era ekyo kyansobozesa okusomanga Bayibuli obutayosa. Wadde kyali kityo, kyantwalira ebbanga ddene okukyusa empisa zange.

Okusobola okusinza Yakuwa n’omutima gwange gwonna, waliwo enkyukakyuka ez’amaanyi ze nnalina okukola. Okusookera ddala, nnalina okuleka omulimu gw’okuyimba mu kereziya, nfune omulimu omulala. (Okubikkulirwa 18:4) Ate era nnalina okuwandiisa obufumbo bwange mu mateeka.

Ekimu ku bintu ebyanzibuwalira ennyo kwe kuyiga okufuga obusungu. Waliwo ebyawandiikibwa bibiri ebyasinga okunnyamba. Ekisooka ye Zabbuli 11:5, awalaga nti Yakuwa akyawa ebikolwa eby’obukambwe. Eky’okubiri ye 1 Peetero 3:7, ekyannyamba okutegeera nti Yakuwa bw’aba ow’okuwulira essaala zange, nnina okuwa mukyala wange ekitiibwa. Bwe nneeyongera okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo n’okusaba Yakuwa, mpolampola nnayiga okufuga obusungu.

Nnayiga mu Bayibuli nti Yakuwa bw’aba ow’okuwulira essaala zange, nnina okuwa mukyala wange ekitiibwa

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Kati nnina amaka amasanyufu. Nfuba okuzzaawo enkolagana wakati wange n’abaana bange be nnazaala mu mukazi eyasooka, n’okuyamba ab’omu maka gange ge nnina kati okweyongera okuba n’okukkiriza okunywevu.

Bwe nnali nkyali muto nnali njagala nnyo okufuuka omusaserodooti, naye bwe nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, kati nsobola okuyamba abantu era ndaba ng’obulamu bwange bulina ekigendererwa. Ssente ez’okulabirira ab’omu maka gange nziggya mu kuyigiriza abantu okuyimba. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okungumiikiriza n’okumpa akakisa okukyusa empisa zange ne nfuuka omuntu omulungi!