Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kyakulabirako ki ky’oteerawo abaana bo okugoberera?

ABAZADDE

8: Ekyokulabirako

8: Ekyokulabirako

KYE KITEGEEZA

Abazadde abassaawo ekyokulabirako ekirungi bakolera ku ebyo bye bayigiriza. Ng’ekyokulabirako, tosobola kusuubira mwana wo kuba wa mazima singa akuwulira ng’ogamba nti, “Mugambe nti siriiwo,” ng’obadde toyagala kwogera na muntu azze ewuwo.

“Waliwo eŋŋombo egamba nti ‘Kkola nga bwe ŋŋamba, so si nga bwe nkola.’ Naye ekyo tekikola ku baana. Abaana bakoppa buli kimu kye twogera ne kye tukola era bakiraba mangu bwe tuba nga bye tubayigiriza si bye tukola.”​—David.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ggwe ayigiriza nti, ‘Tobbanga,’ obba?”​—Abaruumi 2:21.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Abaana abato n’abatiini batera okukoppa bazadde baabwe okusinga omuntu omulala yenna, ka babe baana bannaabwe. Ekyo kiraga nti okusingira ddala ggwe omuzadde ggwe asobola okuyamba abaana bo okutambulira mu kkubo ettuufu, kasita oba nga by’obayigiriza by’okola.

“Tuyinza okugamba omwana waffe ekintu enfunda n’enfunda n’aba ng’atawulira, kyokka ku mulundi lwe tutakolera ku kye tumugamba, akirabirawo era asobola n’okukitugamba. Abaana beetegereza byonna bye tukola ne bwe tuba nga tulowooza nti tebabifaako.”​—Nicole.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Amagezi agava waggulu . . . tegaliimu bunnanfuusi.”​—Yakobo 3:17.

KY’OYINZA OKUKOLA

Weekebere. Byakwesanyusaamu bya ngeri ki by’olondawo? Oyisa otya mukyala wo oba mwami wo awamu n’abaana bo? Mikwano gya ngeri ki gy’olina? Ofaayo ku balala? Mu ngeri endala, wandyagadde abaana bo babeere nga ggwe?

“Nze n’omwami wange tetugamba baana baffe kukola bintu ffe bye tutakola.”​—Christine.

Bw’okola ensobi weetonde. Abaana bo bakimanyi nti totuukiridde. Bwe weetondera omwami wo oba mukyala oba abaana bo we kiba kyetaagisizza, ojja kuba oyigiriza abaana bo okuba abeesimbu era abeetoowaze.

“Kirungi abaana baffe okutuwulira nga tukkiriza ensobi zaffe era n’okutuwulira nga twetonda. Ekyo bwe tutakikola, tebajja kuyiga kukkiriza nsobi zaabwe.”​—Robin.

“Abazadde tulina kinene kye tukola ku baana baffe, era ekyokulabirako kye tubateerawo kikulu nnyo mu kubayigiriza kubanga baba batulaba ekiseera kyonna. Ekyokulabirako kye tussaawo kiringa ekitabo ekiba kibikkuddwa ekiseera kyonna abaana kye basobola okusoma ne bayiga.”​—Wendell.