Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo

Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo

Wadde ng’abantu basinza bakatonda bangi, waliwo Katonda omu yekka ow’amazima. (Yokaana 17:3) ‘Y’Ali Waggulu wa Byonna,’ ye mutonzi w’ebintu byonna, era ye nsibuko y’obulamu. Ye yekka agwanidde okusinzibwa.​—Danyeri 7:18; Okubikkulirwa 4:11.

Katonda y’Ani?

Erinnya lya Katonda lisangibwa mu biwandiiko ebyasooka EMIRUNDI NGA 7,000

YAKUWA lye linnya lya Katonda

MUKAMA, KATONDA, KITAFFE​—Ebimu ku bitiibwa bya Yakuwa

Erinnya lya Katonda y’Ani? Katonda kennyini agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Isaaya 42:8) Erinnya lya Katonda lisangibwa mu Bayibuli emirundi nga 7,000. Kyokka, enkyusa za Bayibuli nnyingi zaggibwamu erinnya lya Katonda ne muteekebwamu ebitiibwa gamba nga, “Mukama.” Katonda ayagala obeere mukwano gwe, n’olwekyo akukubiriza ‘okukoowoola erinnya lye.’​—Zabbuli 105:1.

Ebitiibwa bya Yakuwa. Bayibuli eyogera ku Yakuwa ng’ekozesa ebitiibwa gamba nga “Katonda,” “Omuyinza w’Ebintu Byonna,” “Omutonzi,” “Kitaffe,” “Mukama,” ne “Afuga Byonna.” Bayibuli erimu essaala nnyingi ng’erinnya lya Katonda Yakuwa likozeseddwa awamu n’ekitiibwa.​—Danyeri 9:4.

Katonda Talabika. Katonda mwoyo era tetusobola kumulaba. (Yokaana 4:24) Bayibuli egamba nti “tewali muntu yali alabye Katonda.” (Yokaana 1:18) Bayibuli eraga nti Katonda alina enneewulira. Abantu basobola okumunakuwaza oba ‘okumusanyusa.’​—Engero 11:20; Zabbuli 78:40, 41.

Engeri za Katonda ez’Ekitalo. Katonda tasosola. (Ebikolwa 10:34, 35) ‘Katonda musaasizi era wa kisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima mangi.’ (Okuva 34:6, 7) Kyokka, waliwo engeri za Katonda nnya ezisinga obukulu.

Amaanyi. Olw’okuba ye “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,” alina amaanyi mangi nnyo agamusobozesa okutuukiriza buli kimu ky’aba asuubizza.​—Olubereberye 17:1.

Amagezi. Katonda alina amagezi mangi nnyo okusinga omuntu yenna. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti ‘ye yekka ow’amagezi.’​—Abaruumi 16:27.

Obwenkanya. Bulijjo Katonda akola ekituufu. By’akola “bituukiridde,” era ‘taliimu butali bwenkanya.’​—Ekyamateeka 32:4.

Okwagala. Bayibuli egamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ng’oggyeeko okuba nti Katonda alina okwagala, ye kennyini kwagala. Okwagala kwe kumukubiriza okukola buli kimu ky’akola, era tuganyulwa mu kwagala kwe mu ngeri nnyingi.

Enkolagana ya Katonda n’Abantu. Katonda ye Kitaffe ow’omu ggulu era atwagala nnyo. (Matayo 6:9) Tusobola okuba mikwano gye singa tumukkiririzaamu. (Zabbuli 25:14) Mu butuufu, Katonda ayagala omusemberere ng’oyitira mu kusaba era ‘omukwase byonna ebikweraliikiriza kubanga akufaako.’​—1 Peetero 5:7; Yakobo 4:8.

Njawulo ki Eriwo Wakati wa Katonda ne Kristo?

Yesu Si Katonda. Yesu wa njawulo mu ngeri nti Katonda ye yamutonda. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli emuyita Omwana wa Katonda. (Yokaana 1:14) Yakuwa bwe yamala okutonda Yesu, yamukozesa “ng’omukozi omukugu” okutonda ebintu byonna n’abantu bonna.​—Engero 8:30, 31; Abakkolosaayi 1:15, 16.

Yesu Kristo teyagamba nti ye Katonda. Yesu yagamba nti: ‘Nnajja okukiikirira Katonda, era Oyo ye yantuma.’ (Yokaana 7:29) Yesu bwe yali ayogera n’omu ku bayigirizwa be yayogera ku Yakuwa nti “Kitange era Kitammwe” era nti “Katonda wange era Katonda wammwe.” (Yokaana 20:17) Yesu bwe yafa, Yakuwa yamuzuukiza mu bulamu obw’omu ggulu n’amuwa obuyinza bungi, era n’atuula ku mukono gwe ogwa ddyo.​—Matayo 28:18; Ebikolwa 2:32, 33.

Yesu Kristo Asobola Okukuyamba Okusemberera Katonda

Yesu yajja ku nsi okutuyigiriza ebikwata ku Kitaawe. Yakuwa kennyini yayogera ku Yesu nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulire.” (Makko 9:7) Yesu asinga abantu bonna okumanya Katonda. Yagamba nti: “Tewali amanyi Kitange wabula Omwana, n’oyo yenna Omwana gw’aba ayagadde amanye Kitaawe.”​—Lukka 10:22.

Yesu ayoleka engeri za Katonda ku kigero ekituukiridde. Yesu yakoppera ddala engeri za Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yokaana 14:9) Yesu yayamba abantu okusemberera Katonda ng’ayoleka okwagala kwa Kitaawe mu bye yayogera ne bye yakola. Yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Ate era yagamba nti: ‘Abasinza mu ngeri entuufu bajja kusinza Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.’ (Yokaana 4:23) Kirowoozeeko ekyo! Yakuwa anoonya abantu abalinga ggwe abaagala okumanya amazima agamukwatako.