Buuka ogende ku bubaka obulimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Lwaki Okusoma Kikulu eri Abaana—Ekitundu 1: Soma oba Laba?

Lwaki Okusoma Kikulu eri Abaana—Ekitundu 1: Soma oba Laba?

 Bwe kiba kiseera kya kuwummulamu, kiki abaana bo kye bayinza okwagala: kulaba vidiyo oba kusoma? Kiki kye bayinza okwanguyirwa okulondawo: ssimu oba kitabo?

 Okumala emyaka mingi, abantu bazze bawugulibwa okuva ku kusoma olw’okuba waliwo ttivi n’ebintu bye basobola okulaba oba okukola ku Intaneeti. Jane Healy yawandiika mu kitabo kye ekiyitibwa, Endangered Minds ekya 1990 nti, “Gye bujja abantu bayinza okulekera awo okusoma.”

 Mu kiseera ekyo, wali oyinza okulowooza nti abantu tebalirekera awo kusoma. Kyokka, kati, nga wayise emyaka asatu, abasomesa abamu ababeera mu nsi ezikulaakulanye ennyo mu bya tekinologiya, bagamba nti okutwalira awamu, abaana bangi tebasobola kusoma nga bwe kyali edda.

Ebiri mu kitundu kino

 Lwaki okusoma kikulu nnyo eri abaana?

  •   Bw’osoma, okozesa obusobozi bw’okukuba akafaananyi. Ng’ekyokulabirako, bw’osoma ku bintu ebyaliwo, amaloboozi g’abo aboogerwako gawulikika gatya? Balabika batya? Ebifo bye balimu birabika bitya? Omuwandiisi annyonnyola ebimu ku bintu ebyo, naye omusomi alina okufuba okutegeerera ddala byonna.

     Maama omu ayitibwa Laura agamba nti, “Bwe tulaba firimu oba vidiyo, tuba tulaba engeri omuntu omulala gy’aba akubyeemu akafaananyi era ekyo kiyinza okutunyumira. Kyokka okusoma kwo kwa njawulo ku kulaba vidiyo oba firimu kubanga ggwe asoma ggw’oba olina okukuba akafaananyi mu birowoozo byo ku ebyo omuntu omulala bye yawandiika.”

  •   Okusoma kuyamba abaana okukulaakulanya engeri ennungi. Abaana bwe baba basoma, bakulaakulanya engeri ennungi ezisobola okubayamba okukwatamu ebizibu n’okubigonjoola. Ate era, abaana okusobola okusoma, balina okussaayo ebirowoozo. Bwe bakola bwe batyo, bakulaakulanya engeri gamba ng’obugumiikiriza, okwefuga, era n’okufaayo ku balala.

     Okufaayo ku balala? Yee! Abanoonyereza abamu bagamba nti abaana bwe basoma mpolampola era n’obwegendereza ebyo ebikwata ku muntu, kibayamba okulowooza ku nneewulira z’oyo gwe basomako. Ekyo oluvannyuma kiyinza okubayamba okufaayo ku bantu abalala.

  •   Okusoma kuleetera omuntu okulowooza ennyo. Abasoma n’obwegendereza basoma okusinziira ku sipiidi yaabwe. Basobola n’okuddamu okusoma ebyo bye baba bamaze okusoma bwe kiba kyetaagisa, okusobola okutegeera omuwandiisi ky’agamba. Bwe bakola batyo, baba basobola okujjukira ebyo bye basoma era n’okubiganyulwamu.—1 Timoseewo 4:15.

     Taata omu ayitibwa Joseph agamba nti: “Bw’osoma, oba osobola bulungi okufumiitiriza ku makulu g’ebyo by’osomye, okubikwataganya n’ebyo by’omanyi, era n’okulowooza ku by’osobola okuyigamu. Vidiyo ne firimu tebitera tutuleetera kulowooza nnyo ku bintu.”

 Ekituufu: Wadde nga vidiyo n’ebintu ebirala eby’okulaba bya mugaso, abaana bo bayinza okuba nga basubwa ekintu ekikulu ennyo bwe baba nga tebafunayo budde kusoma.

 Engeri y’okukubirizamu abaana okusoma

  •   Tandika nga bukyali. Chloe, maama alina abalenzi ababiri, agamba nti: “Twatandika okusomeranga abaana baffe nga bakyali mu lubuto, era tweyongera okubasomera nga bazaaliddwa. Tuli basanyufu nti tetwasa mukono. Oluvannyuma lw’ekiseera, okusoma kwafuuka kitundu kya bulamu bwabwe.”

     Omusingi gwa Bayibuli: “Okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu.”—2 Timoseewo 3:15.

  •   Fuula amaka go ekifo ekyagazisa okusoma. Kifuule kyangu eri abaana bo okwagala okusoma ng’obateerawo ebintu bye basobola okusoma. Tamara, maama ow’abaana abana agamba nti: “Funa ebitabo ebinaayanguyira omwana wo okusoma era obiteeke okumpi n’ekitanda kye.”

     Omusingi gwa Bayibuli: “Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”—Engero 22:6.

  •   Ssa ekkomo ku nkozesa ya Intaneeti. Taata omu ayitibwa Daniel awa amagezi ag’okuteekawo akawungeezi akamu nga tewali n’omu akozesa byuma bya tekinologiya. Agamba nti: “Ne bwe kyabanga kiro kimu mu wiiki, twafunanga akawungeezi nga ffenna tetulabye ttivi. Twakozesanga ekiseera ekyo okusoma, ka kibe nti tusomedde wamu oba buli omu ng’ali yekka.”

     Omusingi gwa Bayibuli: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’—Abafiripi 1:10.

  •   Ssaawo ekyokulabirako. Karina, maama ow’abawala ababiri, agamba nti: “Bw’oba osomera abaana bo, soma mu ngeri ebaleetera okunyumirwa era n’okukuba akafaananyi ku ebyo by’osoma. Bw’oba oyagala okusoma, omwana wo ayinza okukoppa ekyokulabirako kyo.”

     Omusingi gwa Bayibuli: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde.”—1 Timoseewo 4:13.

 Tekiri nti abaana bonna bajja kwagala okusoma. Kyokka bw’obakubiriza, kiyinza okubaleetera okwagala okusoma. David, taata alina abawala ababiri, yakola ekisingawo ku kukubiriza abaana be okusoma. Agamba nti: “Nnasomanga abaana bange bye baasomanga. Ekyo kyannyamba okumanya bye baagala era twabyogerangako. Twateranga okutuulako awamu ne tubaako bye tusoma. Kyatusanyusanga nnyo!”