Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebiwandiiko bya Bayibuli

Ekintu eky’Omuwendo Ekyazuulibwa mu Kasasiro

Ekiwandiiko ekiyitibwa Rylands ekirimu ezimu ku nnyiriri eziri mu njiri ya Yokaana kye kisingayo obukadde mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Oluyonaani ebyazuulibwa.

Ebiri mu Muzingo ogw’Edda Bimanyibwa

Mu 1970 abantu abayiikuula ebintu eby’edda baazuula omuzingo ogwasiriira mu kitundu ky’e Ein Gedi, mu Isirayiri. Kati waliwo tekinologiya ali ku mulembe era baamukozesa ne basobola okusoma ebigulimu. Biki ebigulimu?

Bayibuli Teyavunda

Abawandiisi ba Bayibuli n’abo abaagikoppolola baawandiikanga ku bitoogo ne ku maliba. Kizze kitya okuba nti ebiwandiiko bya Bayibuli bingi eby’edda bikyaliwo n’okutuusa leero?

Ddala Bayibuli by’Eyogera ku Yesu Bituufu?

Laba engeri ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri gye bikwataganamu n’ebiwandiiko eby’edda ebyazuulibwa.