Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Biki ebiyamba omuntu okuba omuzadde omulungi?

Oyigiriza abaana bo okwagala katonda?

Amaka agalimu abazadde abaagalana era abawaŋŋana ekitiibwa gayamba abaana okukula obulungi. (Abakkolosaayi 3:14, 19) Abazadde abalungi baagala abaana baabwe era babasiima nga Yakuwa Katonda bwe yasiima omwana we.​—Soma Matayo 3:17.

Kitaffe ow’omu ggulu awuliriza abaweereza be era afaayo ku nneewulira zaabwe. Kirungi abazadde okumukoppa nga nabo bawuliriza abaana baabwe. (Yakobo 1:19) Basaanidde okufaayo ku nneewulira z’abaana baabwe ne bwe baba balina ebikyamu bye bakoze.​—Soma Okubala 11:11, 15.

Oyinza otya okukuza abaana nga baabuvunaanyizibwa?

Ng’omuzadde, olina obuyinza okuteekawo amateeka. (Abeefeso 6:1) Koppa Katonda. Ayagala abaana be era abateerawo amateeka, n’ababuulira n’ekiyinza okuvaamu singa tebagagondera. (Olubereberye 3:3) Naye mu kifo ky’okuwaliriza abantu okumugondera, abayamba okumanya emiganyulo egiri mu kukola ekituufu.​—Soma Isaaya 48:18, 19.

Kifuule kiruubirirwa kyo okuyamba abaana bo okwagala Katonda. Ekyo kijja kubayamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi ne bwe baba nga bali bokka. Nga Katonda bw’atuyigiriza ng’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi, naawe yigiriza abaana bo okwagala Katonda ng’obateerawo ekyokulabirako ekirungi.​—Soma Ekyamateeka 6:5-7; Abeefeso 4:32; 5:1.