Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa mu nsi yonna, bava mu bika eby’enjawulo era ne mu mawanga ga njawulo. Kiki ekiyambye ekibiina kino ekinene okuba obumu?

Katonda by’Ayagala Bye Biruwa?

Katonda ayagala ebyo by’ayagala bimanyibwe mu nsi yonna. Katonda by’ayagala bye biruwa era baani leero abayigiriza by’ayagala?

ESSOMO 1

Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?

Abajulirwa ba Yakuwa bameka b’omanyi? Kiki ddala ky’otumanyiiko?

ESSOMO 2

Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

Weetegereze ensonga ssatu eziraga lwaki tweyita erinnya lino.

ESSOMO 3

Amazima Agali mu Bayibuli Gaddamu Gatya Okutegeerwa?

Tuyinza tutya okuba abakakafu nti tutegeerera ddala ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?

ESSOMO 4

Lwaki Twafulumya Bayibuli Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya?

Kiki ekifuula enzivvunula eno ey’Ekigambo kya Katonda okuba ey’enjawulo?

ESSOMO 5

Onooganyulwa Otya ng’Ozze mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Tukuŋŋaana wamu okusobola okwekenneenya Ebyawandiikibwa n’okuzziŋŋanamu amaanyi. Tujja kusanyuka nnyo okukulaba!

ESSOMO 6

Okubeerako Awamu ne Bakristaayo Bannaffe Kituganyula Kitya?

Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okukuŋŋaana awamu. Laba engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kukuŋŋaana awamu.

ESSOMO 7

Enkuŋŋaana Zaffe Ziba Zitya?

Wali weebuuzizako ekibeera mu nkuŋŋaana zaffe? Ojja kukiraba nti Bayibuli ennyonnyolwa bulungi nnyo mu nkuŋŋaana zino.

ESSOMO 8

Lwaki Twambala Bulungi nga Tugenda mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Katonda afaayo ku ebyo bye twambala? Weetegereze emisingi egiri mu Bayibuli egituyamba okumanya engeri gye tuyinza okwambala n’okwekolako mu ngeri esaana.

ESSOMO 9

Tuyinza Tutya Okwetegekera Enkuŋŋaana Obulungi?

Okwetegekera Enkuŋŋaana kijja kukuyamba okuziganyulwamu mu bujjuvu.

ESSOMO 10

Okusinza kw’Amaka Kye Ki?

Weetegereze engeri enteekateeka eno gy’esobola okukuyamba okusemberera Katonda n’okunyweza enkolagana y’ab’omu maka go.

ESSOMO 11

Lwaki Tugenda ku Nkuŋŋaana Ennene?

Buli mwaka tuba n’enkuŋŋaana ennene ssatu. Oyinza otya okugulwa mu nkuŋŋaana zino?

ESSOMO 12

Omulimu Gwaffe ogw’Okubuulira Gukolebwa Gutya?

Tukoppa engeri Yesu gye yabuuliramu bwe yali ng’akyali ku nsi. Ezimu ku ngeri zino ez’okubuulira ze ziruwa?

ESSOMO 13

Payoniya y’Ani?

Abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa bamala essaawa 30, 50, oba n’okusingawo buli mwezi nga bakola omulimu gw’okubuulira. Kiki ekibaleetera okubuulira?

ESSOMO 14

Masomero Ki Bapayoniya Ge Basobola Okugendamu?

Abo abamala ebiseera bingi mu mulimu gw’okubuulira bafuna kutendekebwa ki okw’enjawulo?

ESSOMO 15

Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?

Abakadde be basajja abakulu mu by’omwoyo abatwala obukulembeze mu kibiina. Abakadde batuyamba batya?

ESSOMO 16

Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?

Abaweereza bayambako mu mirimu gy’ekibiina. Manya engeri emirimu gye bakola gye giyamba abalala.

ESSOMO 17

Abalabirizi b’Ebitundu Batuyamba Batya?

Lwaki abalabirizi b’ebitundu bakyalira ebibiina? Oyinza otya okuganyulwa ng’omulabirizi abakyalidde?

ESSOMO 18

Tuyamba Tutya Baganda Baffe Abali mu Buzibu?

Bwe wagwawo akatyabaga konna, enteekateeka zikolebwa mu bwangu okubaako bye tukolera abo abakoseddwa n’okubabudaabuda mu by’omwoyo. Tubayamba tutya?

ESSOMO 19

Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?

Yesu yasuubiza nti ajja kulonda omuddu eyandigabudde emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Kino akikola atya?

ESSOMO 20

Leero Akakiiko Akafuzi Katambuza Katya Emirimu Gyako?

Mu kyasa ekyasooka, abamu ku bakadde n’abatume be baali ku kakiiko akafuzi ak’ekibiina Ekikristaayo. Kati ate kiri kitya leero?

ESSOMO 21

Beseri Kye Ki?

Beseri kifo kya njawulo era emirimu egikolebwayo mikulu nnyo. Manya ebisingawo ebikwata ku abo abaweereza ku Beseri.

ESSOMO 22

Biki Ebikolebwa ku Ofiisi Zaffe ez’Amatabi?

Abantu baanirizibwa okujja okulambula ofiisi z’amatabi gaffe. Naawe oyanirizibwa!

ESSOMO 23

Ebitabo Byaffe Biwandiikibwa Bitya era Bivvuunulwa Bitya?

Tukuba ebitabo mu nnimi ezisukka mu 700. Lwaki tufuba okukuba ebitabo mu nnimi nnyingi?

ESSOMO 24

Ekibiina Kyaffe Kiggya Wa Ssente Ze Kikozesa?

Bwe kituuka ku kuwaayo, kiki ekifuula ekibiina kyaffe okuba eky’enjawulo ku madiini amalala?

ESSOMO 25

Lwaki Ebizimbe by’Obwakabaka Bizimbibwa era Bizimbibwa Bitya?

Lwaki ebizimbe mwe tukuŋŋaanira biyitibwa Ebizimbe by’Obwakabaka? Laba engeri ebizimbe bino ebirabika obulungi gye biyambamu ebibiina byaffe.

ESSOMO 26

Ekizimbe ky’Obwakabaka Tusaanidde Kukirabirira Tutya?

Ekizimbe ky’Obwakabaka ekiyonjo era ekirabirirwa obulungi kiweesa Katonda waffe ekitiibwa. Nteekateeka ki ezikolebwa okusobola okulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka?

ESSOMO 27

Etterekero ly’Ebitabo ery’Ekibiina Lituyamba Litya?

Wandyagadde okubaako ne ky’onoonyerezaako osobole okwongera ku kumanya kwo okwa Bayibuli? Kozesa etterekero ly’ebitabo ery’ekibiina!

ESSOMO 28

Biki Ebiri ku Mukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti?

Osobola okumanya ebitukwatako n’ebyo ebikwata ku nzikiriza zaffe era n’ofuna n’ebyokuddamu mu bibuuzo ebikwata ku Bayibuli.

Onookola Yakuwa by’Ayagala?

Yakuwa Katonda akwagala nnyo. Oyinza otya okukiraga mu bulamu bwo obwa bulijjo nti oyagala okumusanyusa?