Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Elias Hutter ne Bayibuli ez’Olwebbulaniya Ze Yavvuunula

Elias Hutter ne Bayibuli ez’Olwebbulaniya Ze Yavvuunula

OYINZA okuba nga tomanyi kusoma Lwebbulaniya, olumu ku nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, era nga tolabangako ku Bayibuli eri mu lulimi olwo. Kyokka okumanya ebikwata ku musajja ayitibwa Elias Hutter eyaliwo mu kyasa ekyasooka, awamu ne Bayibuli ebbiri ez’Olwebbulaniya ze yavvuunula, kiyinza okukuleetera okwagala ennyo Bayibuli yo.

Elias Hutter yazaalibwa mu Bugirimaani mu 1553, mu kabuga akayitibwa Görlitz okumpi n’ensalo eyawula Bugirimaani ne Poland. Hutter yayiga Olwebbulaniya n’Olulamayiki ng’ali ku Lutheran University mu kibuga Jena. Yafuuka profeesa era omusomesa w’olulimi Olwebbulaniya mu kibuga Leipzig nga wa myaka 24 gyokka. Oluvannyuma yatandikawo essomero erisomesa Olwebbulaniya, Oluyonaani, Olulattini, n’Olugirimaani mu kibuga Nuremberg. Mu kiseera ekyo tewaaliwo ssomero ddala lyonna eryali lisomesa nnimi ezo.

ENKYUSA YA BAYIBULI ENNUNGI ENNYO

Olupapula olulaga omutwe gw’enkyusa ya Bayibuli Hutter gye yavvuunula mu 1587

Mu 1587, Hutter yafulumya Endagaano Enkadde gye yali avvuunudde mu Lwebbulaniya. Enkyusa eyo yali eyitibwa Derekh ha-Kodesh, ebigambo ebyaggibwa mu Isaaya 35:8 ebitegeeza, “Ekkubo ery’Obutukuvu.” Abantu bettanira nnyo Bayibuli eyo. Naye okusingira ddala yali ya mugaso eri abayizi abaagikozesanga okuyiga Olwebbulaniya.

Okusobola okutegeera ensonga lwaki enkyusa ya Bayibuli eyo yali ya mugaso nnyo, lowooza ku kusoomoozebwa abayizi kwe baafunanga nga basoma Bayibuli mu Lwebbulaniya. Ekisooka, empandiika y’Olwebbulaniya ya njawulo nnyo ku y’ennimi endala abayizi abo ze baali bamanyi. Eky’okubiri, ebigambo by’Olwebbulaniya bikookerwako obugambo obulala obukifuula ekizibu okutegeera ebigambo ebimu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kigambo ky’Olwebbulaniya נפשׁ (ekisoma nti ne’phesh), era nga kitegeeza, “obulamu.” Mu Ezeekyeri 18:4, ekigambo ekyo kikookerwako akagambo ה (ha) ne kifuuka הנפשׁ (han·ne’phesh). Omuntu eyabanga ayiga obuyizi Olwebbulaniya kyamuzibuwaliranga okutegeera nti הנפשׁ (han·ne’phesh) kye kimu ne נפשׁ (ne’phesh).

Okuyamba abayizi be okwanguyirwa okusoma n’okutegeera ebigambo mu Bayibuli gye yavvuunula, ebigambo ebikulu yabiwandiikanga mu nnukuta enkwafu ate obugambo obukookeddwako n’abuleka mu nnukuta ezitali nkwafu. Ekyo kyayambanga abayizi okumanya obugambo obwabanga bukookeddwa ku kigambo. Enkyusa ya Bayibuli eya New World Translation of the Holy Scriptures​—With References yakozesa enkola y’emu mu bugambo obuli wansi. Ebifaananyi ebyo waggulu biraga enkola eyo mu Ezeekyeri 18:4 mu Bayibuli y’Olwebbulaniya Hutter gye yavvuunula awamu n’obugambo obuli wansi ku lunyiriri lwe lumu mu Reference Bible.

“ENDAGAANO EMPYA” MU LWEBBULANIYA

Hutter era yafulumya n’Endaagano Empya nga buli lunyiriri luwandiikiddwa mu nnimi 12 ez’enjawulo. Enkyusa eyo yakubibwa mu kyapa mu Nuremberg mu 1599, era etera okuyitibwa Nuremberg Polyglot. Ku nnimi ezo yayagala kubeeko n’Olwebbulaniya. Kyokka yagamba nti ne bwe “yandisasudde obuwanana bw’ensimbi” okusobola okufuna ebyawandiikibwa by’Endagaano Empya ebyavvuunulwa mu Lwebbulaniya, tekyandisobose. * Bw’atyo yasalawo ye kennyini agivvuunule okuva mu Luyonaani okugizza mu Lwebbulaniya. Hutter yaleka ebirala byonna bye yali akola n’abakana n’omulimu ogwo, era yagumaliriza mu mwaka gumu gwokka!

Enkyusa ya Hutter ey’Endagaano Empya mu Lwebbulaniya yali etya? Omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Franz Delitzsch eyaliwo mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda yagamba nti: “Engeri Hutter gye yavvuunulamu eraga nti yali ategeera bulungi Olwebbulaniya, ekintu ekyali kitasangikasangika mu Bakristaayo. N’okutuusa leero, enkyusa eyo ekyali ya mugaso nnyo kubanga yavvuunulwa bulungi.”

HUTTER YALEKAWO OMUKULULO

Bayibuli za Hutter tezaatunda nnyo era teyazifunamu ssente nnyingi. Wadde kiri kityo, Bayibuli ze zibadde za mugaso nnyo. Ng’ekyokulabirako, Endagaano Empya gye yavvuunula mu Lwebbulaniya yalongoosebwamu William Robertson mu 1661 n’eddamu n’ekubibwa mu kyapa, ate mu 1798 n’erongoosebwamu Richard Caddick era n’eddamu n’ekubibwa mu kyapa. Hutter bwe yali avvuunula Endagaano Empya, yakozesa ebiwandiiko by’Oluyonaani ebyasookera ddala. Bwe yasanganga ekitiibwa Kyʹri·os (Mukama) oba ekitiibwa The·osʹ (Katonda) mu kyawandiikibwa ekyabanga kijuliziddwa okuva mu Ndagaano Enkadde, oba ng’alaba nti erinnya lya Katonda lye lirina okubaawo, yateekangawo erinnya “Yakuwa” (יהוה, JHVH). Ekyo kikulu nnyo, kubanga wadde ng’enkyusa za Bayibuli nnyingi tezikozesa linnya lya Katonda mu Ndagaano Empya, Hutter ye yalikozesa mu nkyusa ye, era obwo bujulizi obulaga nti erinnya eryo lirina okuba mu Ndagaano Empya.

Bw’oba osoma ebyawandiikibwa eby’Endagaano Empya n’osanga erinnya lya Katonda Yakuwa, oba bw’oba osoma obugambo obuli wansi mu Reference Bible, ojjukiranga Elias Hutter ne Bayibuli ze yavvuunula mu Lwebbulaniya.

^ lup. 9 Waliwo abalala abaali bavvuunula Endagaano Empya mu Lwebbulaniya, gamba nga, Simon Atoumanos, eyagivvuunula mu 1360, ne Oswald Schreckenfuchs, Omugirimaani eyagivvuunula awo nga mu 1565. Abasajja abo bye bavvuunula tebyakubibwa mu kyapa era tebikyaliwo.