Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 5

Onooganyulwa Otya ng’Ozze mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Onooganyulwa Otya ng’Ozze mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Argentina

Sierra Leone

Belgium

Malaysia

Abantu bangi balekedde awo okugenda mu masinzizo olw’okuba tebafunayo bulagirizi bwonna mu by’omwoyo wadde okubudaabudibwa. Kati olwo lwaki wandigenze mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa? Onooganyulwa?

Ojja kufuna essanyu olw’okubeera mu bantu abaagalana era abafaayo ku balala. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakuŋŋaaniranga mu bibiina eby’enjawulo okusinza Katonda, okwekenneenya Ebyawandiikibwa, n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe baakuŋŋaananga ne baganda baabwe ab’eby’omwoyo baawuliranga essanyu kubanga baabanga bali wamu n’abantu ababaagala. (2 Abassessalonika 1:3; 3 Yokaana 14) Enkuŋŋaana zaffe nazo bwe zityo bwe ziba, era tufuna essanyu nga bo lye baafunanga.

Ojja kutegeera emiganyulo egiri mu kutambuliza obulamu bwo ku misingi gya Bayibuli. Nga bwe kyali mu kiseera Bayibuli we yawandiikirwa, ne leero abasajja, abakazi, n’abaana bakuŋŋaana wamu. Bwe tuba mu nkuŋŋaana, abo abalina ebisaanyizo batuyamba okulaba engeri gye tusobola okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Bayibuli. (Ekyamateeka 31:12; Nekkemiya 8:8) Ffenna ababeerawo mu nkuŋŋaana tusobola okwenyigira mu kuyimba ne mu kukubaganya ebirowoozo, bwe tutyo ne twoleka essuubi lye tulina.​—Abebbulaniya 10:23.

Okukkiriza kwo mu Katonda kujja kunywera. Omutume Pawulo yawandiikira ekimu ku bibiina eby’omu kiseera kye nti: “Njagala nnyo okubalaba, . . . musobole okunzizaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwammwe nange nsobole okubazzaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwange.” (Abaruumi 1:11, 12) Bwe tukuŋŋaana ne bakkiriza bannaffe, okukkiriza kwaffe kunywezebwa era tweyongera okuba abamalirivu okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Bayibuli.

Lwaki tojja mu lukuŋŋaana lwaffe olunaddako ggwe kennyini ne weerabirako ku bintu ebyo? Tujja kusanyuka nnyo okukulaba. Mu nkuŋŋaana zaffe tewabaayo kusolooza ssente.

  • Enkuŋŋaana zaffe zifaananako zitya ez’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?

  • Tuganyulwa tutya bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana?