Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Nnalabika ng’Alina Buli Kimu Kye Nnali Nneetaaga”

“Nnalabika ng’Alina Buli Kimu Kye Nnali Nneetaaga”
  • YAZAALIBWA: 1962

  • ENSI: Canada

  • EBYAFAAYO: Yeenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Nnazaalibwa mu Montreal, ekibuga ekisinga obunene mu ssaza lya Quebec ery’e Canada. Nze ne baganda bange babiri abato ne mwannyinaze omukulu twakuzibwa abazadde abaali batwagala ennyo, mu kyalo ekiyitibwa Rosemont ekyali kirabika obulungi. Twakulira mu bulamu obulungi era obw’emirembe.

 Bwe nnali nkyali muto, nnayagalanga nnyo okusoma Bayibuli. Nzijukira bwe nnali wa myaka 12, nnanyumirwa nnyo kusoma ebikwata ku Yesu mu Ndagaano Empya. Okwagala n’obusaasizi bye yalina eri abantu byankwatako nnyo era ne njagala okuba nga ye. Eky’ennaku, okwagala okwo kwagenda kukendeera bwe nnagenda nkula ne ntandika okubeera n’emikwano emibi.

 Taata wange yali mufuuyi wa mirere, era ng’oggyeeko okumpa omulere gwe, yandeetera okwagala okuyimba, ekintu ekyafuuka ekikulu ennyo mu bulamu bwange. Nnanyumirwanga nnyo okuyimba era mu bbanga tono nnayiga okukuba gita. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandikawo bandi ne mikwano gyange abatonotono, era twayimbira mu bivvulu ebiwerako. Abamu ku ba polodyusa abaali bamanyiddwa ennyo, baalaba ekitone kye nnalina era ne bansaba okututumula ennyimba zange. Nnakola endagaano ne kampuni ekwata amaloboozi eyali esinga obunene. Ennyimba zange zaatutumuka nnyo era zaazannyibwanga buli kiseera ku leediyo mu Quebec.

 Nnalabika ng’alina buli kimu kye nnali nneetaaga. Nnali muvubuka era nga ndi mututumufu, era nnakolanga ssente nnyingi na buli kimu kye nnali njagala. Emisana nnagendanga mu jjiimu, nnabuuzanga abantu ebibuuzo, nnateekanga omukono ku bintu by’abantu, era nnalabikiranga ku TV. Ekiro, nnagenda okuyimba mu bivvulu era n’okwesanyusaamu ku bubaga. Okusobola okuba omuvumu nga nnyimbira mu maaso g’abantu abangi, nnatandika okunywa omwenge nga nkyali muvubuka, naye oluvannyuma nnatandika okukozesa ebiragalalagala. Nnali muntu ateefiirayo era nga nneenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

 Abamu beegombanga obulamu bwange olw’okuba nnalabikanga ng’alina essanyu. Naye mudda mu mutima, nnawuliranga nga sirina ssanyu, nnaddala bwe nnabanga ndi nzekka. Nnali mwennyamivu era nga nneeraliikirira nnyo. Eky’ennaku, mu kiseera we nnatutumukira ennyo, babiri ku bapolodyusa bange baafa siriimu. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo! Wadde nga nnali njagala nnyo okuyimba, obulamu bwe nnabeerangamu nnali si bwagala.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Wadde nga nnali mututumufu, nnali nkimanyi nti waliwo ekintu ekyasoba mu nsi. Kijja kitya okuba nti waliwo obutali bwenkanya bungi? Nneebuuza ensonga lwaki Katonda talina ky’akolawo. Mu butuufu, nnasabanga Katonda annyambe okufuna eby’okuddamu. Bwe nnali mpummuddemu nga nva okulambula, nnaddamu okusoma Bayibuli. Wadde ng’ebisinga obungi ku ebyo bye nnali nsoma nnali sibitegeera, nnakiraba nti enkomerero y’ensi eneetera okutuuka.

 Bwe nnali nsoma Bayibuli, nnakizuula nti lumu Yesu yasiiba ng’ali mu ddungu okumala ennaku 40. (Matayo 4:1, 2) Nnalowooza nti singa nange nkola kye kimu, oboolyawo Katonda ajja kweyoleka gyendi, n’olwekyo nnateekawo olunaku lwe nnalina okutandikirako okusiiba. Nga wabulayo wiiki bbiri ntandike okusiiba, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baakonkona ku luggi lwange, ne mbaniriza okuyingira nga gy’obeera nti mbadde mbasuubira. Omu ku Bajulirwa abo ayitibwa Jacques, nnamutunuulira enkaliriza ne mubuuza nti, “Tuyinza tutya okumanya nti tuli mu nnaku ez’enkomerero y’ensi eno?” Okunziramu, yabikkula Bayibuli n’asoma mu 2 Timoseewo 3:1-5. Bombi nnababuuza ebibuuzo ebirala bingi era eby’okuddamu ebyali bikola amakulu bye baampa byankwatako nnyo, era byonna baabyesigamyanga ku Byawandiikibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnakizuula nti tekyetaagisa kusiiba.

 Nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa obutayosa. Oluvannyuma, nnasalako enviiri zange ezaali empanvu era ne ntandika okugendanga mu nkuŋŋaana zonna ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Okwagala kwe bandaga nga ŋŋenze mu nkuŋŋaana kweyongera okunkakasa nti nnali nzudde amazima.

 Awatali kubuusabuusa, okusobola okukolera ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli, nnalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Ekisooka, nnalina okulekera awo okukozesa ebiragalalagala era n’okulekayo ebikolwa eby’obugwenyufu. Ate era, nnalina okufuba okufaayo ennyo ku balala mu kifo ky’okwefaako nzekka. Ng’omuzadde eyali obwannamunigina, nnalina okuyiga okufaayo ku baana bange ababiri mu by’omwoyo ne mu nneewulira. N’olwekyo, nnalekayo omulimu gw’okuyimba ne nfuna omulimu mu kkolero erimu ogwali gusasula ekitono.

 Tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ezo zonna. Bwe nnali nfuba okulekayo okukozesa ebiragalalagala, nnaggwangamu amaanyi era olumu nnekkiriranyanga. (Abaruumi 7:19, 21-24) Okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu nakyo tekyali kyangu. Ate era, omulimu gwe nnali nkola gwali gukooya nnyo, era nga ne ssente ze nfuna ntono nnyo. Kyantwalira emyezi esatu okufuna ssente ze nnafunanga mu ssaawa bbiri nga nkyali muyimbi.

 Okusaba kwannyamba nnyo okweyongera okukola enkyukakyuka ezo ezitaali nnyangu. Ate era, okusoma Bayibuli obutayosa nakyo kyannyamba nnyo. Waliwo ebyawandiikibwa ebimu ebyasinga okunzizzaamu ennyo amaanyi. Ekimu ku byo kyali 2 Abakkolinso 7:1, ekikubiriza Abakristaayo ‘okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.’ Ekyawandiikibwa ekirala ekyannyamba okuba omukakafu nti kisoboka okulekayo emize emibi kyali Abafiripi 4:13, awagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” Yakuwa Katonda yaddamu essaala zange era na nnyamba okutegeera n’okukolera ku mazima agali mu Bayibuli. Ekyo kyankubiriza okwewaayo gy’ali. (1 Peetero 4:1, 2) Nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu 1997.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Ndi mukakafu nti singa nneeyongera okutambulira mu bulamu bwe nnalimu emabega, nnandibadde mufu leero. Mu kifo ky’ekyo, kati nnina essanyu erya nnamaddala! Mukyala wange omulungi, Elvie, kirabo okuva eri Yakuwa. Ffembi tunyumirwa okuyigiriza abantu Bayibuli ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna. Ekyo kindeetera essanyu lingi n’obumativu. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunsika n’andeeta gy’ali.—Yokaana 6:44.