Buuka ogende ku bubaka obulimu

“Kkiririza mu Yesu”—Ddala Okukkiririza mu Yesu Kimala Omuntu Okusobola Okulokolebwa?

“Kkiririza mu Yesu”—Ddala Okukkiririza mu Yesu Kimala Omuntu Okusobola Okulokolebwa?

Bayibuli ky’egamba

 Abakristaayo bakkiriza nti Yesu yafa olw’ebibi by’abantu bonna. (1 Peetero 3:18) Kyokka, okukkiriza nti Yesu ye Mulokozi waffe tekimala omuntu okusobola okulokolebwa. Dayimooni zimanyi nti Yesu “Mwana wa Katonda,” naye zigenda kuzikirizibwa, so si kulokolebwa.—Lukka 4:41; Yuda 6.

 Biki bye nnina okukola okusobola okulokolebwa?

  •   Olina okukkiriza nti Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’ebibi byaffe. (Ebikolwa 16:30, 31; 1 Yokaana 2:2) Ekyo kizingiramu okukkiriza nti Yesu yali muntu wa ddala era n’okukkiriza nti ebyo byonna Bayibuli by’emwogerako bituufu.

  •   Yiga ebyo Bayibuli by’eyigiriza. (2 Timoseewo 3:15) Bayibuli egamba nti omutume Pawulo ne Siira baagamba omukuumi we kkomera nti: “Kkiriza Mukama waffe Yesu, ojja kulokolebwa.” Oluvannyuma baatandika okuyigiriza omukuumi we kkomera “ekigambo kya Yakuwa.” a (Ebikolwa 16:31, 32) Ekyo kiraga nti omukuumi we kkomera yali tasobola kukkiririza mu Yesu okuggyako ng’ategedde Ekigambo kya Katonda. Yali yeetaaga okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Byawandiikibwa.—1 Timoseewo 2:3, 4.

  •   Weenenye. (Ebikolwa 3:19) Ate era olina okwenenya, oba okunakuwala olw’endowooza enkyamu gye walina n’olw’ebintu ebibi bye wakola. Abantu bajja kukiraba nti weenenyezza bw’onoolekera awo okukola ebikolwa ebitasanyusa Katonda era n’otandika okukola ‘ebikolwa ebiraga nti weenenyezza.’—Ebikolwa 26:20.

  •   Batizibwa. (Matayo 28:19) Yesu yagamba nti abo abandifuuse abayigirizwa be bandibatiziddwa. Omukuumi we kkomera eyayogeddwako yabatizibwa. (Ebikolwa 16:33) Mu ngeri y’emu, omutume Peetero bwe yamala okuyigiriza abantu amazima agakwata ku Yesu, “abo abakkiriza n’essanyu ebigambo bye ne babatizibwa.”—Ebikolwa 2:40, 41.

  •   Gondera ebiragiro bya Yesu. (Abebbulaniya 5:9) Abo ‘abakwata ebintu byonna’ Yesu bye yayigiriza bakiraga mu bulamu bwabwe nti bagoberezi be. (Matayo 28:20) Bafuuka ‘bakozi ba kigambo so si bawulira buwulizi.’—Yakobo 1:22.

  •   Gumiikiriza okutuuka ku nkomerero. (Makko 13:13) Abayigirizwa ba Yesu ‘beetaaga okugumiikiriza’ okusobola okulokolebwa. (Abebbulaniya 10:36) Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yafuba okugoberera ebyo byonna Yesu bye yayigiriza, yali mwesigwa eri Katonda, era yagumiikiriza okuva ku lunaku lwe yafuuka Omukristaayo okutuusa lwe yafa.—1 Abakkolinso 9:27.

 Watya singa nsaba “Essaala ey’Okwenenya”?

 Mu madiini agamu abantu basaba essaala ezimu gamba nga “Essaala ey’Okwenenya” ne “Essaala ey’Obulokozi.” Ebiseera ebisinga abo abasaba essaala eyo baba bakimanyi nti boonoonyi era baba bakkiriza nti Yesu yafa ku lw’ebibi byabwe. Ate era, basaba Yesu ajje mu mitima gyabwe oba mu bulamu bwabwe. Naye Bayibuli teyogera ku “Ssaala ey’Okwenenya” era tetukubiriza kugisaba.

 Abantu abamu balowooza nti oluvannyuma lw’okusaba “Essaala ey’Okwenenya,” baba bakakafu nti bajja kulokolebwa. Naye tewali n’omu ajja kulokolebwa olw’okusaba obusabi essaala. Olw’okuba tetuukiridde buli kiseera tukola ensobi. (1 Yokaana 1:8) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba abagoberezi okusabanga buli kiseera Katonda abasonyiwe ebibi byabwe. (Lukka 11:2, 4) Ate era, Abakristaayo abamu abaalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo tebajja kubufuna olw’okuba baagwa oba beeyawula ku Katonda.—Abebbulaniya 6:4-6; 2 Peetero 2:20, 21.

 “Essaala ey’Okwenenya” yava wa?

 Bannabyafaayo balina endowooza ez’enjawulo ku wa “Essaala ey’Okwenenya” gye yava. Abamu bagamba nti essaala yatandika mu kiseera ng’Obupolotesitanti butandikibwawo. Abalala bagamba nti essaala yatandika mu myaka gya 1700 ne 1800 mu kiseera amadiini amapya we gaatandikira. Wadde kiri kityo, essaala eyo teyogerwako mu Byawandiikibwa, era ekontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda nga bwe kiragibwa mu Bayibuli.