Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 1 2023 | Ddala Ensi Eneesaanawo?​—Ebituwa Essuubi

Tekikwetaagisa kusooka kubeera munnasayansi okumanya nti ensi eyolekedde akatyabaga. Amazzi amalungi, agayanja, ebibira, n’empewo byonooneddwa nnyo. Ensi eneesaanawo? Laba ensonga lwaki osobola okuba n’essuubi.

 

Amazzi Amalungi

Nkola ki ez’omu butonde ezikuuma amazzi ne gataggwa ku nsi?

Agayanja

Agayanja agoonooneddwa gasobola okuddamu okulongooka?

Ebibira

Kiki bannassaayansi kye bazudde mu bifo awaali ebibira ne bitemebwawo?

Empewo

Okwonoonebwa kw’empewo kwa bulabe eri ebintu ebiramu ebiri ku nsi. Nkola ki ez’omu butonde Katonda ze yassaawo okulongoosa empewo gye tussa?

Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo

Bukakafu ki bwe tusinziirako okukkiriza nti ensi tejja kusaanawo era nti ejja kutereera?

Mu Magazini Eno

Soma ebitundu ebiraga engeri abantu gye boonoonyeemu ensi era n’ensonga lwaki tuli bakakafu nti tejja kusaanawo.