Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaana Abalina Ennaku olw’Okufiirwa ab’Eŋŋanda Zaabwe

Abaana Abalina Ennaku olw’Okufiirwa ab’Eŋŋanda Zaabwe

Olina ennaku ku mutima olw’okufiirwa omu ku b’eŋŋanda zo? Bwe kiba kityo, kiki ekisobola okukuyamba? Lowooza ku ngeri Bayibuli gye yayambamu abavubuka basatu okwaŋŋanga embeera eyo.

DAMI

Dami

Omutwe gwatandiikiriza mpolampola okuluma taata. Naye bwe gweyongera okumuluma, maama yayita ambyulensi. Nzijukira okulaba abasawo nga batwala taata. Nnali simanyi nti ogwo gwe gwali omulundi gwe nnali nsembyeyo okulaba taata nga mulamu. Taata yayabika omusuwa era oluvannyuma lw’ennaku ssatu yafa. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka mukaaga gyokka.

Nnamala emyaka mingi ng’omutima gunnumiriza olw’okufa kwa taata. Buli lwe nnajjukiranga ekiseera ekyo abasawo bwe bajja awaka ne batwala taata, nneebuuzanga nti: ‘Lwaki nnayimirira buyimirizi awo ne sibaako kye nkolawo?’ Nnatunuuliranga abantu abaali bakuze mu myaka ate nga balwalalwala ne nneebuuza nti, ‘Lwaki bo bakyaliwo ate nga ye taata wange yafa?’ Oluvannyuma lw’ekiseera, maama yatuulako nange n’ampuliriza nga mmubuulira ku ngeri gye nnali mpuliramu. Era n’Abajulirwa ba Yakuwa abatali bamu baatubudaabuda nnyo.

Abantu abamu balowooza nti omuntu ennaku ey’amaanyi agifuna yaakafiirwa era nti oluvannyuma lw’ekiseera atereera, naye ku nze si bwe kyali. Nnamala kutuuka mu myaka gyange egy’obutiini ennaku ey’amaanyi n’eryoka enzijira.

Amagezi ge mpa omuvubuka yenna eyafiirwa muzadde we ge gano, “Yogerako n’omuntu omulala ku ngeri gy’owuliramu. Ekyo bw’okikola mu bwangu kijja kukuganyula nnyo.”

Buli lwe mbaako ekintu ekikulu kye mba ntuuseeko mu bulamu, kinnuma okuba nti taata taliiwo okukiraba. Naye ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 21:4 binzizaamu nnyo amaanyi. Bigamba nti Katonda “alisangula buli zziga mu maaso [gaffe] era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”

DERRICK

Derrick

Nzijukira ekiseera bwe nnagendanga ne taata okuvuba n’okuwummulirako mu nsozi. Taata yali ayagala nnyo ensozi.

Taata wange yamala ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’omutima era nzijukira bantwala mu ddwaliro okumulabako, omulundi gumu oba ebiri. Kyokka nnali simanyi nti obulwadde bwe yalina bwali bwa maanyi nnyo. Taata yafa nga ndi wa myaka mwenda.

Taata bwe yafa, nnakaaba nnyo. Nnakaaba ne ntuuka n’ekiseera nga saagala kwogera na muntu yenna. Nnali siwulirangako bwe ntyo, era nnawulira nga sirina kintu kyonna kye njagala kukola. Mu kusooka, abavubuka mu ddiini gye nnalimu baalaga nti banfaako. Naye waayita ekiseera kitono ne baba nga tebakyanfaako. Abantu mu ddiini gye nnalimu baayogeranga ebigambo nga bino, “Taata wo yafa olw’okuba ekiseera kye kyali kituuse” oba nti “Katonda yamuyita” oba nti “Ali mu ggulu.” Ebigambo ebyo byammalangamu nnyo amaanyi naye nga simanyi kituufu Bayibuli ky’eyogera ku ekyo ekituuka ku muntu aba afudde.

Oluvannyuma lw’ekiseera, maama wange yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma nze ne muganda wange twamwegattako. Twayiga amazima agakwata ku ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde era twayiga ku kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abafu. (Yokaana 5:28, 29) Naye ekyawandiikibwa ekyasinga okunnyamba ky’ekyo ekiri mu Isaaya 41:10, awagamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.” Okukimanya nti Yakuwa yali wamu nange kyaŋŋumya nnyo, era kikyaŋŋumya.

JEANNIE

Jeannie

Maama wange yafa kookolo nga ndi wa myaka musanvu. Ku lunaku lwe yafa, nnawulira ng’aloota. Maama yafiira waka era ne bajjajja bange baaliwo. Nzijukira awaka wajjawo akasiriikiriro. Era nzijukira ku olwo twali tugenda kulya magi ekyeggulo. Nnawulira ng’ensi ekyuse.

Nnamala emyaka mingi nga nneegumya nga saagala kumalamu muto wange maanyi. Nneefulanga ng’eyali talina nnaku ku mutima kyokka nga ddala nnali ngirina. N’okutuusa leero bwe wabaawo ekintu ekinnakuwaza, ngezaako okwefuula ng’atalina bulumi ku mutima naaye ekyo si kirungi.

Nzijukira okwagala okungi Abajulirwa ba Yakuwa mu kibiina mwe twali tukuŋŋaanira kwe baatulaga. Wadde nga twali twakamala ekiseera kitono nga tukuŋŋaana n’Abajulirwa ba Yakuwa, bakkiriza bannaffe abo baatuzzaamu nnyo amaanyi nga tuli ng’abaali bamaze emyaka emingi nga tukuŋŋaana nabo. Taata wange teyafumba ku kya ggulo okumala omwaka mulamba kubanga ab’oluganda baatuleeteranga emmere.

Ekyawandiikibwa ekyannyamba ennyo ye Zabbuli 25:16, 17. Omuwandiisi wa zabbuli yasaba Katonda n’amugamba nti: “Tunula gye ndi ondage ekisa, kubanga ndi bw’omu era sirina bwe ndi. Ennaku y’omutima gwange yeeyongedde; Nzigya mu bulumi bwe ndimu.” Kisanyusa nnyo okukimanya nti bwe tufuna ebizibu tetuba ffekka. Katonda aba naffe. Bayibuli ennyambye okwaŋŋanga embeera enzibu ze njolekaganye nazo era ennyamba okufumiitiriza ku bintu ebinzizaamu amaanyi, gamba ng’ekisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abafu. Nnina essuubi ery’okuddamu okulaba maama wange nga mulamu bulungi mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—2 Peetero 3:13.

Bw’oba wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri Bayibuli gy’ebudaabudamu abo abali mu nnaku, genda ku mukutu gwaffe owanuleko akatabo “Omwagalwa Wo bw’Afa.” Genda ku www.pr418.com/lg, wansi wa EBITABO > EBITABO N’OBUTABO.