Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebiri mu Muzingo ogw’Edda Bimanyibwa

Ebiri mu Muzingo ogw’Edda Bimanyibwa

Omuzingo gw’e Ein Gedi ogwasiriira gwali tegusobola kusomebwa okuva lwe baaguzuula mu 1970. Tekinologiya ali ku mulembe akiraze nti omuzingo ogwo kitundu ky’ekitabo ky’Eby’Abaleevi era kirimu erinnya lya Katonda

MU 1970 abantu abayiikuula ebintu eby’edda baazuula mu kitundu ky’e Ein Gedi, mu Isirayiri okumpi n’olubalama lw’Ennyanja Enfu omuzingo ogwali gwasiriira. Omuzingo ogwo baaguzuula bwe baali bayiikuula ekitundu awaali ekkuŋŋaaniro eryayokebwa ng’ekyalo ekyo kizikirizibwa, oboolyawo mu kyasa eky’omukaaga E.E. Olw’okuba omuzingo ogwo gwali mu mbeera mbi nnyo, kyali tekisoboka kusoma bigulimu era kyali tekisoboka kuguzingulula. Naye kati waliwo tekinologiya ali ku mulembe era baamukozesa ne basobola okusoma ebigulimu.

Bye baazuula mu muzingo ogwo byalaga ki? Omuzingo ogwo kiwandiiko kya Bayibuli era kirimu ezimu ku nnyiriri ezisooka eziri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi. Ennyiriri ezo zirimu erinnya lya Katonda nga liwandiikiddwa mu nnukuta nnya ez’Olwebbulaniya. Kirabika omuzingo ogwo gwawandiikibwa wakati w’omwaka 50 E.E. ne 400  E.E., era nga gwe muzingo gwa Bayibuli oguli mu Lwebbulaniya ogusingayo obukadde ogwali guzuuliddwa bukya bazuula emizingo egyasangibwa mu Qumran okumpi n’Ennyanja Enfu. Omuwandiisi ayitibwa Gil Zohar yawandiika bw’ati mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Jerusalem Post: “Omuzingo gw’e Ein Gedi bwe gwali tegunnazuulwa, waaliwo ebbanga lya myaka nga 1000 wakati w’ebiwandiiko bya Bayibuli ebisingayo obukadde, kwe kugamba, emizingo gy’Ennyanja Enfu (egyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 100 E.E.T.) n’ebyo ebibiddirira mu bukadde, kwe kugamba, Aleppo Codex (eyawandiikibwa awo nga mu 930 E.E.).” Okusinziira ku bakugu, ebyo ebiri mu muzingo gw’e Ein Gedi biraga nti ebyo ebiri mu bitabo bya Bayibuli ebitaano ebisooka Abamasoleti bye baakoppolola “tebyakyuka wadde nga waali wayiseewo emyaka mingi, era nti ensobi z’abakoppolozi tezaakyusa makulu ga byawandiikibwa.”