Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Katonda Yatonda Sitaani?

Ddala Katonda Yatonda Sitaani?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eraga nti Katonda teyatonda Sitaani. Wabula yatonda ekitonde eky’omwoyo oluvannyuma ekyafuuka Sitaani Omulyolyomi. Bayibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “By’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.” (Ekyamateeka 32:3-5) Okusinziira ku bigambo ebyo, kyeyoleka lwatu nti mu kusooka Sitaani Omulyolyomi yali kitonde ekituukiridde era ekikola eby’obutuukirivu. Yali omu ku bamalayika ba Katonda.

 Mu Yokaana 8:44, Yesu yagamba nti Sitaani “teyanywerera mu mazima,” ekiraga nti mu kusooka Sitaani yali wa mazima nga talina musango.

 Naye, okufaananako ebitonde bya Katonda byonna ebitegeera, malayika eyafuuka Sitaani yalina eddembe okusalawo okukola ekituufu oba ekikyamu. Bwe yasalawo okwewaggula ku Katonda era n’aleetera n’abantu abaasooka okujeemera Katonda, malayika oyo yafuuka Sitaani, ekitegeeza “Oyo aziyiza.”—Olubereberye 3:1-5; Okubikkulirwa 12:9.