Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oleh_Slobodeniuk/E+ via Getty Images

Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo

Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo

“Ensi ya maanyi nnyo okusinga bwe twali tulowooza.”

Bannasayansi abanoonyereza ku mbeera y’obudde mu nsi yonna bwe batyo bwe baagamba. Bw’oba okkiriza nti eriyo Omutonzi era nti afaayo ku bantu, ekyo bannasayansi abo kye baazuula kiyinza okuba nga kikuyamba okulowooza ku nkola ez’enjawulo Katonda ze yassa mu nsi ezigiyamba okwezza obuggya.

Kyokka okusinziira ku ngeri ensi gy’eyonooneddwamu, waliwo ekisingawo ku nkola ezo ez’omu butonde eziyamba ensi okwezza obuggya ekyetaagisa. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kubaako ky’akolawo?

Weetegereze ebyawandiikibwa bino ebiri mu kasanduuko ebikakasa nti ensi tejja kusaanawo, wabula ejja kweyongera okubeerawo ng’ate eri mu mbeera nnungi.

  • Ensi yatondebwa Katonda. “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”​—Olubereberye 1:1

  • Katonda ye nnannyini nsi. “Ensi ne byonna ebigiriko bya Yakuwa, a ettaka n’abo abalibeerako.”​—Zabbuli 24:1

  • Katonda yakola ensi nga si ya kusaanawo. “Wateeka ensi ku misingi gyayo; teriggibwa mu kifo kyayo emirembe n’emirembe.”​—Zabbuli 104:5

  • Katonda asuubiza nti abantu bajja kweyongera okubeera ku nsi awamu n’ebintu ebirala ebiramu. “Katonda ow’amazima, eyatonda ensi . . . teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.”​—Isaaya 45:18

  • Katonda asuubiza nti abantu bajja kweyongera okubeera ku nsi emirembe gyonna. “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29

Katonda yatonda ensi ng’abantu basobola okugibeerako nga tebagyonoona. Bayibuli esuubiza nti mu kiseera kye ekigereke, Yakuwa Katonda ajja kumalirawo ddala abo bonna aboonoona ensi.​—Okubikkulirwa 11:18

Bayibuli esuubiza nti mu kiseera ekyo Katonda ajja kufuula ensi olusuku olulabika obulungi era ajja kwanjuluza engalo ze ‘awe buli kiramu bye kyagala.’​—Zabbuli 145:16

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.