Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 25

Lwaki Ebizimbe by’Obwakabaka Bizimbibwa era Bizimbibwa Bitya?

Lwaki Ebizimbe by’Obwakabaka Bizimbibwa era Bizimbibwa Bitya?

Bolivia

Nigeria, ekyasookawo n’ekiriwo kati

Tahiti

Ebizimbe mwe tukuŋŋaanira biyitibwa “Ebizimbe by’Obwakabaka.” Erinnya eryo lituukirawo kubanga Obwakabaka bwa Katonda ye nsonga enkulu eyogerwako mu nkuŋŋaana zaffe, era gwe gwali omutwe omukulu mu kubuulira kwa Yesu.​—Lukka 8:1.

Ebikolerwamu bitumbula okusinza okw’amazima. Mu bizimbe ebyo Abajulirwa ba Yakuwa mwe basinziira okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Matayo 24:14) Ebizimbe by’Obwakabaka byonna tebifaanagana; ebimu biba binene ate ebirala biba bitonotono. Bingi ku byo bikuŋŋaaniramu ebibiina ebisukka mu kimu. Mu myaka egiyise, Ebizimbe by’Obwakabaka bingi nnyo bizimbiddwa (ebizimbe nga bitaano buli lunaku) okusobola okuba n’ebizimbe ebimala olw’omuwendo gw’ababuulizi n’ogw’ebibiina ogweyongedde. Kino tusobodde tutya okukikola?​—Matayo 19:26.

Ssente ezikozesebwa okubizimba ziweebwayo kyeyagalire. Ssente ezo ziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ne zisobola okuyamba ebibiina ebyetaaga okuzimba oba okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka.

Bizimbibwa bannakyewa. Mu nsi nnyingi eriyo Ab’oluganda Abakola ogw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ab’oluganda abo bagenda mu bitundu eby’enjawulo, omuli n’ebyo ebyesudde ennyo, okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’okutendeka ab’oluganda ab’omu bitundu ebyo mu mulimu gw’okuzimba. Mu nsi endala eriyo Obukiiko Obukola ku by’Okuzimba, nga buno bwe bulabirira omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mu bitundu bye buvunaanyizibwako. Abakadde abalina obumanyirivu bawa ebibiina obulagirizi obwetaagisa, era ab’oluganda abalala abamanyi eby’okuzimba nabo bayambako mu kuzimba. Ab’oluganda bangi mu kibiina ekiba kizimba beewaayo nga bannakyewa okukola emirimu egitali gimu. Omulimu guno gusobodde okugenda mu maaso olw’okuba Yakuwa awa abantu be omwoyo gwe era nga nabo bagwenyigiddemu n’omutima gwabwe gwonna.​—Zabbuli 127:1; Abakkolosaayi 3:23.

  • Lwaki ebizimbe mwe tukuŋŋaanira biyitibwa Ebizimbe by’Obwakabaka?

  • Tusobodde tutya okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi yonna?